15
Yuda Wakuzikirira 
 
1 Awo Mukama n’alyoka aŋŋamba nti, “Musa ne Samwiri ne bwe bandiyimiridde okunneegayirira, sandisonyiye bantu bano. Bagobe okuva mu maaso gange, banviire.  
2 Era bwe bakubuuza nti, ‘Tunaagenda wa?’  
“Bagambe nti, ‘Kino Mukama kyagamba nti,  
Ab’okuttibwa bagenda kuttibwa,  
n’ab’ekitala bafe ekitala, n’ab’enjala bafe enjala,  
n’ab’okuwambibwa bawambibwe.’   
3 “Ndiweereza engeri nnya ez’okubazikiriza,” bw’ayogera Mukama. “Ekitala kya kufumita, embwa zikulule, ebinyonyi eby’omu bbanga n’ensolo ez’omu nsiko zirye n’okuzikiriza.  
4 Era ndibawaayo babeetamwe eruuyi n’eruuyi mu bwakabaka bwonna obw’omu nsi olw’ekyo Manase mutabani wa Keezeekiya kabaka wa Yuda kye yakola mu Yerusaalemi.   
5 “Ani alikukwatirwa ekisa ggwe Yerusaalemi?  
Oba ani alikukungubagira?  
Oba ani alikyama okubuuza ebikufaako?   
6 Mwanneegaana,” bw’ayogera Mukama.  
“Temutya kudda nnyuma.  
Noolwekyo mbagololeddeko omukono gwange  
ne mbazikiriza.  
Sikyasobola  
kukukwatirwa kisa.   
7 Era ndibakuŋŋunta n’ekitiiyo eky’amannyo  
mu miryango gy’ebibuga eby’omu nsi.  
Ndizikiriza abantu bange ne mbamalawo  
kubanga tebaaleka makubo gaabwe.   
8 Bannamwandu beeyongedde obungi  
okusinga n’omusenyu gw’ennyanja.  
Mu ttuntu mbaleetedde omuzikiriza  
amalewo ababazaalira abalenzi abato.  
Mbakubiddewo  
obubalagaze n’entiisa.   
9 Eyazaala omusanvu ayongobedde,  
awejjawejja.  
Enjuba ye egudde nga bukyali misana,  
amaanyi gamuwedde, ensonyi zimukutte, awuunze, awuubadde.  
N’abo abawonyeewo ndi wa kubasogga ekitala,  
mu maaso ga balabe baabwe,”  
bwayogera Mukama.   
   
 
10 Zinsanze, mmange lwaki wanzaala  
omuntu eggwanga lyonna gwe lirwanyisa ne likuluusanya?  
Siwolanga wadde okweyazika,  
kyokka buli muntu ankolimira.   
11 Mukama agamba nti,  
“Ddala ndikununula olw’ekigendererwa ekirungi,  
ddala ndireetera abalabe bo okukwegayirira,  
mu biseera eby’okuluma obujiji, mu biseera eby’akabi.   
   
 
12 “Omusajja ayinza okumenya ekikomo  
oba ekyuma eky’omu bukiikakkono?   
   
 
13 “Ndiwaayo eby’obugagga byo n’ebintu byo eby’omuwendo ennyo  
binyagibwe awatali kusasulwa,  
olw’ebibi byo byonna  
ebikoleddwa mu ggwanga lyonna.   
14 Ndibafuula abasibe b’abalabe bammwe  
mu ggwanga lye mutamanyi,  
kubanga obusungu bwange bwakukoleeza omuliro  
ogunaabookya gubamalewo.”   
Yeremiya Yeekaabirako 
 
15 Ayi Mukama ggwe omanyi byonna.  
Nzijukira ondabirire.  
Ompalanire eggwanga ku abo abanjigganya.  
Mu kugumiikiriza kwo okunene tontwala.  
Lowooza ku ngeri gye mbonyeebonye ku lulwo.   
16 Ebigambo byo bwe byanzijira, ne mbirya,  
byali ssanyu era okujaguza kw’omutima gwange.  
Kubanga mpitibwa linnya lyo,  
Ayi Mukama Katonda ow’Eggye.   
17 Situulangako mu kuŋŋaaniro ly’abo ab’ebinyumu  
era sibeerangako mu biduula nabo.  
Natuulanga nzekka kubanga naliko omukono gwo,  
era wandeetera okwekyawa.   
18 Lwaki okulumwa kwange tekukoma  
era n’ekiwundu kyange ne kitawona?  
Onomberera ng’akagga akalimbalimba  
ng’ensulo ekalira?   
19 Noolwekyo kino Mukama ky’agamba nti,  
“Bwe muneenenya,  
ndibakomyawo musobole okumpeereza;  
bwe mulyogera ebigambo ebisaana so si ebitasaanidde,  
mulibeera boogezi bange.  
Leka abantu bano be baba bajja gy’oli,  
so si ggwe okugenda gye bali.   
20 Ndikufuula ekisenge eri abantu bano,  
ekisenge ekinywezebbwa eky’ekikomo.  
Balikulwanyisa  
naye tebalikuwangula,  
kubanga ndi naawe,  
okukununula, n’okukulokola,”  
bw’ayogera Mukama.   
21 “Ndikununula okuva mu mukono gw’abakozi b’ebibi  
era n’enkuggya mu mukono gw’abasajja abakambwe,” bw’ayogera Mukama.