6
Ekibuga Yeriko Kizingizibwa
Ekibuga Yeriko kyali kigaddwawo ng’enzigi zonna zisibiddwa be gulugulu olw’okutya Abayisirayiri era nga tewali afuluma wadde ayingira. Mukama n’agamba Yoswa nti, “Laba, Yeriko ne kabaka waakyo n’abasajja baamu bakirimaanyi mbawaddeyo mu mukono gwammwe. Basajja bammwe abalwanyi bonna bajja ku kyetooloolanga omulundi gumu buli lunaku okumala ennaku mukaaga. Bakabona musanvu bajja kwambaliranga amakondeere agaakolebwa mu mayembe g’endiga ennume, nga bakulembedde Essanduuko. Ku lunaku olw’omusanvu balyetooloola ekibuga emirundi musanvu nga bwe bafuuwa amakondeere gaabwe. Olunaawulira amakondeere nga gavuga, Abayisirayiri bonna baleekaanire waggulu era amangwago ekisenge kya bbugwe ekyetoolodde kineegonnomola wansi; amangwago Abayisirayiri bonna beefubitike ekibuga.”
Bw’atyo Yoswa mutabani wa Nuuni n’ayita bakabona n’abagamba nti, “Musitule Essanduuko ey’Endagaano ne bakabona musanvu bakulembere Essanduuko ya Mukama nga bambalidde amakondeere musanvu agaakolebwa mu mayembe g’endiga ennume.” N’alagira Abayisirayiri nti, “Mweyongere mu maaso, mwetooloole ekibuga abalina ebyokulwanyisa nga bakulembeddemu Essanduuko ya Mukama.”
Nga Yoswa bwe yabakalaatira, bwe batyo bakabona omusanvu ne bakulemberamu nga bwe bafuuwa amakondeere gaabwe omusanvu ezaakolebwa mu mayembe g’endiga eza sseddume, eno nga Essanduuko ey’Endagaano ya Mukama bw’ebavaako emabega. Abasajja abambalidde ebyokulwanyisa ne bakulemberamu bakabona ab’amakondeere, olwo eggye ery’emabega ne ligoberera Essanduuko ng’eno amakondeere bwe ganyaanyaagira. 10 Awo Yoswa n’alagira Abayisirayiri nti, “Temuleekaana wadde okwogerera waggulu, mutambule kasirise okutuusa ku lunaku olwo lwe ndibalagira.” 11 Bw’etyo Essanduuko ya Mukama ne yeetooloozebwa ekibuga omulundi gumu olunaku olwo, ne beddirayo mu lusiisira lwabwe ne beebaka.
12 Yoswa n’akeera nnyo mu makya, ne bakabona ne basitula Essanduuko ya Mukama, 13 ne bakabona omusanvu abafuuyi b’amakondeere ne batambula, abalwanyi nga babakulembedde, eggye ery’emabega lyo nga ligoberera Essanduuko ya Mukama, eno amakondeere nga bwe gafuuyibwa. 14 Ku lunaku olwokubiri ne beetooloola ekibuga omulundi gumu, ne baddayo mu lusiisira. Ne bakola bwe batyo okumala ennaku mukaaga.
Okugwa kwa Yeriko
15 Ku lunaku olw’omusanvu baakeera mu matulutulu ne beetooloola ekibuga nga bulijjo, kyokka olwo lwe lwali olunaku lwokka lwe baakyetooloola emirundi omusanvu. 16 Ku mulundi ogw’omusanvu nga bakabona bamaze okufuuwa amakondeere, Yoswa n’alagira abantu nti, “Muleekaane kubanga Mukama abawadde ekibuga. 17 Era ekibuga n’ebintu byamu byonna bya kuweebwayo eri Mukama bizikirizibwe okuggyako Lakabu yekka malaaya, oyo n’abantu be baanaabeera nabo mu nju ye. Kubanga yakweka abakessi baffe be twasindikayo. 18 Naye mmwe mwekuume ebyo ebiweereddwayo eri Mukama okuzikirizibwa muleme kubitwala kubanga kiyinza okuleetera Abayisirayiri bonna ekikolimo n’okuzikirira. 19 Kyokka ffeeza ne zaabu n’ebintu byonna eby’ekikomo n’eby’ekyuma bitukuvu eri Mukama era byakutereka mu ggwanika lya Mukama.”
20 Awo Abayisirayiri ne baleekaana nnyo, amakondeere bwe gaavuga. Amangu ennyo ng’amakondeere gakavuga Abayisirayiri ne boogera n’eddoboozi ery’omwanguka, era ekisenge kya bbugwe ekyebunguludde ekibuga Yeriko ne kyegonnomola wansi. Awo ne bayingira ne bakiwamba. 21 Ne bazikiriza byonna ebyakirimu, abasajja n’abakazi, n’abaana abato, n’ente, n’endiga, n’endogoyi ne byonna ne babizikiriza n’ekitala.
Lakabu Atalizibwa
22 Awo Yoswa n’agamba abasajja ababiri abaatumibwa okuketta ensi eri nti, “Mugende muleete malaaya oli n’abantu be bonna baali nabo nga bwe mwamusuubiza.” 23 Bwe batyo abavubuka abo abakessi ne bagenda ne bakola nga bwe baalagirwa, ne baleeta Lakabu malaaya, ne kitaawe, ne nnyina, ne bannyina n’abantu be bonna be yali nabo, ne babateeka ebweru w’olusiisira lw’Abayisirayiri. 24 Awo ne balyoka bookya ekibuga ne bazikiriza byonna ebyakirimu okuggyako ffeeza, zaabu n’ebintu eby’ekikomo n’eby’ekyuma bye baggyamu ne babitereka mu ggwanika ly’omu nnyumba ya Mukama. 25 Yoswa n’alekawo Lakabu malaaya n’ab’ennyumba ye era Lakabu n’abeera mu Isirayiri n’okutuusa kaakano kubanga yakweka abakessi Yoswa be yatuma okuketta ekibuga Yeriko. 26 Yoswa n’alayira nti,
“Akolimirwe mu maaso ga Mukama omuntu yenna alyaŋŋanga nate okuzimba ekibuga kino Yeriko.
Bw’alyaŋŋanga okuzimba omusingi gwakyo alifiirwa omwana we omubereberye.
Ate era bw’alyaŋŋanga okuwangamu enzigi z’emiryango gyakyo,
alifiirwa omwana we asembayo owoobulenzi.”
27 Bw’atyo Mukama n’abeera ne Yoswa, era ettutumu lya Yoswa ne libuna ensi eyo yonna.