28
“Ddala ddala waliwo ebirombe mwe basima effeeza,
n’ekifo gye balongooseza effeeza.
Ekyuma kisimibwa mu ttaka,
n’ekikomo ne bakisaanuusa okukiggya mu mayinja.
Omuntu agoberera enzikiza n’anoonya eyo mu ttaka wansi,
asime ekyuma mu kizikiza ekiri wansi ennyo.
Asima ekinnya ekiri ewala n’abantu gye babeera,
mu bifo eteyita bantu,
ewala okuva abantu gye bayita.
Ensi evaamu emmere,
naye wansi waayo yafuusibwa nga muliro.
Safira eva mu mayinja gaayo,
era enfuufu yaayo erimu zaabu.
Tewali kinyonyi kiyizzi kimanyi kkubo lino,
wadde n’amaaso ga kamunye tegarirabanga.
Ekibinja ky’empologoma ento tekituukangayo,
tewali mpologoma yali eyiseeyo.
Omuntu ayasa n’omukono gwe ejjinja ery’embaalebaale,
n’avuunika ensozi okuviira ddala we zisibuka.
10 Asima ensalosalo ku njazi;
n’amaaso ge galaba eby’omuwendo byonna.
11 Anoonya wansi mu migga,
n’aggyayo ebintu ebyakwekebwa.
 
12 “Naye amagezi gasangibwa wa?
Okutegeera kuva wa?
13 Omuntu tayinza kutegeera mugaso gwago;
tegasangibwa mu nsi y’abalamu.
14 Obuziba bwogera nti, ‘Tegali mu nze,’
ennyanja eyogera nti, ‘Tegali mu nze.’
15 Tegayinza kugulibwa na zaabu asingayo obulungi,
wadde omuwendo gwago okupimibwa mu ffeeza.
16 Tegayinza kugulibwa na zaabu wa Ofiri,
mu mayinja ag’omuwendo aga onuku oba safiro.
17 Zaabu n’endabirwamu tebiyinza kugenkana:
so tegayinza kugeraageranyizibwa n’amayinja ag’omuwendo.
18 Kolali n’amayinja ag’endabirwamu tebyogerwa nako;
omuwendo ogugula amagezi gusinga amayinja amatwakaavu.
19 Topazi eva mu Esiyopya teyinza kugenkana,
tegayinza wadde okugulibwa mu zaabu etetabikiddwamu kantu konna.
 
20 “Kale amagezi gava ludda wa?
N’okutegeera kubeera ludda wa?
21 Gakwekebwa okuva mu maaso g’ebintu byonna ebiramu,
era gakwekeddwa ebinyonyi by’omu bbanga.
22 Okuzikiriza n’Okufa kwogera nti,
‘Nawulirako buwulizi ku lugambo lwakwo mu matu gange.’
23 Katonda ategeera ekkubo erigatuukako
era ye yekka y’amanyi gye gabeera,
24 kubanga alaba enkomerero y’ensi
era alaba ebintu byonna wansi w’eggulu.
25 Bwe yateekawo amaanyi g’empewo,
n’apima n’amazzi,
26 bwe yateekera enkuba etteeka
era n’ekkubo eggulu we linaayitanga nga limyansa,
27 olwo n’atunuulira amagezi n’agalangirira;
n’agateekawo, n’agagezesa.
28 N’agamba omuntu nti,
‘Laba, okutya Mukama, ge magezi,
n’okuleka ekibi, kwe kutegeera.’ ”