19
Yesu Asalirwa ogw’Okufa
Awo Piraato n’atwala Yesu n’amukuba embooko. Abaserikale ne bakola engule ey’amaggwa ne bagissa ku mutwe gwa Yesu, ne bamwambaza olugoye olwa kakobe, ne bajja w’ali ne bamugamba nti, “Mirembe, Kabaka w’Abayudaaya!” Ne bamukuba empi.
Piraato n’afuluma ebweru nate, n’agamba Abayudaaya nti, “Laba, mbaleetera Yesu ebweru, kyokka mutegeere nga nze ndaba taliiko musango.” Awo Yesu n’afuluma ng’atikkiddwa engule eyakolebwa mu maggwa, era ng’ayambaziddwa olugoye olw’effulungu, Piraato n’agamba Abayudaaya nti, “Mulabe omuntu oyo!”
Awo bakabona abakulu n’abaweereza bwe baamulaba, ne baleekaana nti, “Mukomerere, mukomerere!”
Piraato n’abagamba nti, “Mmwe mumutwale mumukomerere. Nze simulabako musango.”
Abayudaaya ne bamuddamu nti, “Ffe tulina etteeka, era okusinziira ku tteeka eryo asaanidde kuttibwa, kubanga yeeyita Omwana wa Katonda.”
Piraato bwe yawulira ekyo ne yeeyongera okutya. N’azzaayo Yesu mu lubiri, n’amubuuza nti, “Oli wa wa?” Yesu n’atamuddamu kigambo. 10 Piraato n’amugamba nti, “Tonziramu? Tomanyi nga nnina obuyinza okukuta oba okukukomerera?”
11 Yesu n’amuddamu nti, “Tewandibadde na buyinza ku Nze n’akatono, singa tebukuweebwa kuva waggulu. Noolwekyo abo abampaddeyo gy’oli be balina ekibi ekisinga.”
12 Okuva mu kiseera ekyo Piraato n’asala amagezi okuta Yesu. Naye Abayudaaya ne baleekaana nga bagamba nti, “Bw’ota omuntu oyo nga tokyali mukwano gwa Kayisaali. Buli eyeefuula kabaka aba awakanya Kayisaali.” 13 Bwe baayogera batyo Piraato n’azza Yesu ebweru gye bali, n’atuula ku ntebe esalirwako emisango, mu kifo ekiyitibwa Amayinja Amaaliire, mu Lwebbulaniya Gabbasa. 14 Lwali lunaku lwa kutegeka Mbaga ejjuukirirwako Okuyitako. Essaawa zaali nga mukaaga ez’omu ttuntu.
Piraato n’agamba Abayudaaya nti, “Kabaka wammwe wuuno!”
15 Abayudaaya ne baleekaana nga bagamba nti, “Mukomerere, mukomerere!”
Piraato n’ababuuza nti, “Kabaka wammwe gwe mba nkomerera?”
Bakabona abakulu ne baddamu nti, “Tetulina kabaka mulala, wabula Kayisaali.”
16 Piraato n’abawa Yesu okumukomerera.
Awo ne batwala Yesu; 17 n’afuluma nga yeetisse omusaalaba gwe, n’atuuka mu kifo ekiyitibwa eky’Ekiwanga, mu Lwebbulaniya kiyitibwa Gologoosa. 18 Ne bamukomerera ku musaalaba mu kifo ekyo. Era ne bakomerera n’abalala babiri, omu eruuyi n’omulala eruuyi, Yesu n’abeera wakati waabwe.
19 Piraato n’akola ekiwandiiko n’akiteeka ku musaalaba, nga kisoma nti:
“Yesu Omunnazaaleesi, Kabaka w’Abayudaaya.”
20 Ekifo kye baakomereramu Yesu kyali kumpi n’ekibuga, era Abayudaaya bangi abaasoma ekiwandiiko ekyo kubanga kyali mu Lwebbulaniya, ne mu Lulatini ne Luyonaani. 21 Awo bakabona abakulu ab’Abayudaaya ne bagamba Piraato nti, “Towandiika nti, ‘Kabaka w’Abayudaaya,’ naye nti, ‘Oyo eyeeyita Kabaka w’Abayudaaya.’ ”
22 Piraato n’addamu nti, “Ekyo kye mpandiise kye mpandiise.”
23 Abaserikale bwe baamala okukomerera Yesu, ne baddira engoye ze ne baziteeka emiteeko ena. Buli muserikale n’afuna omuteeko gumu. Ne baddira ekkanzu ye, eyali erukiddwa obulukibwa yonna, 24 abaserikale ne bagambagana nti, “Tuleme kugiyuzaamu naye tugikubire kalulu, tulabe anaagitwala.”
Kino kyabaawo okutuukiriza ekyawandiikibwa ekigamba nti:
“Baagabana ebyambalo byange,
n’ekkanzu yange ne bagikubira akalulu.”
Ekyo kyennyini abaserikale kye baakolera ddala.
25 Okumpi n’omusaalaba gwa Yesu waali wayimiriddewo nnyina, ne muganda wa nnyina, ne Maliyamu muka Kuloopa, ne Maliyamu Magudaleene. 26 Yesu bwe yalaba nnyina, era n’omuyigirizwa Yesu gwe yayagalanga ennyo ng’ayimiridde awo, n’agamba nnyina nti, “Maama, laba omwana wo.” 27 Ate n’agamba omuyigirizwa nti, “Laba maama wo.” Okuva olwo omuyigirizwa oyo n’atwala nnyina Yesu eka ewuwe.
Okufa kwa Yesu
28 Yesu bwe yamanya nga byonna biwedde, ekyawandiikibwa kiryoke kituukirire, n’ayogera nti, “Ennyonta ennuma.” 29 Waali wateekeddwawo ekibya ekijjudde wayini omukaatuufu, ne bannyikamu ekyangwe, ne bakiteeka ku kati ka ezobu ne bakiteeka ku mumwa gwa Yesu. 30 Bwe yakombako n’agamba nti, “Kiwedde.” N’akutamya omutwe gwe n’awaayo obulamu bwe.
31 Olunaku nga bwe lwali olw’okweteekerateekera Ssabbiiti eyo enkulu ennyo, abakulembeze b’Abayudaaya ne batayagala mirambo kusigala ku misaalaba. Kyebaava basaba Piraato abaakomererwa bamenyebwe amagulu era bawanulweyo. 32 Awo abaserikale ne bajja ne bamenya amagulu g’abasajja abaakomererwa ne Yesu. 33 Naye bwe batuuka ku Yesu ne balaba nga yafudde dda, ne batamumenya magulu. 34 Naye omu ku baserikale n’amufumita effumu mu mbiriizi, amangwago ne muvaamu omusaayi n’amazzi. 35 Oyo eyakirabira ddala nga kibaawo ye yakyogera, era kye yayogera kya mazima, era oyo amanyi ng’ayogera mazima mulyoke mukkirize. 36 Bino byabaawo ekyawandiikibwa kiryoke kituukirire ekigamba nti: “Talimenyebwa gumba na limu.” 37 Era ekyawandiikibwa ekirala kigamba nti, “Balimulaba oyo gwe baafumita.”
Okuziikibwa kwa Yesu
38 Ebyo bwe byaggwa, Yusufu ow’e Alimasaya, eyali omuyigirizwa wa Yesu mu kyama olw’okutya Abayudaaya, n’asaba Piraato olukusa okuwanulayo omulambo gwa Yesu, Piraato n’amukkiriza. Yusufu n’aguwanulayo n’agutwala. 39 Nikodemo, eddako eyagenda eri Yesu ekiro, naye n’ajja ng’aleese kilo ng’amakumi ataano ez’ebyakoloosa ebitabule n’envumbo. 40 Ne batwala omulambo gwa Yesu, ne baguzinga mu ngoye eza linena wamu n’ebyakaloosa ng’empisa y’Abayudaaya ey’okuziika bwe yali. 41 Mu kifo Yesu we yakomererwa waaliwo ennimiro omwali entaana empya ey’empuku, eyali teziikibwangamu muntu. 42 Nga bwe lwali olunaku lw’Abayudaaya olw’okweteekerateekera Ssabbiiti ate ng’entaana eno eri kumpi, Yesu ne bamussa omwo.