24
Mukama Ayogera ku Kuzikiriza Ensi
Laba Mukama alifuula ensi amatongo,
agimalirewo ddala,
era azikirize n’obwenyi bwayo
era asaasaanye n’abagibeeramu.
Bwe kityo bwe kiriba,
ekiriba ku kabona kye kiriba ne ku bantu,
ekiriba ku mwami kye kiriba ne ku muweereza omusajja,
ekiriba ku mugole we kye kiriba ne ku muweereza we omukazi,
ekiriba ku atunda kye kiriba ne ku muguzi,
ekiriba ku awola kye kiriba ne ku yeewola,
ekiriba ku abanja kye kiriba ne ku abanjibwa.
Okumalibwamu ensa, ensi erimalibwamu ddala ensa,
n’okunyagibwa, erinyagibwa.
Mukama Katonda y’akyogedde.
 
Ensi ekala n’eggwaamu obulamu,
ensi ekala n’ewuubaala,
abantu ab’ekitiibwa baggwaamu amaanyi.
Ensi eyonooneddwa abantu baayo,
bajeemedde amateeka,
bamenye ebiragiro,
ne bamenyawo n’endagaano ey’emirembe n’emirembe.
Noolwekyo ekikolimo kimalawo ensi;
n’abantu baayo bateekwa okusasula olw’omusango ogwabasinga.
Abatuuze b’ensi bayidde,
Era abatono be basigaddewo.
Wayini omusu aggwaamu, n’omuzabbibu gukala,
ab’amasanyu bonna bakaaba olw’obulumi.
Okujaguza kw’ebitaasa kusirise,
n’oluyoogaano lw’abo ababeera mu masanyu lusirise,
entongooli esanyusa esirise.
Tebakyanywa nvinnyo nga bwe bayimba,
n’omwenge gukaayira abagunywa.
10 Ekibuga ekyazikirizibwa kisigadde nga matongo,
na buli mulyango oguyingira mu nnyumba guzibiddwa.
11 Bakaabira envinnyo mu nguudo,
n’essanyu lyonna liweddewo,
n’okujaguza kwonna tekukyaliwo mu nsi.
12 Ekibuga kizikiridde
wankaaki waakyo amenyeddwamenyeddwa.
13 Bwe kityo bwe kiriba ku nsi
ne mu mawanga
ng’omuzeyituuni bwe gunyeenyezebwa
oba ng’ebinywa ebisigaddewo bwe bibeera oluvannyuma lw’okukungula kw’ezabbibu.
 
14 Bayimusa amaloboozi gaabwe, baleekaana olw’essanyu,
batendereza ekitiibwa kya Mukama Katonda okuva mu bugwanjuba.
15 Noolwekyo abo abali mu buvanjuba mugulumize Mukama,
mutendereze erinnya lya Mukama Katonda wa Isirayiri,
mu bizinga eby’ennyanja.
16 Tuwulira okuyimba okuva ku nkomerero y’ensi,
“Ekitiibwa kibeere eri Omutuukirivu.”
 
Naye ne njogera nti, “Nsanawo, nsanawo.
Zinsaze.
Ab’olukwe balya mu bannaabwe olukwe,
Ab’enkwe bakozesa enkwe okulya mu bannaabwe olukwe.”
17 Entiisa n’obunnya n’omutego bibalindiridde,
mmwe abantu b’ensi.
18 Buli alidduka eddoboozi ery’entiisa,
aligwa mu kinnya,
na buli alirinnya n’ava mu kinnya
alikwatibwa mu mutego.
 
Enzigi z’eggulu ziguddwawo,
N’emisingi gy’ensi gikankana.
19 Ensi emenyeddwamenyeddwa,
ensi eyawuliddwamu,
ensi ekankanira ddala.
20 Ensi etagala ng’omutamiivu,
eyuugayuuga ng’akasiisira bwe kayuugayuuga mu kibuyaga,
omusango gwe gumulumiriza nnyo olw’obujeemu bwe,
era ensi egwa n’etaddamu kuyimuka.
 
21 Ku lunaku olwo Mukama Katonda alibonereza
ab’amaanyi abali waggulu mu bwengula,
ne bakabaka abali wansi ku nsi.
22 Balikuŋŋaanyirizibwa wamu
ng’abasibe bwe bakuŋŋanyirizibwa mu kkomera,
era baliweebwa ekibonerezo
eky’okuggalirwa mu kkomera ennaku ennyingi.
23 Omwezi gulitabulwatabulwa, n’enjuba eriswazibwa;
Mukama Katonda ow’Eggye alifugira mu kitiibwa
ku Lusozi Sayuuni ne mu Yerusaalemi,
ne mu maaso g’abakadde.