4
Okulabula eri Isirayiri
Muwulire ekigambo kya Mukama, mmwe abantu ba Isirayiri,
kubanga Mukama abalinako ensonga
mmwe abatuula mu nsi.
“Obwesigwa n’okwagala Katonda,
n’okumumanya bikendedde mu nsi.
Waliwo okukolima, n’okulimba, n’okutta,
n’okubba, n’okukola eby’obwenzi;
bawaguza,
era bayiwa omusaayi obutakoma.
Ensi kyeneeva ekaaba,
ne bonna abagibeeramu ne bafuuka ekitagasa;
n’ensolo enkambwe ez’omu nsiko zirifa, n’ennyonyi ez’omu bbanga nazo zirifa,
n’ebyennyanja ebiri mu nnyanja ne bifa.
 
“Naye temuloopagana,
so tewabaawo muntu avunaana munne,
kubanga ensonga
ngivunaana gwe kabona.
Wakola ebibi emisana n’ekiro,
ne bannabbi ne babikolera wamu naawe;
kyendiva nzikiriza maama* wo.
Abantu bange bazikiridde olw’obutamanya.
 
“Kyemunaava mulema
okubeera bakabona bange;
era olw’okulagajjalira etteeka lya Katonda wo,
nange kyendiva ndagajjalira abaana bo.
Gye beeyongera okuba abangi,
gye baakoma n’okukola ebibi;
baasuula ekitiibwa kyabwe ne banswaza.
Bagaggawalira ku bibi by’abantu bange,
era basemba okwonoona kwabwe.
Era bwe kityo bwe kiriba eri abantu n’eri bakabona:
ndibabonereza olw’enneeyisa yaabwe,
era ne mbasasula ng’ebikolwa byabwe.
 
10 “Balirya naye tebalikkuta,
balikola ebibi eby’obwenzi kyokka tebalyeyongera bungi,
kubanga bavudde ku Mukama ne beewaayo 11 eri obwenzi,
wayini omukadde n’omusu,
ne bibamalamu okutegeera. 12 Abantu bange
beebuuza ku kikonge ky’omuti,
ne baddibwamu omuti.
Omwoyo ogw’obwenzi gubasendasenda
ne gubaleetera obutaba beesigwa eri Katonda waabwe.
13 Baweerayo ssaddaaka ku ntikko z’ensozi,
ne baweerayo ebiweebwayo ebyokebwa ku busozi,
wansi w’emyalooni, n’emiribine n’emyera
awali ekisiikirize ekirungi.
Bawala bammwe kyebava baba bamalaaya,
ne baka baana bammwe ne bakola obwenzi.
 
14 “Siribonereza bawala bammwe
olw’okubeera bamalaaya,
newaakubadde baka baana bammwe
okukola eby’obwenzi,
kubanga abasajja bennyini bassa bumu ne bamalaaya,
ne baweerayo ssaddaaka ne bamalaaya ab’omu masabo;
abantu abatategeera balizikirira.
 
15 “Newaakubadde ggwe Isirayiri oyenda,
omusango guleme okuba ku Yuda.
Togenda Girugaali,
newaakubadde okwambuka e Besaveni.
Tolayiranga nti, ‘Nga Katonda bw’ali omulamu.’
16 Abayisirayiri bakakanyavu mu mitima
ng’ennyana endalu.
Olwo Mukama ayinza atya okubalabirira
ng’abaana b’endiga abali mu kisibo?
17 Efulayimu yeegasse n’abasinza ebifaananyi,
mumuleke abeere yekka.
18 Ebyokunywa ne bwe bibaggwaako,
beeyongera mu bwamalaaya;
n’abakulembeze baabwe baagala nnyo eby’ensonyi:
19 Embuyaga kyeziriva zibatwala,
ne ssaddaaka zaabwe ne zibaswaza.”
* 4:5 maama kitegeeza Obwakabaka bwa Isirayiri 4:15 Besaveni kitegeeza ennyumba ey’abakozi b’ebibi