30
Okukungubagira Misiri
Awo ekigambo kya Mukama Katonda ne kinzijira n’aŋŋamba nti, “Omwana w’omuntu, wa obunnabbi oyogere nti: ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti,
“ ‘Mwekaabireko mwogere nti,
“Zibasanze ku lunaku olwo”
kubanga olunaku luli kumpi,
olunaku lwa Mukama luli kumpi,
olunaku olw’ebire
eri bannaggwanga.
Ekitala kirirumba Misiri,
n’ennaku eribeera mu Buwesiyopya.
Bwe balifiira mu Misiri,
obugagga bwe bulitwalibwa
n’emisingi gyayo girimenyebwa.’
Obuwesiyopya, ne Puuti*, ne Luudi ne Buwalabu yonna, ne Kubu n’abantu bonna ab’ensi ey’endagaano balittibwa ekitala awamu ne Misiri.
“ ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama nti,
“ ‘Abawagira Misiri baligwa,
n’amaanyi ge yeewaana nago galimuggwa.
Okuva ku mulongooti ogw’e Sevene
baligwa n’ekitala,
bw’ayogera Mukama Katonda.
Balirekebwawo
wakati mu nsi endala ezalekebwawo,
n’ebibuga byabwe
biribeera ebimu ku ebyo ebyasaanawo.
Olwo balimanya nga nze Mukama
bwe ndikuma ku Misiri omuliro,
n’ababeezi baayo bonna balibetentebwa.
“ ‘Ku lunaku olwo ndiweereza ababaka mu byombo okutiisatiisa Obuwesiyopya buve mu bugayaavu bwabwo. Entiisa eribakwata ku lunaku Misiri lwe linakuwala, kubanga entiisa erina okujja.
 
10 “ ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti,
“ ‘Ndimalawo ebibinja by’Abamisiri
nga nkozesa omukono gwa Nebukadduneeza kabaka w’e Babulooni.
11 Ye n’eggye lye, ensi esinga okuba enkambwe mu mawanga,
balireetebwa okuzikiriza ensi.
Baligyayo ebitala byabwe
ne bajjuza ensi ey’e Misiri emirambo.
12 Ndikaza emigga gya Kiyira,
ne ntunda ensi eri abantu ababi;
nga nkozesa bannaggwanga,
ndizikiriza ensi na buli kintu ekigirimu.
Nze Mukama nkyogedde.
 
13 “ ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti,
“ ‘Ndizikiriza bakatonda baabwe
ne nzikiriza bakatonda abakole n’emikono mu Noofu.
Temulibaamu mulangira mu nsi ey’e Misiri nate,
era ensi yonna ndigireetako entiisa.
14 Ndifuula Pasulo okuba amatongo,
ne Zowani ndikikumako omuliro
ne mbonereza n’ab’omu No.
15 Ndifuka ekiruyi kyange ku Sini,
ekigo kya Misiri eky’amaanyi,
era ndimalawo n’ebibinja bya No.
16 Ndikuma omuliro ku Misiri,
ne Sini baliba mu bubalagaze bungi,
ne No balitwalibwa omuyaga,
ne Noofu baliba mu kubonaabona okw’olubeerera.
17 Abavubuka ab’e Oni n’ab’e Pibesesi
baligwa n’ekitala,
n’ebibuga biriwambibwa.
18 Enzikiza eriba ku Tapaneese emisana,
bwe ndimenya ekikoligo kya Misiri,
era n’amaanyi ge yeewaana nago galimuggwaamu.
Alibikkibwa n’ebire
era n’ebyalo bye biriwambibwa.
19 Bwe ntyo bwe ndibonereza Misiri,
bategeere nga nze Mukama.’ ”
20 Awo mu mwaka ogw’ekkumi n’ogumu, mu mwezi ogw’olubereberye ku lunaku olw’omusanvu, ekigambo kya Mukama ne kinzijira n’aŋŋamba nti, 21 “Omwana w’omuntu, mmenye omukono gwa Falaawo, ye kabaka w’e Misiri, era laba tegusibiddwa okusiigako eddagala, n’okugussaako ekiwero okugusiba, guleme okufuna amaanyi okukwata ekitala. 22  Mukama Katonda kyava ayogera nti, Nnina ensonga ne Falaawo, ye kabaka w’e Misiri, era ndimenya emikono gye, omulamu ogw’amaanyi n’ogwo ogwamenyekako, ne nsuula ekitala okuva mu mukono gwe. 23 Ndisaasaanya Abamisiri mu mawanga ne mu nsi ennyingi. 24 Ndinyweza emikono gya kabaka w’e Babulooni ne nteeka ekitala mu mukono gwe, naye ndimenya emikono gya Falaawo, era alisindira mu maaso ga kabaka w’e Babulooni, ng’omuntu afumitiddwa anaatera okufa. 25 Ndinyweza emikono gya kabaka w’e Babulooni, naye emikono gya Falaawo giriremala, balyoke bamanye nga nze Mukama. Nditeeka ekitala mu mikono gya kabaka w’e Babulooni, n’akigololera ku nsi y’e Misiri. 26 Ndibunya Abamisiri mu mawanga ne mbasaasaanya ne mu nsi yonna, era balimanya nga nze Mukama.”
* 30:5 Puuli ne Puuti bye bimu. Puuti ye Libiya oba ekitundu ekyetoolodde n’okutuukira ddala ku Somaliya