5
1 Buli Kabona Asinga Obukulu alondebwa mu bantu n’ateekebwawo okuweereza Katonda ku lwabwe, alyoke awengayo ebirabo n’essaddaaka olw’ebibi byabwe.
2 Asobola okukwata empola abantu abatamanyi era n’abo abakyama, kubanga naye yennyini muntu eyeetooloddwa obunafu.
3 Olw’obunafu obwo, kimugwanira okuwangayo ssaddaaka ku lulwe yennyini ne ku lw’abantu.
4 Tewali muntu yenna ayinza okwefuula kabona wabula ng’ayitiddwa Katonda okukola omulimu, nga bwe yayita Alooni.
5 Ne Kristo bw’atyo teyeegulumiza yekka, okufuuka Kabona Asinga Obukulu. Katonda yamwogerako nti,
“Ggwe oli Mwana wange,
leero nkuzadde ggwe.”
6 Era n’awalala agamba nti,
“Ggwe walondebwa okuba Kabona emirembe n’emirembe,
ng’olubu lwa Merukizeddeeki bwe luli.”
7 Mu kiseera Yesu kye yabeerera ku nsi mu mubiri ogw’obuntu, yasaba ne yeegayirira oyo ayinza okumulokola mu kufa nga bw’akaaba amaziga mu ddoboozi ery’omwanguka. Yesu yasinza Katonda mu mazima, Katonda n’awulira okusaba kwe.
8 Newaakubadde yali Mwana wa Katonda, yayiga okumugondera ne bwe kwamutuusanga mu kubonaabona.
9 Era bwe yamala okutuukirizibwa, n’afuuka obulokozi obutaggwaawo eri abo bonna abagondera Katonda.
10 Katonda yamuyita okuba Kabona Asinga Obukulu ng’olubu lwa Merukizeddeeki bwe luli.
Okulabula ku Kudda Ennyuma
11 Waliwo bingi bye twandiyagadde okumwogerako, naye ate nga kizibu okubinyonnyola, kubanga temuyiga mangu.
12 Newaakubadde nga kaakano mwandibadde musobola okuyigiriza abalala, kyetaaga okuddamu okubayigiriza, ebintu ebya bulijjo eby’amazima ebikwata ku kigambo kya Katonda. Mwetaaga mata so si mmere enkalubo ey’abakulu.
13 Kubanga omuntu bw’aba ng’akyanywa mata, aba akyali mwana muto. Aba tannategeera kigambo kikwata ku by’obutuukirivu.
14 Naye emmere enkalubo ya bakulu, abeeyigirizza okwawulanga ekirungi n’ekibi.