7
Enkomerero Etuuse 
 
1 Awo ekigambo kya Mukama ne kinzijira nti,  
2 “Omwana w’omuntu, bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda eri ensi ya Isirayiri nti:  
“ ‘Enkomerero! Enkomerero etuuse  
ku nsonda ennya ez’ensi.   
3 Enkomerero ebatuuseeko  
era ndibasumulurira obusungu bwange,  
ne mbasalira omusango ng’engeri zammwe bwe ziri  
era ndibabonereza ng’ebikolwa byammwe eby’ekkive byonna bwe biri.   
4 Siribatunuulira na liiso lya kisa  
newaakubadde okubasonyiwa;  
naye ndibasasula ng’engeri zammwe,  
n’ebikolwa byammwe eby’ekkive bwe biri mu mmwe.  
Mulyoke mumanye nga nze Mukama.’   
   
 
5 “Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti:  
“ ‘Okuzikirizibwa okutali kumu  
laba kujja.   
6 Enkomerero etuuse,  
enkomerero etuuse!  
Ebagolokokeddeko  
era ejja.   
7 Akabi kabajjidde,  
mmwe abatuuze.  
Ekiseera kituuse era olunaku luli kumpi,  
olunaku olw’okutya so si olw’okujaguliriza ku nsozi.   
8 Nnaatera okubalaga obusungu bwange,  
n’ekiruyi kyange.  
Ndibasalira omusango ng’enneeyisa yammwe bw’eri,  
ne mbasasula ng’ebikolwa byammwe byonna eby’ekkive bwe biri.   
9 Siribatunuulira na liiso lya kisa  
newaakubadde okubasonyiwa.  
Ndibabonereza ng’engeri zammwe bwe ziri  
n’ebikolwa byammwe eby’ekkive bwe biri mu mmwe.  
Mulyoke mumanye nga nze Mukama Katonda, era mbonereza.   
10 “ ‘Olunaku luuluno  
lutuuse.  
Akabi kabajjidde,  
obutali bwenkanya bumeze,  
n’amalala gamulisizza.   
11 Obusungu bweyongedde  
ne bufuuka omuggo okubonereza obutali butuukirivu;  
tewaliba n’omu alisigalawo;  
tewaliba n’omu ku kibiina  
newaakubadde ku byobugagga byabwe,  
newaakubadde eky’omuwendo.   
12 Ekiseera kituuse,  
n’olunaku lutuuse.  
Agula aleme okusanyukirira,  
n’oyo atunda aleme okunakuwala,  
kubanga obusungu bubuubuukidde ku kibiina kyonna.   
13 Atunda taliddizibwa  
kintu kye yatunda,  
bombi bwe banaaba nga bakyali balamu.  
Kubanga okubonerezebwa kuli ku kibiina kyonna  
so tekukyajulukuka.  
Era olw’ebibi byabwe tewaliba n’omu  
aliwonya obulamu bwe.   
   
 
14 “ ‘Ne bwe balifuuwa ekkondeere  
ne bateekateeka buli kimu,  
tewaliba n’omu aligenda mu lutalo,  
kubanga obusungu bwange bubuubuukidde ku kibiina kyonna.   
15 Ebweru waliyo ekitala  
ne munda waliyo kawumpuli n’enjala.  
Abali ku ttale  
balifa kitala,  
abali mu kibuga  
balimalibwawo kawumpuli n’enjala.   
16 N’abo abaliwonawo  
baliddukira mu nsozi,  
nga bakaaba nga bukaamukuukulu  
obw’omu biwonvu,  
buli omu olw’ebibi bye.   
17 Emikono gyonna giriremala,  
n’amaviivi gonna galiba ng’amazzi.   
18 Balyambala ebibukutu,  
ne bakwatibwa ensisi;  
baliswala,  
n’emitwe gyabwe girimwebwa.   
   
 
19 “ ‘Balisuula effeeza yaabwe mu nguudo,  
ne zaabu yaabwe eriba ekitali kirongoofu;  
effeeza yaabwe ne zaabu yaabwe  
tebiriyinza kubalokola  
ku lunaku lwa Mukama olw’obusungu bwe.  
Era tebalikkuta  
newaakubadde okukkusibwa.  
Ebyo bye byabaleetera okugwa mu kibi.   
20 Ebintu byabwe eby’omuwendo byabaleetera amalala,  
era ekyavaamu kwe kukola bakatonda abalala ab’emizizo  
n’ebintu ebirala eby’ekivve,  
era kyendiva mbifuula ebitali birongoofu gye bali.   
21 Ndibiwaayo byonna eri bannamawanga  
n’eri abakozi b’ebibi ab’omu nsi okuba omunyago  
era balibyonoona.   
22 Ndikyusa amaaso gange ne si batunuulira,  
era balyonoona ekifo kyange eky’omuwendo;  
n’abanyazi balikiyingiramu  
ne bakyonoona.   
   
 
23 “ ‘Muteeketeeke enjegere  
kubanga ensi ejjudde omusango ogw’okuyiwa omusaayi,  
n’ekibuga kijjudde effujjo.   
24 Ndireeta eggwanga erisingirayo ddala okuba ebbi,  
ne batwala ennyumba zaabwe,  
era ndikomya amalala gaabwe  
n’ebifo byabwe ebitukuvu biryonoonebwa.   
25 Entiisa bw’erijja,  
balinoonya emirembe naye tebaligifuna.   
26 Akabi kalyeyongera ku kabi,  
ne ŋŋambo ne zeeyongera;  
balinoonya okwolesebwa okuva eri nnabbi,  
naye okuyigirizibwa kwa kabona kulibula  
n’okubuulirira kw’abakadde kulyerabirwa.   
27 Kabaka alikaaba,  
n’omulangira alijjula obuyinike,  
n’emikono gy’abantu mu ggwanga girikankana olw’entiisa.  
Ndibakolako ng’enneeyisa yaabwe bw’eri,  
era ndibasalira omusango ng’ensala yaabwe bw’eri.  
Balyoke bamanye nga nze Mukama Katonda.’ ”