39
Ebyambalo by’Obwakabona
Awo ne bakola, mu wuzi eza bbululu; ne kakobe ne myufu, ebyambalo ebirukiddwa obulungi eby’okuweererezangamu mu Kifo Ekitukuvu. Ne bakolera ne Alooni ebyambalo ebitukuvu, nga Mukama bwe yalagira Musa.
Ekkanzu ey’obwakabona Ennyimpi Eyitibwa Efodi
Awo ne bakola ekkanzu ey’obwakabona eyitibwa efodi mu wuzi eza zaabu, ne bbululu, ne kakobe ne myufu, ne linena omulebevu omulange. Ne baweesa zaabu ey’oluwewere, ne bagisala obulere ne babukozesa awamu n’ewuzi eza bbululu, ne kakobe, ne myufu ne linena omulebevu omulungi omulange, nga bikoleddwa mu majjolobera agakoleddwa n’obukugu. Ekkanzu ey’obwakabona eyitibwa efodi ne bagikolera eby’okubibegabega bibiri nga bitungiddwa w’ekoma, n’egattibwa bulungi. Ne bakola omusipi gwayo n’amagezi mangi ng’agaakola ekkanzu ey’obwakabona, n’ebyakozesebwa nga bye bimu. Ewuzi nga za zaabu, ne bbululu, ne kakobe, ne myufu, ne linena omulebevu alangiddwa; nga Mukama bwe yalagira Musa.
Ne baddira amayinja ga onuku ne bagakwasiza mu mapeesa aga zaabu, ng’amayinja gawandiikiddwako, ng’empeta bw’ewandiikwako, amannya g’abaana ba Isirayiri. Ne bagakwasiza ku byokubibegabega eby’ekkanzu ey’obwakabona eyitibwa efodi, okubeeranga amayinja g’ekijjukizo ky’abaana ba Isirayiri; nga Mukama bwe yalagira Musa.
Ekyomukifuba
Ne bakola ekyomukifuba, nga mulimu gwa kikugu ng’ogw’ekkanzu ey’obwakabona eyitibwa efodi, mu wuzi za zaabu, ne bbululu, ne kakobe ne myufu ne linena omulebevu omulange. Kyali kyenkanankana, buli ludda sentimita amakumi abiri mu bbiri ne desimoolo ttaano nga kimaze okuwetebwamu wakati. 10 Ne batungirako ennyiriri nnya ez’amayinja ag’omuwendo omungi. Mu lunyiriri olusooka bassaamu amayinja: sadiyo, ne topazi, ne kaabankulo; 11 ne mu lunyiriri olwokubiri bassaamu amayinja: nnawandagala, ne safiro ne alimaasi; 12 ne mu lunyiriri olwokusatu bassaamu amayinja: jasinta, ne ageti, ne amesusito; 13 ne mu lunyiriri olwokuna bassaamu amayinja: berulo, ne onuku, ne yasipero; ne gategekebwa mu fuleemu eya zaabu. 14 Waaliwo amayinja ag’omuwendo kkumi n’abiri, nga ku buli limu kusaliddwako erimu ku mannya g’abaana ba Isirayiri. Gaasalibwa bulungi ng’obubonero obuwoolebwa nga ku buli limu kuliko erinnya lyako okumalirayo ddala amannya g’ebika ekkumi n’ebibiri.
15 Ku kyomukifuba baakolerako enjegere ennange ng’emiguwa, nga za zaabu omuka; 16 ne bakola fuleemu bbiri eza zaabu n’empeta bbiri eza zaabu; ne bassa empeta ezo zombi ku mikugiro ebiri egy’ekyomu kifuba. 17 Ne bayisa enjegere ebbiri mu mpeta ebbiri ezaali ku mikugiro gy’eky’omu kifuba. 18 Ne baddira enjuuyi ebbiri ezaasigalawo ez’enjegere ne bazikwasiza ku fuleemu ebbiri, ne bazinywereza mu maaso g’eby’okubibegabega byombi eby’ekkanzu ey’obwakabona eya efodi. 19 Era baakola empeta bbiri eza zaabu ne bazitunga ku mikugiro ebiri egy’ekyomu kifuba ku luuyi olw’omunda olwali luliraanye ekkanzu ey’obwakabona eya efodi. 20 Ne bakolayo empeta endala bbiri eza zaabu ne baziteeka mu maaso mu bitundu byombi ebya wansi eby’eby’okubibegabega eby’ekkanzu ey’obwakabona eya efodi, wagguluko okumpi n’oluzizi lw’omusipi lw’ekkanzu ey’obwakabona eya efodi. 21 Baasiba empeta ez’oku kyomukifuba wamu n’empeta z’ekkanzu ey’obwakabona eya efodi n’akaguwa aka bbululu, ne bakagatta n’omusipi ekyomukifuba kireme kutaggulukuka ku kkanzu ey’obwakabona eya efodi. Byakolebwa nga Mukama bwe yalagira Musa.
Ebyambalo eby’Obwakabona Ebirala
22 Baakola ekyambalo eky’omunda mu kkanzu ey’obwakabona eya efodi, nga kiruke era nga kya bbululu kyonna. 23 Ne bassa ekituli wakati mu kyambalo omw’okuyisa omutwe. Ku kituli ekyo ne beetooloozaako omuge omuyonde ng’omuleera kireme okuyulika. 24 Okwetooloola ebirenge by’ekyambalo ekyo wansi ne batungayo amajjolobera mu wuzi eza bbululu, ne kakobe, ne myufu, ne linena omulebevu omulange obulungi. 25 Era ne bakola n’obude obwa zaabu omuka, ne bagenda nga babutobeka mu majjolobera; 26 baatunga amajjolobera ne baddirizaako akade, ate ne batunga amajjolobera ne baddirizaako akade, okwetooloola ebirenge by’ekyambalo ekyo eky’okuweererezangamu; nga Mukama bwe yalagira Musa.
27 Era ne bakolera Alooni n’abaana be amakooti agaalukibwa mu wuzi eza linena omulebevu omulungi. 28 Ne bakola n’ekitambaala eky’oku mutwe mu linena omulebevu omulungi, era n’enkuufiira ne bazikola mu linena omulebevu omulungi; ne bakola n’empale mu linena omulebevu omulungi omulange, 29 n’omusipi mu linena omulebevu omulungi omulange ow’ewuzi eza bbululu, ne kakobe ne myufu nga zitungiddwa ng’omudalizo n’amagezi mangi; nga Mukama bwe yalagira Musa.
30 Era ne bakola akapande ak’engule entukuvu mu zaabu omuka, ne bayolako ebigambo, nga bw’owandiika ku kabonero, nti:
Mutukuvu wa Mukama.
31 Ne bakasibako akakoba akatunge obulungi aka bbululu, kakanywerezenga waggulu ku kitambaala ky’oku mutwe; nga Mukama bwe yalagira Musa.
Okumaliriza Omulimu gw’Eweema ya Mukama
32 Bwe gutyo omulimu gwonna ogw’okukola Eweema ya Mukama, Eweema ey’Okukuŋŋaanirangamu ne guggwa; ng’abaana ba Isirayiri bakoze ebyo byonna nga Mukama bwe yalagira Musa. 33 Awo Weema ya Mukama ne bagireetera Musa;
 
Eweema yonna ne byonna ebyali bigirimu: ebisiba byayo, n’embaawo, n’emikiikiro, n’empagi zaayo, n’ebituurwamu;
34 ekibikkako eky’amaliba g’endiga amakunye amannyike mu langi emyufu, n’amaliba g’embuzi amakunye, n’eggigi ery’okutimba;
35 essanduuko ey’Endagaano n’emisituliro gyayo n’ekisaanikira, ye ntebe ey’okusaasira;
36 emmeeza ne byonna ebigibeerako, n’emigaati egy’Okulaga;
37 ekikondo ky’ettaala ekya zaabu omuka, n’ettaala zaako n’ebigenderako ebikozesebwa, n’amafuta gaazo;
38 ekyoto ekya zaabu, amafuta ag’okwawula n’obubaane obw’akawoowo, n’olutimbe olw’omulyango oguyingira mu Weema;
39 ekyoto eky’ekikomo n’ekitindiro kyakyo eky’ekikomo, emisituliro gyakyo ne byonna ebikozesebwako;
ebbensani ne ky’etuulamu;
40 entimbe ez’oku bisenge, eby’omu luggya n’empagi zaazo ne mwe zituula, n’olutimbe olw’omu mulyango ogulaga mu luggya,
emiguwa gyalwo n’enkondo zaalwo;
ne byonna ebikozesebwa olw’emirimu gy’omu Weema ya Mukama, Eweema ey’Okukuŋŋaanirangamu;
41 ebyambalo ebiruke obulungi ebyambalwa mu kuweereza mu Kifo Ekitukuvu, ebyambalo ebitukuvu ebya Alooni kabona, n’ebyambalo bya batabani be bye bakozesa mu bwakabona nga baweereza.
 
42 Nga Mukama bwe yalagira Musa mu byonna, bwe batyo abaana ba Isirayiri omulimu gwonna bwe baagukola. 43 Awo Musa n’akebera omulimu gwonna, era n’alaba nga bagumalirizza. Nga Mukama bwe yalagira, nabo bwe batyo bwe baagukola. Awo Musa n’abasabira omukisa.