35
Essanyu ly’Abanunule
1 Eddungu n’ensi enkalu birijaguza;
Eddungu lirisanyuka ne limeramu ebintu.
Ebimuli ebifaanana ng’ejjirikiti
2 birimeruka,
birijaguza nnyo ne biwowogana n’essanyu mu ddoboozi ery’omwanguka.
Ekitiibwa kya Lebanooni kirigiweebwa,
ekitiibwa kya Kalumeeri ne Saloni;
baliraba ekitiibwa kya Mukama,
ekitiibwa kya Katonda waffe.
3 Muzzeemu amaanyi emikono eminafu, n’amaviivi agajugumira mugagumye.
4 Mugambe abo abalina omutima omuti nti,
Mubeere n’amaanyi temutya:
laba Katonda wammwe alijja;
alibalwanirira,
alage abalabe bammwe obusungu obw’Obwakatonda,
era alibalokola.
5 Olwo amaaso g’abazibe galiraba,
era n’amatu ga bakiggala galigguka;
6 omulema alibuuka ng’ennangaazi,
n’olulimi lw’abatayogera luliyimba n’essanyu.
Amazzi galifubutuka
ne gakulukutira mu lukoola n’emigga mu ddungu.
7 N’omusenyu ogwokya gulifuuka ekidiba,
n’ensi eyakala edda n’etiiriika ensulo ez’amazzi.
Ebibe we byagalamiranga walimera omuddo,
n’essaalu, n’ebitoogo.
8 Era eribaayo oluguudo olunene, n’ekkubo,
eririyitibwa Ekkubo Ettukuvu.
Abatali balongoofu tebaliriyitamu,
liriba ly’abali abalongoofu,
kubanga abasirusiru abatali balongoofu tebaliriyitamu.
9 Teribaayo mpologoma,
so teririnnyayo nsolo yonna nkambwe;
tezirirabikayo,
naye abanunule balitambulira eyo.
10 N’abantu ba Mukama abaanunulibwa balikomawo, ne bajja mu Sayuuni nga bayimba,
n’essanyu eritaggwaawo nga libajjudde.
Balifuna essanyu lingi nnyo n’okujaguza,
okunakuwala n’okusinda nga biggweereddewo ddala.