21
Manase Kabaka wa Yuda
Manase yatandika okufuga ng’alina emyaka kkumi n’ebiri, era n’afugira emyaka amakumi ataano mu etaano mu Yerusaalemi. Nnyina ye yali Kefuziba. N’akola ebibi mu maaso ga Mukama, ng’atambulira mu makubo amabi ag’amawanga Mukama ge yali agobye mu maaso g’Abayisirayiri. Yaddamu n’azimba ebifo ebigulumivu eby’okusamira, Keezeekiya kitaawe bye yali amenye: era yazimba n’ebyoto ebya Baali, n’asimba n’empagi kya Asera, nga Akabu kabaka wa Isirayiri bwe yakola, n’okusinza n’asinza eggye ery’omu ggulu. Yazimba n’ebyoto mu yeekaalu ya Mukama, Mukama gye yali ayogeddeko nti, “Mu Yerusaalemi mwe mulibeera Erinnya lyange.” Era yazimbira eggye lyonna ery’omu ggulu ebyoto mu mpya zombi eza yeekaalu ya Mukama. N’awaayo mutabani we okuba ekyokebwa, ng’akola eby’obufumu n’eby’obulogo, ate ng’alagulwa n’abaliko emizimu, n’abalogo. N’akola ebibi bingi mu maaso ga Mukama, era n’amusunguwaza.
Yaddira ekifaananyi ekyole ekya Asera n’akiteeka mu yeekaalu, Mukama gye yali ayogeddeko ng’agamba Dawudi ne mutabani we Sulemaani nti, “Mu Yeekaalu eno ne mu Yerusaalemi, bye nneeroboza mu bika byonna ebya Isirayiri, mwe munaabeeranga erinnya lyange emirembe gyonna. Siriddayo nate kujja bigere eby’Abayisirayiri mu nsi gye nawa bajjajjaabwe, bwe baneekuumanga okukola bye nabalagira byonna wamu n’amateeka omuddu wange Musa ge yabawa.” Naye abantu tebaawuliriza, era Manase n’abasendasenda okukola ebibi okusinga n’ebyo amawanga Mukama ge yazikiririza mu maaso g’Abayisirayiri bye gaakola.
10 Awo Mukama n’ayogerera mu baddu be bannabbi 11 nti, “Olw’emizizo gino Manase kabaka wa Yuda gy’akoze, ng’ayonoona okusinga Abamoli abaamusooka bye baakola, n’ayonoonyesa Yuda n’ebifaananyi bye, 12 bw’ati bw’ayogera Mukama, Katonda wa Isirayiri nti, ‘Ndireeta ku Yerusaalemi ne ku Yuda obubi obusingirayo ddala, era na buli muntu alikiwulira, alisasamala. 13 Ndigolola omuguwa ogwakozesebwa ku Samaliya n’ejjinja erigera eryakozesebwa ku nnyumba ya Akabu eri Yerusaalemi, era ne mmalirawo ddala Yerusaalemi ng’omuntu bw’akomba esowaani okumalirako ddala emmere, n’okugifuula n’agifuula. 14 Era ndyabulira ekitundu ekyafikkawo eky’obusika bwange, ne nkigabula mu mukono gw’abalabe baabwe, ne bababbako buli kantu, 15 kubanga baakola ebibi mu maaso gange, ne bansunguwaza nnyo okuviira ddala ku lunaku bajjajjaabwe kwe baaviirako mu Misiri n’okutuusa ku lunaku lwa leero.’ ”
16 Ate, era Manase yayiwa omusaayi mungi gw’abo abataaliko musango, n’agujjuza Yerusaalemi, obutasaako ebibi ebirala bye yayonoonyesa Yuda, ne bakola ebibi mu maaso ga Mukama. 17 Ebyafaayo ebirala ebyabaawo mu mirembe gya Manase, ne byonna bye yakola, okwo nga kwe kuli n’ebibi bye yakola, tebyawandiikibwa mu kitabo eky’ebyomumirembe gya bassekabaka ba Yuda? 18 Awo Manase n’afa, n’aziikibwa mu nnimiro ey’olubiri lwe, ye nnimiro ya Uzza, ne mutabani we Amoni n’amusikira okuba kabaka.
Amoni Kabaka wa Yuda
19 Amoni lwe yatandika okufuga, yali awezezza emyaka amakumi abiri mu ebiri, era n’afugira mu Yerusaalemi okumala emyaka ebiri. Nnyina ye yali Mesullemesi muwala wa Kaluzi ow’e Yotuba. 20 N’akola ebibi mu maaso ga Mukama, nga kitaawe bwe yakola. 21 N’atambulira mu ngeri za kitaawe, n’asinzanga ebifaananyi kitaawe bye yasinzanga. 22 Yava ku Mukama, Katonda wa bajjajjaabe, n’atatambulira mu kkubo lya Mukama.
23 Awo abakungu ba Amoni ne bamusalira olukwe, ne bamuttira mu lubiri lwe. 24 Awo olwatuuka, abantu mu nsi ne beekobaana, ne batta abo bonna abaali mu lukwe olw’okumutta, era ne bafuula Yosiya mutabani we kabaka.
25 Ebyafaayo ebirala ebyabaawo mu mirembe gya Amoni, tebyawandiikibwa mu kitabo eky’ebyomumirembe gya bassekabaka ba Yuda? 26 Kabaka n’aziikibwa mu ntaana ye mu nnimiro ya Uzza, mutabani we Yosiya n’amusikira okuba kabaka.