10
Nga zibasanze abo abateeka amateeka agatali ga bwenkanya,
n’abo abawa ebiragiro ebinyigiriza,
okulemesa abaavu ne batafuna nsala ebagwanidde;
era n’okunyaga ku bantu bange abaavu ebyabwe,
ne bafuula bannamwandu omunyago gwabwe,
n’abatalina ba kitaabwe omuyiggo gwabwe!
Mulikola mutya ku lunaku Mukama lwalisalirako omusango
ne mu kuzikirira okuliva ewala?
Muliddukira w’ani alibayamba?
Obugagga bwammwe mulibuleka wa?
Muliba temusigazza kya kukola kirala wabula okutwalibwa nga mukutaamiridde mu busibe
oba okuba mu abo abattiddwa.
 
Naye wadde nga biri bityo, obusungu bwe buliba tebunnaggwaawo,
era n’omukono gwe guliba gukyagoloddwa.
Omusango Katonda Gwalisalira Bwasuli
“Zikusanze Bwasuli, omuggo gw’obusungu bwange,
era omuggo gw’ekiruyi kyange.
Mmutuma okulumba eggwanga eritatya Mukama,
era mmusindika eri abantu abansunguwazizza,
abanyage, ababbire ddala,
n’okubasambirira abasambirire ng’ebitoomi eby’omu nguudo.
Naye kino si kye kigendererwa kye,
kino si ky’alowooza.
Ekigendererwa kye kwe kuzikiriza,
okumalirawo ddala amawanga mangi.
‘Abaduumizi bange bonna tebenkana bakabaka?’ bw’atyo bw’ayogera.
‘Kalino tetwakizikiriza nga Kalukemisi,
ne Kamasi nga Alupaadi,
ne Samaliya nga Ddamasiko?
10 Ng’omukono gwange bwe gwawamba obwakabaka obusinza bakatonda ababajje,
abasinga n’abo ab’omu Yerusaalemi ne Samaliya,
11 nga bwe nakola Samaliya ne bakatonda baabwe abalala
si bwe nnaakola Yerusaalemi ne bakatonda baabwe ababajje?’ ”
12 Mukama bw’alimaliriza omulimu gwe ku lusozi Sayuuni era ne ku Yerusaalemi n’alyoka abonereza kabaka w’e Bwasuli olw’okwewaana n’okuduula kwe n’entunula ye ey’amalala. 13 Kubanga yayogera nti,
“ ‘Bino byonna mbikoze olw’amaanyi g’omukono gwange,
era n’olw’amagezi gange,
kubanga ndi mukalabakalaba:
Najjulula ensalo z’amawanga ne nnyaga obugagga bwabwe,
ng’ow’amaanyi omuzira ne nzikakkanya bakabaka baabwe.
14 Ng’omuntu bw’akwata mu kisu,
omukono gwange gw’akunuukiriza ne gukwata mu bugagga bw’amawanga;
ng’abantu bwe balondalonda amagi agalekeddwawo,
bwe ntyo bwe nakuŋŋaanya amawanga gonna,
tewali na limu lyayanjuluza ku kiwaawaatiro,
newaakubadde eryayasamya akamwa kaalyo okukaaba.’ ”
 
15 Embazzi eyinza okweyita ey’ekitalo okusinga oyo agitemesa?
Omusumeeno gulyekuza okusinga oyo agusazisa?
Gy’obeera nti oluga luyinza okuwuuba omuntu alukozesa,
oba omuggo okusitula oyo atali muti.
16 Noolwekyo Mukama, Mukama Katonda Ayinzabyonna,
kyaliva aweereza obukovvu bulye abasajja be abaagejja,
era wansi w’okujaganya n’ekitiibwa kye akoleeze wo omuliro
ogwokya ng’oluyiira.
17 Ekitangaala kya Isirayiri kirifuuka omuliro,
n’Omutukuvu waabwe abeere olulimi lw’omuliro,
mu lunaku lumu kyokye kimalirewo ddala
amaggwa ge n’emyeramannyo gye.
18 Era kiryokya ne kimalirawo ddala ekitiibwa ky’ebibira bye,
n’ennimiro ze, engimu,
ng’omusajja omulwadde bwaggweerawo ddala.
19 N’emiti egy’omu kibira kye egirisigalawo giriba mitono nnyo
nga n’omwana ayinza okugibala.
Abalisigalawo ku Isirayiri
20 Awo olulituuka ku lunaku olwo, abaliba bafisseewo ku Isirayiri,
n’abo abaliba bawonye ku nnyumba ya Yakobo
nga tebakyeyinulira ku oyo*
eyabakuba
naye nga beesigama ku Mukama Katonda,
omutukuvu wa Isirayiri mu mazima.
21 Ekitundu ekirifikkawo kirikomawo, ekitundu kya Yakobo
kirikomawo eri Katonda ow’amaanyi.
22 Kubanga wadde abantu bo bangi ng’omusenyu gw’ennyanja,
abalikomawo nga balamu baliba batono.
Okuzikirira kwo kwa kubaawo
kubanga kusaanidde.
23 Kubanga Mukama, Mukama Katonda ow’Eggye alireeta
enkomerero eteriiko kubuusabuusa nga bwe yateekateeka entuuko mu nsi yonna.
24 Noolwekyo Mukama, Mukama Katonda ow’Eggye kyava ayogera nti,
“Mmwe abantu bange ababeera mu Sayuuni,
temutyanga Abasuli,
newaakubadde nga babakuba n’oluga
era nga babagololera omuggo nga Abamisiri bwe baakola.
25 Kubanga mu kaseera katono nnyo
obusungu bwange gy’oli bujja kukoma era ekiruyi kyange kiribazikiriza.”
 
26  Mukama Katonda ow’Eggye alibakuba n’akaswanyu
nga bwe yakuba aba Midiyaani ku lwazi lw’e Olebu.
Era aligololera oluga lwe ku nnyanja
nga bwe yakola e Misiri.
27 Ku lunaku olwo, omugugu gwe guliggyibwa ku bibegabega byo,
n’ekikoligo kye kive ku nsingo yo;
ekikoligo kirimenyebwa
olw’obugevvu bwo.
 
28 Laba eggye ly’omulabe lituuse liwambye Yagasi,
liyise mu Migulooni,
era mu Mikumasi gye balireka emigugu gyabwe.
29 Bayise awavvuunukirwa, e Geba
ne basulayo ekiro kimu,
Laama akankana,
Gibea wa Sawulo adduse.
30 Kaaba n’eddoboozi ery’omwanguka ggwe omuwala wa Galimu!
Ggwe Layisa wuliriza!
Ng’olabye Anasosi!
31 Madumena adduse,
abantu b’e Gebimu beekukumye.
32 Olwa leero bajja kusibira Nobu,
balyolekeza ekikonde kyabwe
eri olusozi lwa Muwala wa Sayuuni,
akasozi ka Yerusaalemi.
 
33 Laba, Mukama, Mukama Katonda ow’Eggye,
alitema amatabi n’entiisa
n’emiti emiwanvu n’emiwagguufu giritemerwa ddala,
n’emiti emiwanvu girikkakkanyizibwa.
34 Era alitemera ddala n’embazzi ebisaka by’omu kibira;
Lebanooni aligwa mu maaso g’oyo Ayinzabyonna.
* 10:20 Kino kyogera ku bantu ba Bwasuli