5
Naye ku bikwata ku by’entuuko n’ebiro, abooluganda, ssetaaga kwongera kubawandiikira. Kubanga mmwe mwennyini mumanyi bulungi nti olunaku lwa Mukama waffe lulijja ng’omubbi bw’ajja ekiro. Abantu balirowooza mu mitima gyabwe nti, “Tulina emirembe era tulina obukuumi,” amangwango okuzikirira ne kulyoka kubajjira, ng’okulumwa bwe kujjira omukazi agenda okuzaala omwana; ne batawona n’akatono.
Naye mmwe, abooluganda abaagalwa temuli mu kizikiza ku nsonga zino, era temugenda kwekanga lunaku olwo ng’abayingiriddwa omubbi; Kubanga mmwe mwenna muli baana ba musana era baana ba butangaavu. Tetuli ba kiro yadde ab’ekizikiza. Noolwekyo tuleme kwebaka ng’abalala naye tutunulenga okwegomba kuleme okutufuga. Kubanga abeebaka beebaka kiro, n’abatamiira batamiira kiro. Naye ffe, kubanga tuli ba musana, tulemenga okutamiira. Twambale okukkiriza n’okwagala ng’ekyomu kifuba, era tube n’essuubi ery’obulokozi nga ye nkufiira yaffe. Kubanga ffe Katonda teyatulondera kufukibwako kiruyi kya busungu, wabula okutulokola ng’ayita mu Mukama waffe Yesu Kristo, 10 eyatufiirira ka tube nga tuli balamu oba nga tufudde, tulyoke tubeere balamu wamu naye. 11 Kale mugumyaganenga era muzimbaganenga nga bwe mubadde mukola.
Ebiragiro Ebisembayo
12 Kaakano tubeegayirira abooluganda, mumanye abafuba okukola emirimu mu mmwe era ababakulembera mu Mukama waffe era abababuulirira, 13 mubassengamu nnyo ekitiibwa mu kwagala olw’omulimu gwabwe. Mubenga bantu ba mirembe. 14 Tubakuutira abooluganda, mubuulirirenga abagayaavu, mugumyenga abo abalimu okutya, muyambenga abatalina maanyi, mubenga bagumiikiriza eri abantu bonna. 15 Mulabenga nga mu mmwe temuli muntu asasula ekibi olw’ekibi, naye bulijjo mukolenga obulungi buli muntu ne munne, era n’eri abantu bonna. 16 Musanyukenga ennaku zonna.
Musabenga
17 Musabenga obutayosa. 18 Mwebazenga olwa buli kintu kyonna, kubanga ekyo Katonda ky’abaagaliza mmwe abali mu Kristo Yesu. 19 Temuzikizanga Mwoyo Mutukuvu, 20 era temunyoomanga abo aboogera eby’obunnabbi, 21 naye mwekenneenyenga ebintu byonna, kale bwe bibanga ebirungi mubinywezenga. 22 Mwewalenga buli ngeri ya kibi.
23 Katonda ow’emirembe abatukulize ddala, era omwoyo gwammwe gwonna, n’emmeeme yammwe n’omubiri gwammwe, bikuumibwenga nga tebiriiko kya kunenyezebwa okutuusa ku lunaku olw’okujja kwa Mukama waffe Yesu Kristo. 24 Oyo eyabayita mwesigwa era alikituukiriza.
 
 
25 Abooluganda, naffe, mutusabirenga.
 
26 Mulamuse abooluganda bonna mu kulamusa okutukuvu.
 
27 Mbalagira mu linnya lya Mukama waffe ebbaluwa eno mugisomere abooluganda bonna.
 
28 Ekisa kya Mukama waffe Yesu Kristo kibeerenga nammwe.