27
Okununulibwa kwa Isirayiri
Mu biro ebyo,
Mukama Katonda alibonereza n’ekitala kye,
ekitala kye eky’amaanyi, ekikambwe era ekinene,
alibonereza Lukwata omusota ogwekulungula,
Lukwata omusota ogwezinga,
atte n’ogusota gw’ennyanja.
Mu biro ebyo
“Yimba oluyimba ku bibala eby’ennimiro ey’emizabbibu ebaze ebibala.
Nze Mukama Katonda, ennimiro nze ngirabirira
era nze ngifukirira buli kiseera.
Ngikuuma emisana n’ekiro
Waleme kubaawo n’omu agikola akabi.
Siri munyiivu.
Singa katazamiti n’amaggwa binnumba,
nandibitabadde mu lutalo?
Byonna nandibyokezza omuliro.
Oba si weewaawo ajje gye ndi afune obuddukiro, tutabagane,
weewaawo tutabagane.”
Mu biro ebijja Yakobo alisimba emirandira,
Isirayiri aliroka n’amulisa
n’ajjuza ensi yonna ebibala.
 
Mukama amukubye omuggo
ng’akuba abo abaamukuba?
Attiddwa
nga be yatta, bwe battibwa?
Olwanagana naye n’omusobola,
n’omuwaŋŋangusa, omugoba n’okuwuuma okw’amaanyi,
ng’embuyaga ey’ebuvanjuba bw’efuuwa ku lunaku lwayo.
Ekyo kye kiriggyawo omusango gwa Yakobo,
era ekyo kye kiriba ekibala ekijjuvu ekiriggyawo ekibi kye.
Bw’aliddira amayinja gonna ag’ekyoto okuba amayinja ag’ennoni
agayasiddwayasiddwa,
tewaliba Baasera newaakubadde ebyoto eby’okwoterezaako obubaane
ebirisigala biyimiridde.
10 Ddala ddala ekibuga ekyaliko enkomera kaakano matongo,
ekirekeddwa awo ng’eddungu.
Eyo ennyana gy’eriira era gy’egalamira,
n’erya amalagala gonna ku matabi gaago.
11 Amatabi gaakyo bwe gakala,
gamenyebwako, abakazi ne bagakuŋŋaanya ne bagakumisa omuliro.
Bano bantu abatategeera,
eyamukola tamusaasira,
n’eyamutonda tamukwatirwa kisa.
12 Mu biro ebyo Mukama alikusengejja okuva mu mazzi agakulukuta ag’Omugga Fulaati okutuuka ku mugga gw’e Misiri we guyiwa, era mmwe abaana ba Isirayiri mulikuŋŋaanyizibwa kinnoomu. 13 Era mu biro ebyo ekkondeere eddene lirivuga, n’abo abaali boolekedde okuzikiririra mu nsi y’e Bwasuli, n’abo abaali baawaŋŋangusizibbwa mu Misiri balikomawo ne basinza Mukama ku lusozi olutukuvu e Yerusaalemi.