46
Bakatonda b’e Babulooni
1 Beri avunnama,
Nebo akutamye!
Ebifaananyi bya bakatonda baabwe biteekeddwa ku nsolo ez’omu nsiko, era ne ku nte.
Ebifaananyi bya bakatonda baabwe migugu mizito ddala ku ndogoyi ezikooye.
2 Bikutamye byonna bivuunamye.
Tebiyinza kuyamba ku mbeera,
byo byennyini bitwaliddwa mu busibe.
3 “Mumpulire mmwe, ennyumba ya Yakobo
n’abantu bonna abasigaddewo mu nnyumba ya Isirayiri.
Mmwe be nnalera okuva lwe mwava mu lubuto,
be nasitula okuva lwe mwazaalibwa.
4 Ne mu bukadde bwammwe nzija kusigala nga ye nze Nzuuyo.
Ne bwe muliba mulina envi nnaabasitulanga.
Nze nabakola era nze nnaabawekanga.
Nnaabasitulanga era nnaabanunulanga.
5 “Ani gwe mulinfaananya era gwe mulinnenkanya
era gwe mulingerageranyaako tufaanane?
6 Eriyo abaggya zaabu ennyingi mu nsawo zaabwe
ne bapima ne ffeeza ku minzaani.
Olwo ne bapangisa omuweesi wa zaabu n’agiweesaamu katonda waabwe,
ne bagwa wansi ne basinza.
7 Katonda waabwe ne bamusitulira ku kibegabega, ne bamuwa ekifo w’anaayimiriranga.
N’ayimirira awo,
n’atava mu kifo kye.
Oli ne bw’amukaabirira tayinza kumuddamu,
tayinza kumuwonya mu mitawaana gye.
8 “Mujjukire kino mmwe, mulowooze mu mitima gyammwe.
Mwekube mu kifuba, mmwe abajeemu.
9 Mujjukire ebigambo ebyasooka eby’edda ennyo.
Kubanga nze Katonda, teri mulala.
Nze Katonda, teri ali nga nze;
10 alanga ku ntandikwa ebigenda okubaawo.
Okuva ku mirembe egy’edda ennyo,
nalanga ebintu ebitannabaawo, nga ŋŋamba nti, ‘Enteekateeka zange zijja kubaawo
era ndituukiriza byonna bye nategeka.’
11 Mpita ekinyonyi ekikwakkula ebiramu ebirala.
Omusajja ava ebuvanjuba mu nsi eyewala, anaakola bye njagala.
Weewaawo njogedde era nnaatuukiriza.
Nga bwe nategeka bwe nnaakola.
12 Mumpulirize mmwe abalina emitima emikakanyavu,
abakyama ennyo ne bava mu kkubo ly’obutuukirivu.
13 Nsembeza kumpi obutuukirivu bwange,
tebuli wala.
N’obulokozi bwange tebuulwewo.
Ndireeta obulokozi mu Sayuuni,
ne nzizaawo ekitiibwa kyange mu Isirayiri.”