13
Bw’ati Mukama bwe yaŋŋamba nti, “Genda ogule olukoba olwa linena olwesibe mu kiwato kyo, naye tolunnyikanga mu mazzi.” Bwe ntyo ne neegulira olukoba, nga Mukama bwe yandagira, ne ndwesiba mu kiwato kyange.
Awo ekigambo kya Mukama ne kinzijira omulundi ogwokubiri nti, “Ddira olukoba lwe wagula lwe weesibye mu kiwato kyo ogende ku mabbali g’omugga Fulaati olukweke eyo mu lwatika lw’olwazi.” Bwe ntyo ne ŋŋenda ne ndukweka ku mabbali g’omugga Fulaati nga Mukama bwe yandagira.
Ennaku nnyingi nga ziyiseewo, ate Mukama nandagira nti, “Genda kaakano ku Fulaati oleete olukoba lwe nakulagira okukwekayo.” Awo ne ndyoka ŋŋenda ku mugga Fulaati, ne nsimulayo olukoba ne nduggya mu kifo we nnali ndukwese. Naye laba, olukoba lwali lwonoonese, nga terukyalina kye lugasa.
Awo ekigambo kya Mukama ne kinzijira nga kyogera nti, “Bw’ati bw’ayogera Mukama nti, ‘Bwe ntyo bwe ndikkakkanya okwegulumiza kwa Yuda ne Yerusaalemi. 10 Abantu bano aboonoonyi abagaana okukwata ebigambo byange, abagoberera obujeemu bw’emitima gyabwe ne bagoberera bakatonda abalala okubaweereza n’okubasinza, bajja kuba ng’olukoba olwo olutaliiko kye lugasa. 11 Ng’olukoba bwe lunywerera mu kiwato ky’omuntu, bwe ntyo bwe nzija okwagala ennyumba ya Isirayiri yonna n’eya Yuda zinneesibeko,’ bw’ayogera Mukama, ‘balyoke babeere abantu bange, bagulumize erinnya lyange n’ettendo; naye bo ne batawulira.’ ”
Olugero lw’Ekita
12 “Bagambe bw’oti nti, ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda wa Isirayiri, buli kita kiba kya kujjuza nvinnyo.’ Nabo balikuddamu nti, ‘Tetumanyi nga buli kita kiba kya kujjuza nvinnyo?’ 13 Olwo olyoke obagambe nti, ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama nti, Laba nditamiiza abantu bonna abatuula mu nsi eno, ne bakabaka abatuula ku ntebe ya Dawudi ey’obwakabaka, ne bakabona, ne bannabbi n’abantu bonna ab’omu Yerusaalemi. 14 Era buli omu alikoonagana ne munne, abalenzi ne bakitaabwe, bw’ayogera Mukama. Siribalumirwa, wadde okubaleka oba okubakwatirwa ekisa, ndibazikiriza.’ ”
Amalala n’Okuswazibwa kwa Yerusaalemi
15 Wuliriza ontegere okutu;
toba na malala,
Mukama y’akyogedde.
16  Mukama Katonda wo
mugulumize nga tannaleeta kizikiza,
nga ebigere byo tebinneesittala ku nsozi
ezikutte ekizikiza.
Musuubira ekitangaala,
naye ajja okukifuulamu ekisiikirize eky’okufa
akikyuse kibe ekizikiza ekikutte ennyo.
17 Naye bwe mutaafeeyo,
emmeeme yange eneekaabira mu kyama
olw’amalala gammwe;
amaaso gange gajja kukaaba nnyo nnyini
gakulukuse amaziga
era ekisibo kya Mukama kijja kuwambibwa.
 
18 Gamba kabaka era ne namasole nti,
“Mukke muve ku ntebe zammwe ez’obwakabaka,
kubanga engule zammwe ez’ebitiibwa
zijja kugwa okuva ku mitwe gyammwe.”
19 Ebibuga by’e Negebu biggaddwawo,
tewali n’omu anaabiggulawo;
Yuda yonna yaakutwalibwa mu buwaŋŋanguse,
yonna yaakutwalibwa.
 
20 Muyimuse amaaso gammwe
mulabe abo abava mu bukiikakkono.
Kiruwa ekisibo ekyabaweebwa,
endiga ezaabeeyinuzanga?
21 Muligamba mutya Mukama
bw’alibawaayo okufugibwa abo be mwali mutwala nga ab’omukago?
Temulirumwa
ng’omukazi alumwa okuzaala?
22 Era bwe weebuuza nti,
“Lwaki kino kintuseeko?”
Olw’ebibi byo ebingi
engoye zo kyezivudde ziyuzibwa,
era omubiri gwo ne gubonerezebwa.
23 Omuwesiyopya ayinza okukyusa olususu lw’omubiri gwe
oba engo okukyusa amabala gaayo?
Bwe mutyo bwe mutasobola kukola birungi,
mmwe abaamanyiira okukola ebibi.
 
24 “Ndibasaasaanya ng’ebisusunku
ebifuuyibwa empewo eva mu ddungu.
25 Guno gwe mugabo gwo
gwe nakupimira,” bw’ayogera Mukama,
“kubanga wanneerabira
ne weesiga bakatonda ab’obulimba.
26 Nze kennyini ndibikkula engoye zammwe ne nzibikka ku mitwe gyammwe,
obwereere bwammwe ne bulabika.
27 Ndabye obwenzi bwammwe
n’obwamalaaya bwe mukoze.
Ndabye ebikolwa byo eby’ekivve ku busozi
era ne mu nnimiro.
Zikusanze ggwe, ayi Yerusaalemi!
Olituusa ddi obutaba mulongoofu?”