56
Abantu ba Katonda Baliva mu Mawanga Gonna
Bw’ati bw’ayogera Mukama nti,
“Mukolenga obwenkanya era ebituufu,
kubanga obulokozi bwange bunaatera okujja,
n’obutuukirivu bwange
bunatera okubikkulibwa.
Alina omukisa omuntu akola ekyo,
n’omwana w’omuntu akinyweererako.
Akwata ssabbiiti obutagyonoona,
n’akuuma omukono gwe obutakola kibi na kimu.”
 
Era ne munnaggwanga eyeegatta ku Mukama tayogeranga nti,
Mukama, oboolyawo alinjawula ku bantu be,”
so n’omulaawe okugamba nti,
“Ndi muti mukalu.”
Kubanga bw’atyo bw’ayogera Mukama nti,
“Eri abalaawe abakwata ssabbiiti zange
ne basalawo okugoberera ebyo ebinsanyusa,
ne bakuuma endagaano yange,
amannya gaabwe galijjukirwa
mu yeekaalu yange mu bisenge byamu, ng’ekijjukizo
n’okusinga bwe mwandibadde n’abaana aboobulenzi n’aboobuwala.
Ndibawa erinnya eritaliggwaawo
ery’emirembe n’emirembe.
N’abo bannaggwanga abasalawo okwegatta ku Mukama,
okumuweereza era n’okwagala erinnya lya Mukama
era n’okubeera abaweereza be,
abakwata ssabbiiti
ne batagyonoona
era ne banyweza endagaano yange,
bano ndibaleeta ku lusozi lwange olutukuvu
era ne mbawa essanyu mu nnyumba yange ey’okusabiramu.
Ebiweebwayo byabwe ebyokebwa ne ssaddaaka zaabwe
birikkirizibwa ku kyoto kyange.
Kubanga ennyumba yange eriyitibwa nnyumba ya kusabiramu
eri amawanga gonna.”
Bw’ati bw’ayogera Mukama Ayinzabyonna,
akuŋŋaanya Abayisirayiri abaawaŋŋangusibwa nti,
“Ndikuŋŋaanyaayo abantu abalala
ng’oggyeko abantu bange aba Isirayiri be nkuŋŋaanyizza.”
Katonda Alumiriza Abakulembeze ba Isirayiri Ebibi byabwe
Mukama agamba amawanga amalala okujja
ng’ensolo ez’omu nsiko, galye abantu be.
10 Kubanga abakulembeze ba Isirayiri bazibe ba maaso,
bonna tebalina magezi,
bonna mbwa
ezitasobola kuboggola,
zibeera mu kuloota nakugalaamirira
ezaagala okwebaka obwebasi.
11 Embwa ezirina omululu omuyitirivu
ezitakkuta.
Basumba abatayinza kutegeera,
bonna abakyamye mu makubo gaabwe;
buli muntu ng’afa ku kwenoonyeza ky’anaalya.
12 Bagambagana nti,
“Mujje, leka tukime omwenge tunywe tutamiire.
N’olw’enkya lunaku ng’olwa leero,
oba n’okusingawo.”