2
Olusozi lwa Mukama
Kuno kwe kwolesebwa Isaaya omwana wa Amozi kwe yalaba ku Yuda ne Yerusaalemi.
 
Olulituuka mu nnaku ez’oluvannyuma
olusozi okuli ennyumba ya Mukama Katonda
lulinywezebwa lusinge ensozi zonna okugulumira,
luliyimusibwa lusukke ku ndala zonna,
era amawanga gonna galilwolekera.
Abantu bangi balijja bagambe nti,
Mujje twambuke tulinnye ku lusozi lwa Mukama,
mu nnyumba ya Katonda wa Yakobo,
alyoke atuyigirize amakubo ge,
tulyoke tutambulire mu mateeka ge.
Kubanga Mukama aliteeka amateeka ng’asinziira mu Sayuuni,
era mu Yerusaalemi abayigirize ekigambo kye.
Alisala enkaayana z’amawanga,
aliramula emisango gy’abantu bangi,
era ebitala byabwe balibiwesaamu enkumbi,
n’amafumu gaabwe bagaweeseemu ebiwabyo.
Eggwanga teririyimusa kitala ku ggwanga linnaalyo,
so tebalyetegeka kulwana ntalo nate.
Mukama Ayita Ennyumba Ya Yakobo Okwenenya
Ggwe ennyumba ya Yakobo,
mujje tutambulire mu kitangaala kya Mukama Katonda.
Wayabulira abantu bo
ab’ennyumba ya Yakobo,
kubanga eggwanga lijjudde obusamize obuva mu buvanjuba,
n’obulaguzi obuli nga obw’omu Bafirisuuti,
era basizza kimu ne bannamawanga.
Ensi yaabwe ejjudde effeeza ne zaabu,
n’obugagga bwabwe tebuliiko kkomo:
ensi yaabwe ejjudde embalaasi,
era erimu n’amagaali g’embalaasi mangi nnyo.
Ensi yaabwe ejjudde bakatonda ababumbe,
basinza omulimu gw’emikono gyabwe bo,
engalo zaabwe gwe zeekolera.
Kale omuntu wa kukkakkanyizibwa,
omuntu wa kussibwa wansi.
Mukama, tobasonyiwa!
 
10 Mugende mwekweke mu njazi,
mwekweke mu binnya wansi mu ttaka,
nga mudduka entiisa ya Mukama Katonda,
nga mudduka entiisa y’ekitiibwa ky’obukulu bwe.
11 Olunaku lujja okweyisa kw’omuntu
n’amalala ge lwe birizikirizibwa,
era Mukama Katonda yekka yaligulumizibwa ku olwo.
 
12 Kubanga Mukama Katonda ow’Eggye alina olunaku lw’ategese
eri abo bonna ab’amalala era abeewanise,
eri ebyo byonna eby’egulumiza ebijjudde
okwemanya n’okwewulira.
13 Alizikiriza emiti gy’omu Lebanooni,* emiwanvu emigulumivu,
n’emivule gyonna egya Basani.
14 Era n’ensozi zonna empanvu,
n’obusozi bwonna obugulumivu.
15 Na buli mulongooti gwonna omuwanvu,
na buli bbugwe gwe bakomese.
16 Alizikiriza emmeeri zonna ez’e Talusiisi,
n’ebifaananyi byonna ebisiige eby’omuwendo omungi.
17 Era okwegulumiza kw’abantu kulijemulukuka,
n’amalala g’abantu galissibwa;
era Mukama Katonda yekka yaligulumizibwa ku lunaku olwo.
18 N’ebifaananyi bye basinza birizikiririzibwa ddala ku olwo.
 
19 Abantu balidduka ne beekweka mu mpuku mu mayinja,
ne mu binnya mu ttaka,
nga badduka entiisa
n’ekitiibwa ky’obukulu bwa Mukama Katonda,
bwaliyimuka okukankanya ensi n’amaanyi.
20 Ku lunaku olwo abantu balisuulira ddala
bakatonda baabwe abakole mu ffeeza, n’abakole mu zaabu,
be beekolera nga ba kusinzanga,
ne babakanyuga eri emmese n’eri ebinyira.
21 Balidduka ne beekukuma mu mpuku
ez’amayinja amaatifu
nga badduka entiisa
n’ekitiibwa ky’obukulu bwa Mukama Katonda,
bwaliyimuka okukankanya ensi.
 
22 Mulekeraawo okwesiga omuntu
alina omukka obukka mu nnyindo ze.
Kiki ennyo kyali?
* 2:13 Lebanooni kitundu ekiri mu buvanjuba bwa Yoludaani, ekimanyiddwa olw’emivule gyayo n’ente ennyingi