9
Abimereki mutabani wa Yerubbaali n’agenda e Sekemu eri baganda ba nnyina n’eri ab’ekika bonna, ab’ennyumba ya kitaawe, n’ennyumba ya nnyina n’abagamba nti, “Mubuuze kaakano ng’abatuuze b’e Sekemu bonna bawulira nti, ‘Kiki ekisingako obulungi? Batabani ba Yerubbaali bonna ensanvu okubafuganga oba omuntu omu y’aba abafuganga?’ Mujjukire nti ndi wa musaayi gwammwe.”
Awo baganda ba nnyina ne bategeeza abatuuze b’e Sekemu ebintu ebyo byonna. Ab’e Sekemu ne basalawo okugoberera Abimereki nga bwe bagamba nti, “Muganda waffe.” Ne bamuwa ebitundu bya ffeeza ebya sekeri nsanvu* okuva mu ssabo lya Baaluberisi. Abimereki n’apangisa abayaaye n’abantu abataalina bya buvunaanyizibwa ne bamugoberera. N’alaga mu nnyumba ya kitaawe mu Ofula n’addira baganda be, batabani ba Yerubbaali nsanvu n’abattira ku jjinja. Naye omu ku baana abo omuto ayitibwa Yosamu mutabani wa Yerubbaali, n’adduka ne yeekweka. Awo abatuuze bonna ab’e Sekemu n’e Besimiiro ne bakuŋŋaana ne batikkira Abimereki ng’ayimiridde okuliraana omuti omunene, ne bamufuula kabaka mu Sekemu.
Awo Yosamu bwe baamugamba ebigambo ebyo, n’alinnya ku ntikko y’olusozi Gerizimu n’ayogera mu ddoboozi ery’omwanguka ng’agamba nti, “Mumpulirize abatuuze b’e Sekemu, Katonda alyoke abawulirize. Emiti gy’agenda okulonda kabaka, ne gigamba omuzeyituuni nti, ‘Ba kabaka waffe.’ Naye omuzeyituuni ne gubaddamu nti, ‘Ndekeyo okuvaamu amafuta ag’omuzeeyituuni agampeesa balubaale n’abantu ekitiibwa, ŋŋende okuyuuguumya emiti?’ 10 Awo ne giraga eri omutiini ne gigugamba nti, ‘Ggwe jjangu obeere kabaka waffe.’ 11 Naye nagwo ne guddamu nti, ‘Ndekeyo okuvaamu obuwoomi n’ekibala ekirungi, ŋŋende okuyuuguumya emiti?’ 12 Awo ne giraga eri omuzabbibu ne gigugamba nti, ‘Ggwe jjangu obeere kabaka waffe.’ 13 Naye omuzabbibu ne gubaddamu nti, ‘Ndekeyo okuvaamu wayini asanyusa balubaale n’abantu, ŋŋende okuyuuguumya emiti?’ 14 Awo emiti gyonna ne gigamba omweramannyo nti, ‘Jjangu obeere kabaka waffe.’ 15 Awo omweramannyo ne gugamba emiti nti, ‘Bwe muba nga ddala munnonda okuba kabaka wammwe, mujje mwewogome mu kisiikirize kyange. Naye bwe kitaba kityo, omuliro guve mu mweramannyo gusaanyeewo emivule gy’omu Lebanooni.’
16 “Kale nno obanga mwakola kya kitiibwa era mu mutima omulungi ne mufuula Abimereki kabaka, era bwe muba nga mwalaga obwenkanya eri Yerubbaali n’ennyumba ye, ne mumukola nga bwe kyamusaanira, 17 kubanga kitange yabalwanirira, n’awaayo obulamu bwe, n’abawonya mu mukono gwa Midiyaani, 18 naye mmwe ne mujeemera ennyumba ya kitange ne muttira batabani be nsanvu ku jjinja limu, ne mufuula Abimereki omwana w’omuddu omukazi, kabaka w’abatuuze ab’omu Sekemu, kubanga ye muganda wammwe, 19 era bwe muba nga mwakola kya kitiibwa era nga mwakikola mu mutima omulungi ne muyisa Yerubbaali n’ennyumba ye bwe mutyo, kale Abimereki asanyuke, era nammwe abasanyuse. 20 Naye bwe kitaba bwe kityo, omuliro guve mu Abimereki, gusaanyeewo abatuuze b’omu Sekemu n’ab’e Besimiiro, ate era omuliro guve mu batuuze ab’omu Sekemu ne mu Besimiiro gusaanyeewo Abimereki.”
21 Oluvannyuma lw’ebyo, Yosamu n’adduka n’alaga e Beeri, n’abeera eyo olw’okutya muganda we Abimereki.
22 Awo Abimereki n’afuga Isirayiri okumala emyaka esatu. 23 Katonda n’akyawaganya Abimereki n’abatuuze b’omu Sekemu, ne balya mu Abimereki olukwe, 24 Katonda ng’awoolera eggwanga olw’ekikolwa eky’okutta batabani ba Yerubbaali ensanvu, n’omusaayi gwabwe ng’aguteeka ku Abimereki muganda waabwe eyabatta ng’ayambibwako abatuuze b’omu Sekemu. 25 Abatuuze b’omu Sekemu ne bassaawo abasajja ku nsozi babbenga era banyagululenga buli eyayitanga mu kkubo. Abimereki n’ategeezebwa.
26 Awo Gaali mutabani wa Ebedi n’ajja ne baganda be mu Sekemu, abatuuze b’omu Sekemu, ne batanula okumwesiga. 27 Ne balaga mu nnimiro ne bakungula ezzabbibu zaabwe, ne basogola omubisi, n’oluvannyuma ne bakola embaga mu ssabo lya katonda waabwe, ne balya ne banywa ne bakolimira Abimereki. 28 Awo Gaali mutabani wa Ebedi n’ayogera nti, “Abimereki ye ani? Ab’omu Sekemu be baani okumuweereza? Si ye mutabani wa Yerubbaali, era Zebbuli si ye mumyuka we? Muweereze abantu ba Kamoli, kitaawe wa Sekemu. Lwaki tuweereza Abimereki? 29 Ani ayinza okumpa obuyinza okukulembera abantu bano, olwo ndyoke nziggyewo Abimereki? Era nzija kumusoomooza nga mugamba nti, ‘Kuŋŋaanya eggye lyo, otulumbe.’ ”
30 Awo Zebbuli omukulu w’ekibuga bwe yawulira ebigambo bya Gaali mutabani wa Ebedi, n’asunguwala nnyo. 31 N’aweereza ababaka eri Abimereki mu kyama okumugamba nti, “Laba Gaali mutabani wa Ebedi, ne baganda be bazze mu Sekemu. Basekeeterera ekibuga okukulwanyisa. 32 Kaakano, ggwe jjangu mu kiro n’abasajja bo muteegere mu nnimiro. 33 Mu makya enjuba ng’evaayo, onoogolokoka n’olumba ekibuga. Onoomulumba ye n’abantu abali naye abajja okukulumba, ggwe olyoke obakole ekyo omukono gwo kye guteekeddwa okukola.”
34 Awo Abimereki n’abasajja be ne bagolokoka mu kiro ne bagenda ne beekweka mu bibanja bina okumpi n’e Sekemu. 35 Gaali mutabani wa Ebedi n’afuluma n’ayimirira mu mulyango gwa wankaaki w’ekibuga, ne Abimereki n’abasajja be nabo ne bavaayo gye baali beekwese.
36 Awo Gaali bwe yabalaba, n’agamba Zebbuli nti, “Laba abantu nga bava ku nsozi waggulu!” Zebbuli n’amuddamu nti, “Ebisiikirize eby’ensozi by’olaba ng’abantu.” 37 Naye Gaali n’ayogera nate nti, “Laba, abantu bajja nga bayitira mu muwaatwa gw’ensi, n’ekibinja ekimu kifuluma mu kkubo ery’omwera ogw’abafumu.”
38 Awo Zebbuli n’alyoka amugamba nti, “Biki bye wali oyogera bwe wagamba nti, ‘Abimereki ye ani ffe okumuweereza?’ Abo si be bantu be wanyooma? Kaakano genda obalwanyise.” 39 Awo Gaali n’akulembera abatuuze b’omu Sekemu okulwanyisa Abimereki. 40 Abimereki n’amugoba, ne Gaali n’amudduka, era bangi ne batuusibwako ebiwundu, era ne bagwa ku mulyango gwa wankaaki. 41 Abimereki n’abeera mu Aluma. Zebbuli n’agoba Gaali ne baganda be mu Sekemu baleme kubeerangamu.
42 Ku lunaku olwaddirira, Abimereki n’ategeezebwa ng’abantu bwe bagenda okulima. 43 Awo n’addira abasajja be n’abaawulamu ebibinja bisatu, n’ateegera abantu mu nnimiro. Bwe yalaba ng’abantu bafuluma ekibuga balage mu nnimiro, n’abalumba. 44 Abimereki n’ekibinja kye yali nakyo ne banguwa okuwamba omulyango gwa wankaaki w’ekibuga, ate ebibinja ebibiri byo ne byanguwa okulaga mu nnimiro ne batta abaaliyo. 45 Abimereki n’azibya olunaku olwo ng’alwanyisa ab’omu kibuga, n’akiwamba, n’abaalimu n’abatta, n’ekibuga n’akizikiriza, n’akiyiwamu n’omunnyo.
46 Olwawulira ebyo, abatuuze abaali mu kigo kya Sekemu, ne baddukira mu ssabo lya Eruberisi. 47 Awo bwe baategeeza Abimereki nti abatuuze b’omu Sekemu baali bakuŋŋaanidde mu kigo kya Sekemu, 48 ye n’abasajja be ne balinnya ku lusozi Zalumoni, n’akwata embazi n’atema ettabi n’alyetikka ku kibegabega. N’alagira n’abasajja be yali nabo ng’abagamba nti, “Mwanguwe, mukole nga bwe nkoze.” 49 Buli omu ku bo n’atema ettabi n’alyetikka, ne bagoberera Abimereki. Ne bagatuuma ku kigo, ne bakikumako omuliro. Abantu bonna abaali mu kigo kya Sekemu, be basajja n’abakazi nga lukumi ne bafiiramu.
50 Awo Abimereki n’agenda e Sebezi, n’asiisira okwetooloola ekibuga ekyo era n’akiwamba. 51 Mu kibuga ekyo mwalimu ekigo eky’amaanyi, era abantu bonna abasajja n’abakazi ab’omu kibuga ne baddukira omwo ne beggaliramu. Ne balinnya ku kasolya k’ekigo. 52 Abimereki n’alumba ekigo, naye bwe yali ng’akisemberedde, akume omuliro ku mulyango gwakyo, 53 ne wabaawo omukazi omu eyakasuka olubengo ku mutwe gwa Abimereki, n’amwasa omutwe.
54 Amangwago Abimereki n’agamba eyasitulanga ebyokulwanyisa bye nti, “Sowola ekitala kyo onzite, si kulwa nga kinjogerwako nti nattibwa mukazi.” Omuddu we n’amufumita ekitala n’afa. 55 Awo abantu ba Isirayiri bwe baalaba nga Abimereki afudde, buli omu n’addayo ewuwe.
56 Katonda bw’atyo n’awalana eggwanga olw’obutali butuukirivu bwa Abimereki, olwa Abimereki okutta abaana ba kitaawe, abooluganda nsanvu. 57 Katonda n’abonereza n’abantu b’omu Sekemu olw’obutali butuukirivu bwabwe bwonna, n’atuukiriza n’ekikolimo Yosamu mutabani wa Yerubbaali kye yabakolimira.
* 9:4 ebitundu bya ffeeza ebya sekeri nsanvu byenkana gulaamu lunaana