5
Eddembe mu Kristo
1 Kale nga Kristo bwe yatufuula ab’eddembe, bwe mutyo munywerere mu ddembe eryo muleme kusibwa nate mu kikoligo ky’obuddu.
2 Ka mbategeeze nze Pawulo: Bwe mukomolebwa, nga Kristo taliiko ky’abagasa.
3 Era nziramu okutegeeza buli muntu akomolebwa nti alina ebbanja okutuukiriza amateeka gonna.
4 Mwava mu Kristo mmwe abanoonya okufuna obutuukirivu olw’amateeka. Mwava mu kisa.
5 Kubanga ffe, ffe ku bw’Omwoyo olw’okukkiriza tulindirira n’essuubi obutuukirivu.
6 Kubanga mu Kristo Yesu, okukomolebwa oba obutakomolebwa, tekulina maanyi, wabula okukkiriza kukola olw’okwagala.
7 Mwali mutambula bulungi. Ani eyabasendasenda n’abaggya ku kugondera amazima?
8 Okusendebwasendebwa okwo, si kw’oyo eyabayita.
9 Ekizimbulukusa ekitono kizimbulukusa ekitole kyonna.
10 Mbeesiga mu Mukama waffe nga temujja kulowooza kintu kirala kyonna. Naye oyo abateganya alisalirwa omusango ne bw’aliba ani.
11 Naye nze abooluganda, oba nga nkyayigiriza okukomolebwa, lwaki njigganyizibwa? Kale enkonge ey’omusaalaba evuddewo.
12 Nnandyagadde abo abaabateganya beeraawe.
Obulamu bw’Omwoyo
13 Kubanga mmwe abooluganda mwayitibwa lwa ddembe, noolwekyo eddembe teribawa bbeetu kugoberera bya mubiri. Naye olw’okwagala buli omu abeerenga muweereza wa munne.
14 Kubanga amateeka gonna gatuukirizibwa mu tteeka lino nti: “Yagalanga muntu munno nga bwe weeyagala wekka.”
15 Naye obanga muneneŋŋana mwegendereze muleme okwezikiriza.
16 Mbagamba nti, mutambulirenga mu Mwoyo, mu ngeri yonna, mulemenga kutuukiriza kwegomba kwa mubiri.
17 Kubanga okwegomba kw’omubiri kulwanagana n’Omwoyo, n’Omwoyo n’alwanagana n’omubiri; kubanga bino byombi bikontana, mulemenga okukola bye mwagala.
18 Naye bwe muluŋŋamizibwa Omwoyo, olwo nga temukyafugibwa mateeka.
19 Ebikolwa by’omubiri bya lwatu, bye bino: obwenzi, obukaba, obugwenyufu,
20 Okusinza bakatonda abalala, obufumu, obulabe, okuyomba, obuggya, obusungu, okwekuluntaza, okweyawula, okwesalamu,
21 ettima, obutamiivu, ebinyumu, n’ebirala ebiri ng’ebyo. Ka mbategeeze nate nga bwe nasooka okubabuulira nti buli akola ebyo talina mugabo mu bwakabaka bwa Katonda.
22 Naye ebibala eby’Omwoyo bye bino: okwagala, essanyu, emirembe, obugumiikiriza, ekisa, obulungi, obwesigwa,
23 obuwombeefu, okwefuga; awali ebyo tewali tteeka libiwakanya.
24 N’abo aba Kristo Yesu baakomerera omubiri n’okwegomba kwagwo, n’omululu gwagwo.
25 Kale bwe tuba abalamu ku bw’Omwoyo, tugobererenga okuluŋŋamizibwa kw’Omwoyo.
26 Tulemenga okwemanya, n’okunyizaganya, n’okukwatiragananga obuggya.