66
1 Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda,
“Eggulu y’entebe yange kwe nfugira
n’ensi ke katebe kwe mpummuliza ebigere byange,
nnyumba ki gye mulinzimbira?
Kifo ki kye mulimpa okuwummuliramu?
2 Ebintu bino byonna emikono gyange si gye gyagikola,
noolwekyo ebintu bino byonna byange?”
bw’ayogera Mukama Katonda.
“Ono ye muntu gwe ntunulako;
oyo ow’eggonjebwa era omwetoowaze mu mwoyo,
oyo akankanira ekigambo kyange.
3 Naye asaddaaka ente aba ng’asse omuntu,
oyo awaayo omwana gw’endiga n’aba ng’amenye ensingo y’embwa,
n’oyo awaayo ekiweebwayo eky’empeke
aba ng’awaddeyo omusaayi gw’embizzi,
era oyo anyookeza obubaane bw’ekijjukizo
aba ng’asinza ekifaananyi ekikole n’emikono.
Abantu bakutte amakubo gaabwe,
era emmeeme zaabwe zisanyukira eby’emizizo byabwe.
4 Nange ndisalawo mbatuuseeko ekibambulira,
mbaleeteko kye batandyagadde kibatuukeko.
Kubanga bwe nayita,
teri n’omu yayanukula,
bwe nnaayogera
tebanfaako.
Bakola ebibi mu maaso gange
ne bagoberera ebitansanyusa.”
5 Muwulirize ekigambo kya Mukama Katonda
mmwe abakankanira ekigambo kye.
“Baganda bammwe abatabaagala
era ababayigganya olw’erinnya lyange babasekerera nti,
‘Leka Mukama alage obukulu bwe
abalokole tulabe bwe musanyuka!’
Naye bo be banaakwasibwa ensonyi.
6 Muwulirize.
Oluyoogaano oluva mu kibuga, muwulirize eddoboozi eriva mu yeekaalu.
Eddoboozi eryo lya Mukama Katonda ng’asasula abalabe be
nga bwe kibagwanira.
7 “Ekibuga kyange ekitukuvu
kiri ng’omukazi azaala
nga tannatuusa kulumwa,
obulumi nga tebunatuuka n’akubawo eddenzi.
8 Ani eyali awulidde ekintu bwe kityo?
Ani eyali alabye ekiri ng’ekyo?
Ensi eyinza okuzaalibwa mu lunaku lumu
oba eggwanga okutondebwawo mu kaseera obuseera?
Akaseera katono bwe kati,
Sayuuni anaaba yakalumwa ng’eggwanga litondebwa.
9 Nnyinza okutuusa abantu bange ku kuzaalibwa
ne batazaalibwa?” bw’ayogera Mukama Katonda.
“Ate olubuto ndusiba ntya
nga ndutuusizza ku kuzaala?” bw’ayogera Mukama Katonda wo.
10 “Mujagulize wamu ne Yerusaalemi
era mumusanyukireko mwenna abamwagala,
mujaganye nnyo
mmwe mwenna abamukaabira.
11 Kubanga muliyonka
munywe n’essanyu
mukkutire ddala
ku kitiibwa kye ekingi.”
12 Kubanga bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti,
“Laba mbaleetera obugagga obutaliiko kkomo,
obugagga bw’amawanga bube gye muli ng’omugga ogwanjaala.
Muliyonkako, musitulibwe mu mbiriizi
era bababuusizebuusize ku mubiri gwe.
13 Ng’omwana bw’asanyusibwa nnyina,
bwe ntyo bwe ndikuzzaamu amaanyi
mu Yerusaalemi.”
14 Kino bw’olikiraba omutima gwo gulisanyuka,
era kirikufuula w’amaanyi omulamu obulungi ng’omuddo ogukuze.
Olwo kiryoke kimanyibwe nti omukono gwa Mukama Katonda guyamba abaweereza be,
ate obusungu bwe ne bulagibwa abalabe be.
15 “Kubanga laba Mukama Katonda alijjira mu muliro,
era n’amagaali ge ag’embalaasi galiba ng’empewo ey’omuyaga.
Alijja n’obusungu bwe n’ekiruyi
era alibanenya n’ennimi ez’omuliro.
16 Omuliro n’ekitala
Mukama Katonda by’alibonerezesa abantu bonna,
n’abo abalisaanyizibwawo baliba bangi.
17 “Abo abeetukuza balyoke balage mu nnimiro entukuvu okukola eby’emizizo, abatambulira mu nnyiriri nga bwe balya embizzi, omusonso n’emmere ey’omuzizo, bonna balizikirira wamu,” bw’ayogera Mukama Katonda.
18 “Olw’ebyo bye bakola ne bye balowooza, nnaatera okujja nkuŋŋaanye amawanga gonna n’ennimi zonna, era balijja balabe ekitiibwa kyange.
19 “Nditeeka akabonero mu bo. Ndiwonyaako abamu mbasindike mu mawanga, e Talusiisi, e Puuli, n’e Luudi, abaleega omutego, eri Tubali ne Yavani, mu bizinga eby’ewala, abatawuliranga ttutumu lyange, wadde okulaba ekitiibwa kyange.
20 Balikomyawo baganda bammwe bonna okuva mu mawanga nga ekirabo gye ndi. Balibaleetera ku mbalaasi, ne mu magaali ge mbalaasi n’ebigaali ne ku nnyumbu n’eŋŋamira ku lusozi lwange olutukuvu nga Isirayiri bwe baleeta ebiweebwayo ebirongoofu mu nnyumba ya Mukama Katonda.
21 Era ndifuula abamu ku bo okubeera bakabona n’abaleevi,” bw’ayogera Mukama Katonda.
22 “Kubanga nga eggulu eppya n’ensi empya, bye ndikola bwe biribeerawo olw’amaanyi gange, bw’ayogera Mukama Katonda, bwe lityo ezzadde lyammwe n’erinnya lyammwe bwe birisigala.
23 Okuva ku mwezi okutuuka ku mwezi, n’okuva ku ssabbiiti okutuuka ku ssabbiiti, bonna abalina omubiri banajjanga okusinziza mu maaso gange,” bw’ayogera Mukama Katonda.
24 “Kale bwe baliba bafuluma, baliraba emirambo gy’abasajja abanneewaggulako; kubanga envunyu zaabwe tezirifa, so n’omuliro gwabwe tegulizikizibwa; era baliba kyennyinnyalwa eri abantu bonna.”