6
Katonda Atuma Isaaya
1 Awo mu mwaka kabaka Uzziya mwe yafiira, nalaba Mukama ng’atudde ku ntebe empanvu ng’agulumizibbwa, n’ekirenge ky’ekyambalo kye nga kijjula yeekaalu.
2 Waggulu we yali waali wayimiriddewo basseraafi: buli omu ng’alina ebiwaawaatiro mukaaga, ebibiri nga bye bibikka ku maaso ge, ebibiri nga bye bibikka ku bigere bye, n’ebibiri ng’abibuusa.
3 Buli omu yali ng’ayogera ne munne n’eddoboozi ery’omwanguka nti,
“Mutukuvu, mutukuvu, mutukuvu, Mukama Katonda Ayinzabyonna:
ensi yonna ejjudde ekitiibwa kye.”
4 N’emisingi gy’emiryango ne ginyeenyezebwa olw’eddoboozi ly’oyo eyali akoowoola mu ddoboozi ery’omwanguka, yeekaalu n’ejjula omukka.
5 Ne ndyoka nkaaba nti, “Zinsanze nze! Nfudde mpeddewo! Kubanga ndi muntu ow’emimwa egitali mirongoofu, era mbeera wakati mu bantu ab’emimwa egitali mirongoofu; kubanga amaaso gange galabye Kabaka, Mukama Katonda ow’Eggye!”
6 Olwo omu ku basseraafi n’alyoka abuuka n’ajja gye ndi ng’alina eryanda eryaka mu ngalo ze, lye yali aggye ku kyoto ne nnamagalo.
7 Era n’alikomya ku kamwa kange, n’agamba nti, “Laba, lino likoonye ku mimwa gyo, era obutali butuukirivu bwo bukuggyiddwako. Era n’ekibi kyo kikusonyiyiddwa.”
8 Ne mpulira eddoboozi lya Mukama ng’abuuza nti, “Naatuma ani, era ani anaagenda ku lwaffe?”
Ne ndyoka njogera nti, “Nze wendi! Tuma nze!”
9 Nayogera nti, “Genda obuulire abantu bano nti,
“ ‘Okuwulira munaawuliranga naye temutegeerenga,
n’okulaba munaalabanga naye temutegeerenga kye mulabye.’
10 Okakanyaze omutima gw’abantu bano,
oggale amatu gaabwe,
n’amaaso gazibe
si kulwa nga balaba n’amaaso gaabwe
oba okuwulira n’amatu gaabwe
oba okutegeera n’emitima gyabwe
ne bakyuka bawonyezebwe.”
11 Ne ndyoka njogera nti, “Mukama wange birituusa ddi okuba bwe biti?”
Nanziramu nti,
“Okutuusa ebibuga lwe birizika
nga tewali abibeeramu,
ne mu mayumba nga temuli muntu,
ensi ng’esigalidde awo,
12 okutuusa nga Mukama Katonda agobedde wala buli muntu,
era ng’ensi esigadde matongo.
13 N’ekimu eky’ekkumi ekiriba kisigaddewo,
nakyo kirizikirizibwa.
Naye ng’omumyuliru n’omuvule
bwe gireka ebikolo byagyo bwe gitemebwa,
bw’etyo ensigo entukuvu bw’erigwa mu ttaka n’esigala ng’ekikolo mu nsi.”