37
“Kino kikankanya omutima gwange,
ne gubuuka okuva mu kifo kyagwo.
Wuliriza okubwatuka kw’eddoboozi lye,
n’okuwuluguma okuva mu kamwa ke.
Asumulula eggulu ne limyansa wansi w’eggulu wonna,
n’aliragira ligende ku nkomerero y’ensi.
Kino oluggwa, okuwuluguma kw’eddoboozi lye kwe kuddako,
abwatuka n’eddoboozi lye ery’omwanguka,
era eddoboozi lye bwe liwulirwa,
tewabaawo kisigala nga bwe kibadde.
Eddoboozi lya Katonda libwatuka mu ngeri ey’ekitalo;
akola ebintu ebikulu ebisukka okutegeera kwaffe.
Agamba omuzira nti, ‘Ggwa ku nsi,’
ate eri enkuba etonnya nti, ‘Ttonnya nnyo.’
Emirimu gya buli muntu giyimirira,
buli omu n’alyoka amanya amaanyi ga Katonda.
Ensolo ne ziryoka zessogga empuku zaazo,
ne zigenda zeekukuma.
Omuyaga ne gulyoka guva mu nnyumba yaagwo,
n’obunnyogovu ne buva mu mpewo ekuŋŋunta.
10 Omuzira ne guva mu mukka gwa Katonda
n’amazzi amangi ne gekwata kitole.
11 Ebire abijjuza amatondo g’amazzi,
n’asaasaanya okumyansa kw’eggulu.
12 Byetooloolatooloola nga y’abiragira,
ne bituukiriza byonna by’abiragira,
ku nsi yonna okubeera abantu.
13 Bwe kuba kubonereza, oba okufukirira ensi
oba okulaga okwagala kwe, atonnyesa enkuba.
 
14 “Wuliriza kino Yobu;
sooka oyimirire olowooze ku bikolwa bya Katonda eby’ettendo.
15 Omanyi Katonda engeri gy’alagiramu ebire,
n’aleetera eggulu okumyansa?
16 Omanyi engeri ebire gye bituulamu mu bbanga,
amakula g’emirimu gy’oyo eyatuukirira mu kumanya?
17 Ggwe alina ebyambalo ebibuguma,
ensi bw’eba ng’ekkakkanyizibbwa embuyaga ez’obukiikaddyo,
18 oyinza okumwegattako ne mubamba eggulu,
eryaguma ne libeera ng’endabirwamu ensanuuse?
 
19 “Tubuulire kye tunaamugamba;
tetusobola kuwoza nsonga zaffe gy’ali olw’ekizikiza kye tulimu.
20 Asaanidde okubuulirwa kye njagala okwogera?
Eriyo omuntu yenna ayinza okusaba okumalibwawo?
21 Kaakano tewali n’omu ayinza kutunula mu njuba,
olw’engeri gy’eyakamu ku ggulu,
ng’empewo emaze okuyita, n’eyelula ebire.
22 Mu bukiikakkono evaayo zaabu;
Katonda ajja mu kitiibwa eky’amaanyi.
23 Ayinzabyonna tatuukikako era agulumidde mu maanyi,
mu bwenkanya bwe era ne butuukirivu bwe, tawaliriza muntu yenna.
24 Noolwekyo abantu bamutya,
takitwala ng’ekikulu olw’abo abeerowooza okuba abagezi mu mitima gyabwe.”