14
1 Mukama Katonda alikwatirwa Yakobo ekisa,
addemu alonde Isirayiri
abazze ku ttaka lyabwe.
Ne bannamawanga balibeegattako
era babeere wamu nga babeeyungiddeko ddala.
2 N’amawanga mangi galibayamba
okudda mu nsi yaabwe,
n’ennyumba ya Isirayiri ebeere n’abantu
abamawanga amangi mu nsi ya Mukama Katonda, nga baweereza baabwe abasajja n’abakazi.
Baliwamba abaali babawambye,
bafuge abo abaabakijjanyanga.
3 Awo olunaku Mukama Katonda lw’alibawa okuwummula okuva mu kulumwa kwammwe n’okukijjanyizibwa kwe mubaddemu nga mukozesebwa,
4 oligera olugero luno ku kabaka w’e Babulooni n’oyogera nti:
Omujoozi ng’agudde n’aggwaawo!
Ekibuga ekya zaabu ekibadde kitutigomya nga tekikyaliwo!
5 Mukama Katonda amenye omuggo ogw’abakozi b’ebibi,
omuggo gw’obwakabaka ogw’abo abafuga.
6 Ogwakubanga olutata
amawanga n’obusungu,
ogwafugisanga amawanga ekiruyi,
ne gubayigganyanga nga tewali aguziyiza.
7 Ensi yonna ewummudde eri mu mirembe,
era batandise okuyimba.
8 Si ekyo kyokka n’enfugo n’emivule gya Lebanooni,
nagyo gikuyeeyeereza nti,
“Kasookanga ogwa
tebangayo ajja kututema.”
9 Amagombe wansi gagugumuka ku lulwo
okukusisinkana ng’ojja,
gagolokosa emyoyo gy’abafu ku lulwo,
bonna abaali abakulembeze b’ensi;
gayimusizza bakabaka ku ntebe zaabwe,
bonna abaali bakabaka baamawanga.
10 Abo bonna balyogera
ne bakugamba nti,
“Naawe oweddemu amaanyi nga ffe!
Naawe ofuuse nga ffe!”
11 Ekitiibwa kyo kyonna kissibbwa emagombe,
awamu n’amaloboozi g’ennanga zo;
bakwalidde envunyu,
n’ensiriŋŋanyi zikubisseeko.
12 Ng’ogudde okuva mu ggulu,
ggwe emunyeenye ey’enkya, omwana w’emambya!
Ng’otemeddwa n’ogwa ku ttaka,
ggwe eyamegganga amawanga!
13 Wayogera mu mutima gwo nti,
“Ndirinnya mu ggulu,
ndigulumiza entebe yange
okusinga emunyeenye za Katonda;
era nditeeka entebe yange waggulu ntuule
ku lusozi olw’okukuŋŋaanirako ku njuyi ez’enkomerero ez’obukiikakkono;
14 ndyambuka okusinga ebire we bikoma,
ndyoke nfuuke ng’oyo ali waggulu ennyo.”
15 Naye ossibbwa wansi emagombe,
ku ntobo y’obunnya.
16 Abo abanaakulabanga banaakwekalirizanga
bakwewuunye nga bagamba nti,
“Ono si ye musajja eyayugumyanga ensi,
ng’anyeenyanyeenya obwakabaka!
17 Eyafuula ensi okuba eddungu
n’asuula ebibuga byayo,
atakkirizanga bawambe kudda waabwe!”
18 Bakabaka bonna ab’ensi bagalamidde mu kitiibwa,
buli omu mu ntaana ye,
19 naye osuulibbwa okukuggya mu malaalo go
ng’ettabi ery’omuzizo eryakyayibwa,
ng’oteekeddwa wamu n’abattibwa, abaafumitibwa n’ekitala,
abakka eri amayinja g’obunnya;
ng’omulambo ogulinyiriddwa.
20 Toligattibwa n’abo mu kuziikibwa
kubanga wazikiriza ensi yo n’otta abantu bo;
ezzadde ly’abo abaakola ebibi
teriryongerwako n’akatono.
21 Mutegeke ekifo batabani be we banattirwa
olw’obutali butuukirivu bwa bakitaabwe,
baleme okugolokoka ne balya ensi,
ne bajjuza ensi yonna ebibuga byabwe.
22 “Nange ndibagolokokerako,” bw’ayogera Mukama Katonda ow’Eggye,
“ne mmalawo mu Babulooni erinnya lye, n’abalifikkawo,
n’omwana n’omuzzukulu,”
bw’ayogera Mukama Katonda.
23 “Era ndimufuula obutaka bw’ebiwuugulu,
n’entobazzi
era mwere n’olweyo oluzikiriza,”
bw’ayogera Mukama Katonda ow’Eggye.
Obunnabbi bw’Okusuulibwa kwa Bwasuli
24 Mukama Katonda ow’Eggye alayidde n’ayogera nti,
“Ddala nga bwe nalowooza, bwe kirituukirira bwe kityo
era nga bwe nateesa,
bwe kirinywera bwe kityo.
25 Ndimenyera Omwasuli mu nsi yange,
era ndimulinnyirira ku nsozi zange.
Ekikoligo kye kiribavaako,
n’omugugu gwe guliggyibwa ku kibegabega kye.”
26 Eno y’entegeka eyategekerwa ensi yonna:
era guno gwe mukono ogwagololwa ku mawanga gonna.
27 Kubanga Mukama Katonda ow’Eggye ye yateesa, kale ani ayinza okukijjulula?
Omukono gwe gugoloddwa, kale ani ayinza okuguzzaayo?
Obunnabbi Obukwata ku Bufirisuuti
28 Mu mwaka kabaka Akazi mwe yafiira ne wabaawo obubaka buno.
29 Tosanyuka ggwe Bufirisuuti yonna,
kubanga omuggo ogwakukuba gumenyese,
ne ku kikolo ky’omusota kulivaako enswera,
n’ezzadde lyalyo liriba musota ogw’obusagwa oguwalabuka.
30 Abasingirayo ddala okuba abaavu balifuna ekyokulya,
n’abali mu kwetaaga balifuna ku tulo
naye ekikolo kyo ndikittisa enjala
ate abo abalisigalawo mbattise ekitala.
31 Leekaana ggwe wankaaki, kaaba ggwe ekibuga,
osaanuuke olw’entiisa ggwe Bufirisuuti yonna!
Kubanga mu bukiikakkono muvaamu omukka,
eggye ery’abalwanyi omutali munafu.
32 Kale kiki kye banaddamu
ababaka b’eggwanga eryo?
“Mukama yassaawo Sayuuni,
ne mu kyo abantu be ababonyaabonyezebwa mwe balifuna obuddukiro.”