42
1 Awo omusajja n’ankulemberamu n’antwala mu luggya ebweru ku luuyi olw’Obukiikakkono, n’antwala mu bisenge eby’ekizimbe ekyayolekera oluggya lwa yeekaalu era ekyayolekera bbugwe ku luuyi olw’Obukiikakkono.
2 Ekizimbe ekyo ekyaliko omuzigo ogwolekedde Obukiikakkono, kyali mita amakumi ataano obuwanvu, n’obugazi mita amakumi abiri mu ttaano.
3 Ekizimbe ekyo kyalina ennyumba bbiri. Ennyumba emu yali eyolekera oluggya olw’omunda oluli mita kkumi obugazi. Ennyumba endala n’eyolekera oluggya olw’ebweru. Ennyumba zombi zazimbibwa nga za kalina ssatu, nga zoolekaganye.
4 Wakati w’ennyumba ezo ebbiri, waaliwo olukuubo mita ttaano obugazi, n’obuwanvu mita amakumi ataano. Enzigi ez’ennyumba eyolekera oluggya olw’omunda zaayolekera Obukiikakkono.
5 Ebisenge ebya waggulu byali bifunda okusinga ebibiri wansi, kubanga olubalaza olwa waggulu lwatwala ekifo kinene okusinga ku myaliiro egya wansi n’egya wakati mu kizimbe.
6 Oluggya lwalina empagi naye ebisenge ebyali ku mwaliiro ogwokusatu tebyalimu mpagi, noolwekyo byali bitono okusinga ebyali ku mwaliiro ogwa wansi ne ku mwaliiro ogwa wakati.
7 Waaliwo ekisenge eky’ebweru ekyali kigatta ennyumba zombi ez’ekizimbe, obuwanvu mita amakumi abiri mu ttaano.
8 Olubu lw’ebisenge olw’ennyumba eri ku luuyi oluliraanye oluggya olw’ebweru obuwanvu bwali mita amakumi abiri mu ttaano, ate n’olubu lw’ebisenge olw’ennyumba ku luuyi olusinga okuliraana yeekaalu obuwanvu bwali mita amakumi ataano.
9 Ebisenge ebya wansi byaliko omulyango ku luuyi olw’ebuvanjuba ogufuluma mu luggya olw’ebweru.
10 Ku luuyi olw’Obukiikaddyo obwa yeekaalu, waliwo ekizimbe ekyalina ennyumba bbiri ezaali wakati w’oluggya olwa yeekaalu, ne bbugwe.
11 Waaliwo olukuubo wakati w’ennyumba zombi. Zaafaanana ng’ennyumba ez’oku luuyi olw’Obukiikakkono, ng’obuwanvu n’obugazi bwazo, n’emiryango nga bya bipimo ebyenkanankana n’eby’Obukiikakkono.
12 Emiryango gy’ebisenge eby’Obukiikaddyo gyali gifaanana n’emiryango gy’ebisenge eby’Obukiikakkono. Ekizimbe kyaliko omuzigo ogwolekedde Obukiikaddyo, nga bw’oguyingiriramu oyolekera emiryango gy’ennyumba ennene ey’ekizimbe. Waaliwo omulyango omulala ku luuyi olw’ebuvanjuba olukuubo lw’ekizimbe eky’ennyumba zombi we lukoma.
13 Awo n’aŋŋamba nti, “Ebisenge eby’ennyumba eyolekedde yeekaalu eby’omu Bukiikakkono n’eby’ennyumba eyolekedde yeekaalu eby’omu Bukiikaddyo, by’ebisenge bya bakabona. Bakabona abaweereza mu maaso ga Mukama gye banaaliiranga ebintu ebitukuvu ennyo; era eyo gye banaatekanga ebiweebwayo ebitukuvu ennyo, n’ekiweebwayo eky’obutta n’ebiweebwayo olw’ekibi, n’ebiweebwayo olw’omusango, kubanga ekifo kitukuvu.
14 Bakabona bwe bayingirangamu, tebaafulumenga kulaga mu luggya olw’ebweru, okuggyako nga baggyemu ebyambalo eby’obuweereza bwabwe, kubanga byambalo bitukuvu. Banaayambalanga ebyambalo ebirala, ne balyoka basemberera ebifo awali abantu.”
15 Bwe yamala okupima munda wa yeekaalu, n’ankulembera n’ampisa mu mulyango ogw’Ebuvanjuba, n’apima ekitundu ekyetoolodde wonna.
16 N’apima oluuyi olw’ebuvanjuba n’oluti olugera, nga luli mita ebikumi bibiri mu ataano.
17 N’apima oluuyi olw’Obukiikakkono nga luli mita ebikumi bibiri mu ataano.
18 N’oluvannyuma n’apima oluuyi olw’Obukiikaddyo nga luli mita ebikumi bibiri mu ataano.
19 N’oluvannyuma n’akyuka n’apima oluuyi olw’ebugwanjuba, nga luli mita ebikumi bibiri mu ataano.
20 N’apima enjuuyi ennya zonna. Yeekaalu yalina bbugwe okugyebungulula, mita ebikumi bibiri mu ataano obuwanvu, n’obugazi mita ebikumi bibiri mu ataano, nga kye kyawula awatukuvu n’awabulijjo.