2
Obuweereza bwa Pawulo mu Sessaloniika
Mmwe bennyini, abooluganda abaagalwa, mumanyi ng’okujja kwaffe gye muli tekwafa busa. Mumanyi nga bwe twabonaabonera e Firipi, n’okuyisibwa obubi kyokka ne tugumira mu Katonda waffe ne tubategeeza Enjiri ya Katonda nga tuli mu kuwakanyizibwa okungi. Kubanga okubuulirira kwaffe tekwali kwa bulimba so tekwali kwa bugwenyufu, wadde okw’obukuusa, naye nga bwe twasaanyizibwa Katonda n’atwesiga n’Enjiri, bwe twogera bwe tutyo, si ng’abaagala okusanyusa abantu, wabula tusiimibwe Katonda, oyo akebera ebirowoozo by’emitima gyaffe. Tetugezangako kubawangula na bigambo biwaaniriza nga nammwe bwe mumanyi, wadde okuba ab’omululu era Katonda akimanyi, newaakubadde okunoonyaamu ekitiibwa, newaakubadde okuva eri mmwe wadde abantu abalala, tulyoke tulabike ng’abatume ba Kristo ab’amaanyi. Naye twefuula ng’abaana abato mu maaso gammwe, nga nnyina w’abaana bwe yandyagadde abaana be, bwe tutyo bwe twabalumirwa omwoyo ne tusanyuka okubatuusaako si Enjiri ya Katonda yokka naye n’okuwaayo emyoyo gyaffe ffe, kubanga mwafuuka baagalwa baffe. Abooluganda mujjukire okufuba kwaffe n’okutegana kwaffe; bwe twakolanga emisana n’ekiro tuleme okubazitoowerera, nga tubabuulira Enjiri ya Katonda.
10 Mmwe muli bajulirwa baffe, era ne Katonda akimanyi, nga twali bakkiriza ddala era abatuukirivu abataaliko kya kunenyezebwa, abeeweerayo ddala bwe twali mu mmwe, 11 nga bwe mumanyi nga twali kitaawe wa buli omu ku mmwe nga kitaawe w’abaana bw’abeera eri abaana be, 12 nga tubabuulirira era nga tubagumya mu mwoyo era nga tubaweerako obujulirwa, ne tubakuutira okutambulanga nga musaanira mu maaso ga Katonda, oyo abayita okuyingira mu bwakabaka bwe ye ne mu kitiibwa kye.
13 Naffe kyetuva twebaza Katonda obutayosa, kubanga bwe mwawulira ekigambo ekiva gye tuli, temwakiwulira ng’ekiva eri abantu wabula ng’ekiva eri Katonda, nga ky’ekigambo kya Katonda kyennyini, ekikolera ne mu mmwe, abakkiriza. 14 Nammwe, abooluganda abaagalwa, mwabonaabona ng’Ekkanisa za Katonda eziri mu Buyudaaya mu Kristo Yesu, nga muyigganyizibwa abantu b’eggwanga lyammwe mmwe, nga nabo bwe baayigganyizibwa abantu b’eggwanga lyabwe Abayudaaya. 15 Bwe baamala okutta bannabbi baabwe, ne batta ne Mukama waffe Yesu, era naffe baatuyigganya nnyo; tebaasanyusa Katonda era balabe b’abantu bonna, 16 era baatugaana okubuulira Abaamawanga olw’okutya nti bajja kulokoka, kale ebibi byabwe byeyongera bulijjo; ku nkomerero, obusungu bwa Katonda bubabuubuukiddeko.
Pawulo Okwagala Okulaba Abasessaloniika
17 Abooluganda bwe twabaawukanako nga wayiseewo akaseera akatono, wadde essaawa emu, so ng’emitima gyaffe gisigadde eyo, twegomba nnyo okukomawo twongere okubalabako. 18 Twayagala nnyo okudda gye muli, na ddala nze, Pawulo; nagezaako emirundi n’emirundi, naye Setaani n’atuziyiza. 19 Kale Mukama waffe Yesu bw’alijja, si mmwe mulibeera essuubi n’essanyu lyaffe, n’engule ey’okwenyumiriza kwaffe? 20 Kubanga mmwe kitiibwa kyaffe era essanyu lyaffe.