14
1 Awo Mukama n’alagira Musa nti,
2 “Tegeeza abaana ba Isirayiri bawetemu nga boolekera Pikakirosi, bakube eweema zaabwe okumpi ne Pikakirosi, wakati wa Migudooli n’ennyanja. Musiisire ku lubalama lw’ennyanja nga mwolekedde Baali Zefoni.
3 Falaawo abaana ba Isirayiri ajja kuboogerako nti, ‘Babulubuutira mu nsi yaffe, n’eddungu libazingizza.’
4 Nzija kukakanyaza omutima gwa Falaawo, alyoke abawondere. Naye ndyefunira ekitiibwa okuva ku bye ndikola Falaawo n’eggye lye lyonna; n’Abamisiri balitegeera nga nze Mukama.” Abaana ba Isirayiri ne bakola bwe batyo.
Falaawo Awondera Isirayiri
5 Kabaka w’e Misiri bwe yategeera ng’Abayisirayiri baddukidde ddala, Falaawo n’abakungu be ne bejjusa, ne bagamba nti, “Kiki kino kye tukoze, okuleka Abayisirayiri ababadde batukolera ne bagenda?”
6 Bw’atyo n’ateekateeka eggaali lye erisikibwa embalaasi, n’eggye ly’anaagenda nalyo.
7 Yatwala amagaali lukaaga agasingira ddala obulungi, n’agattako n’amagaali amalala gonna agaali mu Misiri, n’abalwanyi abaduumizi nga be bagavuga.
8 Mukama n’akakanyaza omutima gwa Falaawo Kabaka w’e Misiri, n’agoberera abaana ba Isirayiri. Abaana ba Isirayiri ne bakwata olugendo lwabwe nga tebaliiko gwe batya.
9 Abamisiri ne babawondera: embalaasi zonna, n’amagaali gonna aga Falaawo agasikibwa embalaasi, n’abeebagadde embalaasi, n’eggye lye, ne babasanga nga basiisidde ku lubalama lw’ennyanja okumpi ne Pikakirosi, nga boolekedde Baali Zefoni.
10 Falaawo bwe yasembera, abaana ba Isirayiri ne balengera Abamisiri nga babagoberera, ne batya nnyo. Abaana ba Isirayiri ne balaajaanira Mukama.
11 Ne bagamba Musa nti, “Mu Misiri entaana tezaaliyo, kyewava otuleeta tufiire wano mu ddungu? Lwaki watuggya mu Misiri n’ojja otuyisa bw’oti?
12 Bwe twali mu Misiri tetwakugamba nti, ‘Tuveeko, tuleke tukolere Abamisiri?’ Kubanga okukolera Abamisiri kyandibadde waddeko okusinga okufiira mu ddungu.”
13 Musa n’addamu abantu nti, “Temutya, munywere, mujja kulaba obulokozi Mukama bw’anaabaleetera olwa leero. Kubanga Abamisiri abo be mulaba kaakano, temuliddayo nate kubalaba emirembe gyonna.
14 Mukama ajja kubalwanirira. Mmwe musirike busirisi.”
15 Mukama n’agamba Musa nti, “Lwaki okaabirira nze? Lagira abaana ba Isirayiri bakwate olugendo lwabwe.
16 Wanika omuggo gwo, ogolole n’omukono gwo ku nnyanja, amazzi ogaawulemu, abaana ba Isirayiri bayite wakati mu nnyanja kyokka nga batambulira ku ttaka kkalu.
17 Nange nzija kukakanyaza emitima gy’Abamisiri, bayingirire ennyanja nga babagoberera. Ndyoke nefunire ekitiibwa okusinziira ku bye nnaakola Falaawo, n’amaggye ge, n’amagaali ge, n’abeebagadde embalaasi.
18 Abamisiri nabo banaategeera nga nze Mukama, nga nefunidde ekitiibwa: okusinziira ku bye nnaakola Falaawo n’amagaali ge, n’abasajja be abeebagadde embalaasi.”
19 Awo malayika wa Katonda eyali akulembera abaana ba Isirayiri n’akyuka n’abadda emabega; n’empagi ey’ekire ne yejjulula okuva mu maaso gaabwe, n’eyimirira emabega waabwe:
20 Bw’etyo n’ebeera wakati w’abaana ba Isirayiri n’eggye ly’Abamisiri. Ekiro, ekire ne kireeta ekizikiza ku ludda lw’Abamisiri, naye ne kireeta omuliro okumulisa oludda lw’Abayisirayiri; ekiro kyonna ne wataba ggye lisemberera linnaalyo.
Okuyita mu Nnyanja Emyufu
21 Awo Musa n’agolola omukono gwe ku nnyanja; Mukama n’asindika ku nnyanja embuyaga ez’amaanyi ezaava ebuvanjuba, ne zigobawo amazzi ekiro kyonna, ne lufuuka lukalu, ng’amazzi gayawuddwamu.
22 Abaana ba Isirayiri ne bayita wakati mu nnyanja nga batambulira ku ttaka ekkalu, ng’amazzi gakoze ekisenge ku ludda lwabwe olwa ddyo n’olwa kkono.
23 Abamisiri ne babawondera ne bayingira wakati mu nnyanja n’amagaali ga Falaawo gonna, n’embalaasi ze, n’abasajja be abeebagadde embalaasi.
24 Awo mu makya ennyo nga tebunnalaba, Mukama n’atunuulira eggye ly’Abamisiri ng’ali mu mpagi ey’ekire n’omuliro, n’atandika okulibonyaabonya.
25 Amagaali gaabwe yagamaamulako zinnamuziga, ne gabakaluubirira okuvuga. Abamisiri n’okugamba ne bagamba nti, “Leka Abayisirayiri tubadduke! Kubanga Mukama alwanyisa Misiri ng’abalwanirira.”
26 Awo Mukama n’agamba Musa nti, “Golola omukono gwo ku nnyanja, amazzi gakomewo gaggweere ku Bamisiri, ne ku magaali gaabwe, ne ku basajja baabwe abeebagadde embalaasi.”
27 Bw’atyo Musa n’agololera ennyanja omukono gwe, obudde bwe bwakya n’ekomawo n’amaanyi, Abamisiri ne bagidduka nga balaba ejja; Mukama, Abamisiri n’abasaanyaawo wakati mu nnyanja.
28 Amazzi ne gakomawo ne gasaanikira amagaali n’abeebagadde embalaasi, n’eggye lya Falaawo lyonna eryali ligoberedde Abayisirayiri mu nnyanja. Tewaali n’omu ku bo eyawona.
29 Naye abaana ba Isirayiri bo nga batambulira ku ttaka kkalu wakati mu nnyanja, amazzi nga gakoze ekisenge ku ludda lwabwe olwa ddyo ne ku lwa kkono.
30 Bwe kityo ku lunaku olwo Abayisirayiri Mukama n’abawonya Abamisiri. Abayisirayiri ne balaba Abamisiri ku lubalama lw’ennyanja nga bafudde.
31 Abayisirayiri ne balaba obuyinza obunene ennyo Mukama bwe yalaga ng’akola ku Bamisiri: abantu ne batya Mukama, ne bakkiriza Mukama n’omuweereza we Musa.