19
Okulokolebwa Kwa Yerusaalemi Kutegeezebwa
1 Kabaka Keezeekiya olwawulira ebyo byonna, n’ayuza ebyambalo bye, n’ayambala ebibukutu, n’alaga mu yeekaalu ya Mukama.
2 N’atuma Eriyakimu eyali ssabakaaki, ne Sebuna omuwandiisi ne bakabona ab’oku ntikko, nga bonna bambadde ebibukutu, okugenda eri Isaaya nnabbi mutabani wa Amozi.
3 Ne bamugamba nti, “Bw’ati bw’ayogera Keezeekiya nti Leero lunaku lwa buyinike, era lwa kunenyezebwa, era lwa kuswazibwa, ng’abaana bwe batuuka okuzaalibwa, naye ne wataba maanyi ga ku bazaala.
4 Kiyinzika okuba nga Mukama Katonda wo yawulidde obubaka bwonna obwa Labusake, mukama we kabaka w’e Bwasuli bwe yaweereza ng’anyooma Katonda omulamu, era nti amunenye olw’ebigambo byonna Mukama Katonda wo by’awulidde. Noolwekyo ssabira ekitundu ekikyasigaddewo.”
5 Awo abakungu ba Kabaka Keezeekiya bwe baatuuka eri Isaaya,
6 Isaaya n’abagamba nti, “Mutegeeze mukama wammwe nti, ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama nti, Ebigambo by’owulidde, abaddu ba kabaka w’e Bwasuli bye banvumye, tebikutiisa.
7 Wuliriza! Nzija kumuteekamu omwoyo, awulire olugambo ku bikwata ku nsi ye addeyo mu nsi ye, era gye ndimuzikiririza n’ekitala.’ ”
8 Labusake bwe yawulira nti kabaka w’e Bwasuli avudde mu Lakisi, n’avaayo, n’asanga kabaka ng’alwana ne Libuna.
9 Awo Sennakeribu n’afuna obubaka obukwata ku Tiraka kabaka w’e Esiyopya nti, “Laba amaliridde okulwana naawe,” era n’addamu n’atuma ababaka eri Keezeekiya ng’agamba nti,
10 “Bwe muti bwe munagamba Keezeekiya kabaka wa Yuda nti, ‘Tokkiriza Katonda wo gwe weesiga kukulimbalimba ng’akusuubiza nti Yerusaalemi teriweebwayo mu mukono gwa kabaka w’e Bwasuli.’
11 Ekyamazima wawulira bakabaka b’e Bwasuli kye bakoze amawanga gonna, nga bagasaanyizaawo ddala. Olowooza nti olirokolebwa?
12 Bakatonda baamawanga ag’e Gozani, n’e Kalani, n’e Lezefu, n’abantu ba Adeni abaali mu Terasali, abasaanyizibwawo bajjajjange, babalokola?
13 Kabaka w’e Kamasi, kabaka w’e Alupadi, kabaka w’ekibuga kya Sefavayimu, oba kabaka w’e Kena oba kabaka w’e Yiva, bali ludda wa?”
Okusaba kwa Keezeekiya
14 Keezeekiya n’afuna ebbaluwa eyaleetebwa ababaka, n’agisoma. N’ayambuka n’agenda mu yeekaalu ya Mukama, n’agyanjuluza mu maaso ga Mukama.
15 Keezeekiya n’asaba eri Mukama ng’agamba nti, “Ayi Mukama Katonda wa Isirayiri, atuula waggulu ku bakerubi, ggwe wekka, ggwe Katonda ow’obwakabaka bwonna obw’ensi, era ggwe wakola eggulu n’ensi.
16 Otege okutu kwo, Ayi Mukama, owulire; ozibule amaaso go Ayi Mukama, olabe; owulire ebigambo bya Sennakeribu, byayogedde ng’avvoola Katonda omulamu.
17 “Kya mazima, Ayi Mukama, nti bakabaka b’e Bwasuli baazikiriza amawanga n’ensi zaabwe,
18 ne basuula bakatonda baabwe mu muliro. Naye abo tebaali Katonda, baali mirimu gy’emikono gy’abantu, nga mbaawo n’amayinja, era kyebaava bazikirizibwa.
19 Kaakano, Ayi Mukama, Katonda waffe, tukwegayiridde, otulokole mu mukono gwe, amawanga gonna ku nsi gamanye nga ggwe, Ayi Mukama, gwe Katonda wekka.”
Isaaya Ayogera Ebyobunnabbi ku kugwa kwa Sennakeribu
20 Awo Isaaya mutabani wa Amozi n’aweereza Keezeekiya obubaka nti: “Bw’ati bw’ayogera Mukama, Katonda wa Isirayiri nti, Mpulidde okusaba kwo ku bikwata ku Sennakeribu kabaka w’e Bwasuli.
21 Kino kye kigambo Mukama ky’ayogedde ku bimukwatako:
“ ‘Omuwala wa Sayuuni embeerera akunyooma
era akusekerera.
Omuwala wa Yerusaalemi akunyeenyeza omutwe gwe
nga bw’odduka.
22 Ani gw’ovumye era n’ovvoola?
Ani gw’okandulidde eddoboozi lyo,
era ani gw’oyimusirizza amaaso go n’amalala?
Obikoze Omutukuvu wa Isirayiri!
23 Ojereze Mukama
ng’oyita mu babaka bo.
Era ogambye nti,
“Nninye ku ntikko z’ensozi
n’amagaali gange amangi,
ku ntikko ezisingirayo ddala obuwanvu eza Lebanooni.
Ntemye emivule egisingirayo ddala obuwanvu
n’emiberosi gyayo egisingirayo ddala obulungi.
Ntuuse ne mu bifo ebisingirayo ddala okuba ebikusike
ne mu bibira ebisingirayo ddala okuba ebirungi.
24 Nsimye enzizi mu bannamawanga,
n’enywa amazzi gaamu.
Nkazizza emigga egy’e Misiri gyonna,
nga ngirinnyirira n’ebisinziiro by’ebigere byange.”
25 “ ‘Tewawulira nga nakisalawo dda?
Mu biro eby’edda nakiteekateeka,
era kaakano nkituukirizza,
olyoke ofuule ebibuga ebiriko bbugwe
okuba ng’entuumo y’amayinja.
26 Ababituulamu tebakyalina buyinza,
batekemuse era baswazibbwa.
Bafaanana ng’ebimera eby’omu nnimiro,
ng’omuddo omubisi,
ng’omuddo ogusibuse mu busolya bw’ennyumba,
ne gutugibwa nga tegunnakula.
27 “ ‘Naye mmanyi obutuuliro bwo
era mmanyi okufuluma kwo n’okuyingira kwo
n’obuswandi bw’ondaga.
28 Kubanga ondaze obuswandi bwo,
n’obujoozi bwo
ne mbuwulira mu matu gange,
kyendiva nteeka eddobo lyange mu nnyindo yo
n’olukoba lwange mu mumwa gwo,
era oliddirayo mu kkubo lye wajjiramu.’
29 “Era kano ke kanaaba akabonero ko, ggwe Keezeekiya.
“Omwaka guno olirya ekyo ekimera kyokka,
ne mu mwaka ogwokubiri ekiriva mw’ekyo.
Naye mu mwaka ogwokusatu siga era okungule;
era simba ennimiro ez’emizabbibu, olye ku bibala bya kwo.
30 Ekitundu ekisigaddewo eky’ennyumba ya Isirayiri
kyekiriva kiddamu ne kisimba emizi wansi, ne kibala ebibala waggulu.
31 Mu Yerusaalemi muliva ekitundu ekifisseewo,
ne mu Lusozi Sayuuni ne muva abo abaliwona.
Obuggya bwa Mukama ow’Eggye bulikituukiriza.
32 “Noolwekyo bw’ati bw’ayogera Mukama ku bikwata ku kabaka w’e Bwasuli, nti,
“ ‘Kabaka oyo taliyingira mu kibuga kino,
wadde okulasayo akasaale.
Talikisemberera n’engabo
newaakubadde okutuumako ekifunvu ng’akitaayiza.
33 Ekkubo lye yakwata ng’ajja, omwo mw’aliddira,
naye taliyingira mu kibuga kino,
bw’ayogera Mukama.
34 Ndirwanirira ekibuga kino nkirokole,
ku lwange, ne ku lw’omuddu wange Dawudi.’ ”
35 Ekiro ekyo malayika wa Mukama n’agenda mu nkambi ey’Abasuuli n’atta abasajja emitwalo kkumi na munaana mu enkumi ttaano. Ku makya abantu bwe baagolokoka, laba nga bonna mirambo.
36 Awo Sennakeribu kabaka w’e Bwasuli n’ava mu nkambi, n’addayo ewuwe, n’agenda n’abeera e Nineeve.
37 Awo bwe yali ng’asinziza mu ssabo lya katonda we Nisuloki Adulammereki ne Salezeri batabani be ne bamutta n’ekitala, ne baddukira mu nsi y’e Alalati. Esaladoni mutabani we n’amusikira.