8
Isirayiri Akungula Embuyaga
“Ffuwa ekkondeere.
Empungu eri ku nnyumba ya Mukama
kubanga abantu bamenye endagaano yange
ne bajeemera amateeka gange.
Isirayiri bankaabira nga boogera nti,
‘Katonda waffe, tukumanyi.’
Naye Isirayiri baleseeyo ekirungi;
omulabe kyaliva abayigganya.
Balonda bakabaka nga sikkirizza,
balonda abakulembeze be sikakasizza.
Beekolera ebifaananyi ebyole
mu ffeeza yaabwe ne mu zaabu yaabwe ebiribaleetera okuzikirira.
Kanyuga ebweru ekifaananyi ky’ennyana yo, ggwe Samaliya.
Obusungu bwange bubabuubuukirako.
Balituusa ddi okuba abatali batuukirivu?
Bava mu Isirayiri.
Ennyana eyo omuntu eyakuguka mu by’okuweesa, ye yagikola
so si Katonda.
Era ennyana eyo eya Samaliya
eribetentebwa.
 
“Basiga empewo,
ne bakungula embuyaga.
Ekikolo olw’obutaba na mutwe,
kyekiriva kirema okubala ensigo.
Naye ne bwe kyandibaze,
bannaggwanga bandigiridde.
Isirayiri amaliddwawo;
ali wakati mu mawanga
ng’ekintu ekitagasa.
Bambuse ne bagenda eri Obwasuli,
ng’endogoyi ey’omu nsiko eri yokka.
Efulayimu aguliridde abaganzi.
10 Newaakubadde nga beetunze eri amawanga,
ndibakuŋŋaanya,
era ndibawaayo eri okubonaabona
nga banyigirizibwa kabaka ow’amaanyi.
 
11 “Newaakubadde nga Efulayimu baazimba ebyoto bingi eby’ebiweebwayo olw’ekibi,
bifuuse byoto bya kukolerako bibi.
12 Nabawandiikira ebintu bingi mu mateeka gange,
naye ne babifuula ekintu ekigwira.
13 Bawaayo ebiweebwayo gye ndi,
ne balya ennyama yaabyo,
Mukama tabasanyukira.
Kaakano alijukira obutali butuukirivu bwabwe
n’ababonereza olw’ebibi byabwe:
Baliddayo e Misiri.
14 Isirayiri yeerabidde omutonzi we,
n’azimba embiri,
ne Yuda ne yeeyongera okuzimba ebibuga ebiriko bbugwe;
naye ndisindika omuliro ku bibuga byabwe,
ne gwokya ebigo byabwe.”