5
Obuwanguzi bwaffe
1 Buli akkiriza nti Yesu ye Kristo, oyo aba mwana wa Katonda, era buli ayagala kitaawe w’omwana ayagala n’omwana we.
2 Ku ekyo kwe tutegeerera nga twagala abaana ba Katonda, bwe twagala Katonda ne tukola by’atulagira.
3 Kubanga okwagala kwa Katonda kwe kukola ebyo by’atulagira okukola. Okukola by’atulagira si kizibu,
4 kubanga buli mwana wa Katonda awangula ekibi n’okwegomba ensi, era kuno kwe kuwangula okwawangula ensi, kwe kukkiriza kwaffe.
5 Naye ani ayinza okuwangula ensi okuggyako oyo akkiriza nti Yesu Mwana wa Katonda?
Yesu Kristo
6 Yesu Kristo oyo yennyini ye yajja n’amazzi n’omusaayi, si na mazzi, naye n’amazzi n’omusaayi. Era ne Mwoyo ekyo akikakasa kubanga Mwoyo ye mazima.
7 Waliwo okukakasa kwa mirundi esatu:
8 Mwoyo Mutukuvu, n’amazzi, n’Omusaayi, era ebisatu ebyo bikkiriziganya.
9 Obanga tukkiriza obujulirwa bw’abantu, obujulirwa bwa Katonda tusaana okubukkiriza ennyo n’okusingawo, kubanga bwe businga obukulu ng’ategeeza ku Mwana we.
10 Kale buli akkiririza mu Mwana wa Katonda akyetegeezeza ddala ye yennyini. Oyo atakkiririza mu Katonda ng’amufudde mulimba, kubanga takkiriza ekyo Katonda ky’ayogera ku Mwana we.
11 Era buno bwe bujulirwa nti: “Katonda yatuwa obulamu obutaggwaawo, era obulamu buno buli mu Mwana we.”
12 Buli alina Omwana alina obulamu, naye oyo atalina Mwana wa Katonda talina bulamu.
Okumaliriza
13 Ebyo mbiwandiikidde mmwe abakkiriza erinnya ly’Omwana wa Katonda, mulyoke mumanye nti mulina obulamu obutaggwaawo.
14 Noolwekyo tulina obuvumu nti bwe tugenda gy’ali ne tumusaba ekintu kyonna, ye nga bw’asiima atuwulira.
15 Era bwe tutegeera nti atuwulira bwe tumusaba, buli kye tumusaba talema kukituwa.
16 Omuntu yenna bw’alaba muganda we ng’agudde mu kibi ekitali kya kufa, amusabirenga, Katonda talirema kumuwa bulamu. Njogera ku abo bokka abagwa mu kibi ekitali kya kufa.
17 Buli ekitali kya butuukirivu kibi, naye waliwo ekibi ekitaleetera muntu kufa.
18 Tumanyi nga buli muntu yenna azaalibwa Katonda teyeeyongera kukola kibi, kubanga Katonda amukuuma, Setaani n’atamukola kabi.
19 Tumanyi nga tuli ba Katonda, n’ensi yonna eri mu mikono gya Setaani.
20 Era tumanyi ng’Omwana wa Katonda yajja mu nsi, n’atuwa okutegeera tumanye Katonda ow’amazima, era tuli mu oyo Katonda ow’amazima, ne mu Yesu Kristo Omwana we. Oyo ye Katonda ow’amazima n’obulamu obutaggwaawo.
21 Abaana abaagalwa, mwewalenga bakatonda abalala.