30
Isirayiri Azzibwawo 
 
1 Kino kye kigambo kya Mukama ekyajjira Yeremiya nti,  
2 “Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda wa Isirayiri nti, ‘Wandiika ku muzingo ebigambo byonna bye njogedde naawe.  
3 Ennaku zijja, lwe ndikomyawo abantu bange Isirayiri ne Yuda okuva mu busibe, mbazzeeyo mu nsi gye nawa bajjajjaabwe babeere omwo,’ bw’ayogera Mukama.”   
4 Bino bye bigambo Mukama bye yayogera ebikwata ku Isirayiri ne Yuda nti,  
5 “Bw’ati bw’ayogera Mukama nti,  
“ ‘Emiranga egy’okutya giwulirwa,  
bulabe teri mirembe.   
6 Mubuuze mulabe.  
Omusajja alumwa okuzaala?  
Kale lwaki ndaba buli musajja ow’amaanyi  
ng’atadde emikono gye ku lubuto ng’omukazi alumwa okuzaala,  
buli muntu mu maaso yenna asiiwuuse ng’agenda okufa?   
7 Nga luliba lwa nnaku olunaku olwo!  
Tewali lulirufaanana.  
Kiriba kiseera kya kabi eri Yakobo,  
naye aliwona n’akiyitamu.   
   
 
8 “ ‘Olulituuka ku lunaku olwo,  
ndimenya ekikoligo okuva mu nsingo zaabwe  
era ne mbasaleko amasamba,  
ab’amawanga nga tebakyaddayo kubafuula baddu,’ bw’ayogera Mukama ow’Eggye.   
9 Wabula, bajja kuweerezanga Mukama Katonda waabwe  
ne Dawudi kabaka waabwe  
gwe ndibayimusiza.   
   
 
10 “ ‘Noolwekyo totya, ggwe Yakobo omuweereza wange,  
toggwaamu maanyi ggwe Isirayiri,’  
bw’ayogera Mukama.  
‘Ddala ddala ndibalokola okubaggya mu kifo eky’ewala,  
nziggye ezzadde lyammwe okuva mu nsi ey’obuwaŋŋanguse.  
Yakobo aliddamu okuba n’emirembe n’obutebenkevu,  
era tewali n’omu alimutiisatiisa.   
11 Ndi wamu nammwe  
era ndibalokola,  
wadde nga ndizikiririza ddala amawanga gye mbagobedde,  
siribazikiririza ddala mmwe,’  
bw’ayogera Mukama.  
Ndibakangavvula n’obwenkanya,  
siribaleka nga temubonerezebbwa n’akatono.   
12 “Bw’ati bw’ayogera Mukama nti,  
“ ‘Ekiwundu kyo tekiwonyezeka,  
Ebisago byo si byakuwona.   
13 Tewali n’omu wa kukuwolereza,  
tewali ddagala lya kiwundu kyo, toowonyezebwe.   
14 Abakuyamba bonna bakwerabidde  
tebakufaako.  
Nkukubye ng’omulabe bwe yandikoze  
ne nkubonereza ng’owettima bwe yandikoze,  
kubanga omusango gw’ozzizza munene nnyo  
n’ebibi byo bingi ddala.   
15 Lwaki okaaba olw’ekiwundu kyo,  
obulumi bwo obutaliiko ddagala?  
Olw’okwonoona kwo okunene n’ebibi byo ebingi ennyo  
nkuleeseeko ebintu bino.   
   
 
16 “ ‘Naye bonna abakumira nabo baliriibwa,  
abalabe bo bonna baligenda mu buwaŋŋanguse.  
Abo abaakunyaga balinyagibwa,  
abo abaakwelula balyelulwa.   
17 Naye ndikuzzaawo owone,  
ndiwonya ebiwundu byo,’ bw’ayogera Mukama,  
‘kubanga oyitibwa eyasuulibwa,  
Sayuuni atalina n’omu amufaako.’   
18 “Bw’ati bw’ayogera Mukama nti,  
“ ‘Ndizzaawo eby’obugagga by’eweema za Yakobo  
era mbeere n’ekisa ku kifo kyammwe kye mwabeerangamu.  
Ekibuga kirizimbibwa awaali amatongo gaakyo,  
n’olubiri luzzibwe mu kifo kyalwo ekituufu.   
19 Mu bo mulivaamu ennyimba ez’okwebaza  
era n’eddoboozi ery’okujaguza,  
ndibaaza, era tebaliba batono,  
ndibawa ekitiibwa, tebalinyoomebwa.   
20 Abaana baabwe baliba nga bwe baali mu nnaku ez’edda,  
era n’ebitundu byabwe mwe baabeeranga bizimbibwe nga ndaba.  
Ndibonereza bonna ababanyigiriza.   
21 Omukulembeze waabwe aliba omu ku bo;  
omukulembeze waabwe aliyimuka okuva mu bo.  
Ndimuleeta wendi era musembeze kumpi nange,  
kubanga ani oyo alyewaayo  
okunyiikira okubeera okumpi nange?’  
bw’ayogera Mukama.   
22 ‘Noolwekyo munaabeeranga bantu bange,  
nange n’abeeranga Katonda wammwe.’ ”   
   
 
23 Laba, omuyaga gwa Mukama  
gulikuntira mu kiruyi,  
empewo ey’amaanyi  
eyeetooloolera ku mitwe gy’abakozi b’ebibi.   
24 Obusungu bwa Mukama obubuubuuka  
tebujja kukoma okutuusa ng’atuukirizza  
ekigendererwa ky’omutima gwe.  
Mu nnaku ezirijja,  
kino mulikitegeera.