53
Ani akkiriza ebigambo byaffe,
era ani abikkuliddwa omukono gwa Mukama?
Kubanga yakulira mu maaso ga Mukama ng’ekisimbe ekigonvu
era ng’omulandira oguva mu ttaka ekkalu.
Teyalina kitiibwa wadde obulungi obutusikiriza tulage gy’ali;
tewaali kalungi mu ye katumwegombesa.
Yanyoomebwa n’agaanibwa abantu; omuntu eyagumira ennaku n’obuyinike.
Tetwayagala na kumutunulako,
ng’omuntu gwe wandikubye amabega ng’ayitawo,
bwe twamunyooma ne tutamuyitamu ka buntu.
 
Mazima ddala yeetikka obuyinike bwaffe, n’atwala ennaku yaffe,
obulumi obwanditulumye bwe bwamunyiga.
Ate nga twalowooza nti okubonaabona kwe
kyali kibonerezo okuva eri Katonda.
Naye yafumitibwa olw’okusobya kwaffe.
Yabetentebwa olw’obutali butuukirivu bwaffe.
Yeetikka ekibonerezo ffe tusobole okubeera n’emirembe.
Ebiwundu bye, bye bituwonya.
Ffenna twawaba ng’endiga;
buli omu ku ffe n’akwata ekkubo lye;
Mukama n’amuteekako
obutali butuukirivu bwaffe ffenna.
 
Yanyigirizibwa era n’obonyaabonyezebwa
naye talina kye yanyega,
yali ng’omwana gw’endiga ogutwalibwa okuttibwa,
era ng’endiga bwesirika obusirisi mu maaso g’abo abagisalako ebyoya bwesirika,
bw’atyo bwe yasirika.
Mu kunyigirizibwa n’okusalirwa omusango yatwalibwa.
Ani amanyi ku bye zadde lye?
Yaggyibwa mu nsi y’abalamu,
ng’akubiddwa olw’okusobya kw’abantu, bange.
Ne bamussa mu ntaana n’abakozi b’ebibi,
n’aziikibwa n’abagagga mu kufa kwe,
newaakubadde nga teyazza musango
wadde akamwa ke okwogera eby’obulimba.
 
10 Songa ate yali nteekateeka ya Mukama okumubetenta,
era n’okumuleetera okubonaabona.
Naye wadde nga Mukama yafuula obulamu bwe, okuba ekiweebwayo olw’ekibi, aliraba ezzadde,
era obulamu bwe bulyongerwako, n’ebyo Mukama by’asiima biriraba omukisa mu mukono gwe.
11 Oluvannyuma lw’okubonaabona kw’obulamu bwe,
bw’aliraba ku ebyo ebiva mu kubonaabona kwe, omutima gwe gulitereera.
Era olw’ebyo bye yayitamu omuweereza wange omutuukirivu alireetera bangi okubalirwa obutuukirivu;
era alyetikka obutali butuukirivu bwabwe.
12 Kyendiva mmuwa ekifo eky’ekitiibwa mu bangi,
era aligabira bangi omunyago
kubanga yafuka obulamu bwe okutuusa okufa,
n’abalirwa wamu n’abakozi b’ebibi.
Era yeetikka ebibi by’abangi
era ne yeegayiririra abakozi b’ebibi.