6
Ekiragiro kya Daliyo
Awo kabaka Daliyo n’awa ekiragiro okunoonyereza mu bitabo ebyabeeranga mu ggwanika e Babulooni. Awo omuzingo gw’ekitabo ogwawandiikibwamu ekijjukizo ne guzuulibwa mu kibuga ekikulu Yakumesa eky’essaza ly’e Bumeedi nga kigamba nti:
Ekiwandiiko:
Mu mwaka ogw’olubereberye ogw’obufuzi bwa kabaka Kuulo, kabaka yateeka etteeka erikwata ku yeekaalu ya Katonda mu Yerusaalemi, nga ligamba nti:
 
Yeekaalu eddaabirizibwe ebeere ekifo eky’okuweerangayo ssaddaaka, n’emisingi gyayo giteekebwewo ginywezebwe. Eriba mita amakumi abiri mu musanvu obugulumivu (27), ne mita amakumi abiri mu musanvu obugazi (27), ng’erina embu ssatu ez’amayinja amanene, n’olubu olulala nga lwa mbaawo. Omuwendo gwonna gwakusasulibwa okuva mu gwanika lya kabaka. Ate era n’ebintu ebya zaabu n’ebya ffeeza eby’omu nnyumba ya Katonda, Nebukadduneeza bye yaggya mu yeekaalu e Yerusaalemi n’abireeta e Babulooni, bizibweyo mu bifo byabyo mu yeekaalu e Yerusaalemi; mulibiteeka mu nnyumba ya Katonda.
 
Kale nno, Tattenayi ow’essaza ery’emitala w’omugga Fulaati, ne Sesalubozenayi, n’abakungu abeeyo mwewale okutabulatabula. Temuyingirira mulimu ogukolebwa ku yeekaalu ya Katonda eyo. Muleke ow’essaza ly’Abayudaaya n’abakulu b’Abayudaaya bazzeewo ennyumba ya Katonda mu kifo kyayo.
Ate era nteeka etteeka erikwata ku bye muteekwa okukolera abakulu abo ab’Abayudaaya nga bazimba yeekaalu ya Katonda:
Ebirikozesebwa abasajja abo byonna, bya kusasulibwa okuva mu ggwanika lya Kabaka, ku misolo egiva emitala w’omugga Fulaati, omulimu guleme okuyimirira. Bwe baliba beetaaze okuwaayo ebiweebwayo ebyokebwa eri Katonda w’eggulu, oba nte nnume ento, oba ndiga nnume, oba ndiga nnume ento, oba ŋŋaano, oba munnyo, oba nvinnyo, oba mafuta, muteekwa okuwa bakabona ab’omu Yerusaalemi byonna nga bwe baliba basabye buli lunaku obutayosa, 10 basobole okuwaayo ssaddaaka ezisiimibwa Katonda w’eggulu, era basabire kabaka ne batabani be.
11 Era nteeka etteeka, omuntu yenna bwalikyusa ekiragiro ekyo, empagi eyazimba ennyumba ye eriggyibwa ku nnyumba ye, era n’awanikibwa ku mpagi eyo. N’ennyumba ye erifuulibwa olubungo olw’ekikolwa ekyo. 12 Katonda eyaleetera Erinnya lye okubeera mu kifo ekyo, aggyewo kabaka yenna n’eggwanga eririyimusa omukono gwalyo okukyusa etteeka eryo oba n’okuzikiriza eyeekaalu eyo mu Yerusaalemi.
Nze Daliyo ntaddewo etteeka eryo. Likwatibwe butiribiri.
Yeekaalu eggwa okuzimbibwa
13 Olw’ekiragiro kabaka Daliyo kye yaweereza, Tattenayi ow’essaza ly’emitala w’omugga Fulaati, ne Sesalubozenayi ne bannaabwe ne bakola bye baalagibwa n’obunyiikivu bwonna. 14 Abakadde b’Abayudaaya ne bagenda mu maaso n’okuzimba era ne balaba omukisa ng’okutegeeza kwa nnabbi Kaggayi n’okwa nnabbi Zekkaliya muzzukulu wa Ido bwe kwali. Ne bamaliriza okuzimba yeekaalu, ng’ekiragiro kya Katonda wa Isirayiri bwe kyali, era ng’amateeka ga Kuulo, ne Daliyo ne Alutagizerugizi bakabaka b’e Buperusi bwe gaali. 15 Awo yeekaalu eyo n’emalirizibwa ku lunaku olwokusatu olw’omwezi Adali, mu mwaka ogw’omukaaga ogw’obufuzi bwa kabaka Daliyo.
Okutukuza Yeekaalu
16 Awo abantu ba Isirayiri, bakabona n’Abaleevi n’abalala abaali mu buwaŋŋanguse ne bakomawo mu ssanyu ne bakola embaga ey’okutukuza ennyumba ya Katonda nga balina essanyu. 17 Olw’okutukuza ennyumba eyo eya Katonda, baawaayo ente ennume kikumi, n’endiga ennume ebikumi bibiri, n’endiga ennume ento ebikumi bina, ate n’ekiweebwayo olw’ekibi ku lwa Isirayiri yenna, embuzi ennume kkumi na bbiri, ng’omuwendo bwe gwali ogw’ebika bya Isirayiri. 18 Ne bateeka bakabona mu bibinja byabwe n’Abaleevi mu biti byabwe olw’okuweereza Katonda e Yerusaalemi, nga bwe kyawandiikibwa mu kitabo kya Musa.
Embaga ey’Okuyitako
19 Ku lunaku olw’ekkumi n’ennya olw’omwezi ogw’olubereberye, abawaŋŋaangusibwa baafumba embaga ey’Okuyitako. 20 Bakabona n’Abaleevi baali beetukuzizza era bonna nga balongoofu okukola emikolo. Abaleevi ne batta omwana gw’endiga ogw’Okuyitako, ku lwa baganda baabwe bakabona, nabo bennyini. 21 Awo Abayisirayiri abaava mu buwaŋŋanguse ne bagirya wamu n’abo bonna abaali beeyawudde, nga basinza Mukama Katonda wa Isirayiri. 22 Ne bamala ennaku musanvu nga balya n’essanyu Embaga ey’Emigaati Egitazimbulukuswa, kubanga Mukama yabajjuza essanyu bwe yakyusa omutima gwa kabaka w’e Bwasuli, n’abayamba mu mulimu ogw’ennyumba ya Katonda wa Isirayiri.