11
Etteeka ku Bisolo Ebirongoofu
Awo Mukama Katonda n’agamba Musa ne Alooni nti, “Mutegeeze abaana ba Isirayiri nti bino bye biramu bye munaayinzanga okulya mu bisolo byonna eby’oku nsi. Munaayinzanga okulya ensolo yonna erina ekigere ekyaseemu nga kyeyawulidde ddala, era ng’ezza obwenkulumu. Kyokka ezo ezizza obwenkulumu bwokka, oba ezirina ebigere ebyaseemu byokka, temuziryanga. Ggamba eŋŋamira, newaakubadde ng’ezza obwenkulumu naye ebigere byayo si byaseemu; noolwekyo si nnongoofu. N’omusu nagwo guzza obwenkulumu, naye ebigere byagwo si byaseemu; noolwekyo si mulongoofu. Ate n’akamyu ak’omu nsiko, newaakubadde nako kazza obwenkulumu naye ebigere byako si byaseemu, noolwekyo si kalongoofu, era temukalyanga. Ate mulabe embizzi, newaakubadde ng’ekigere kyayo kyaseemu, ate nga kyeyawulidde ddala, naye tezza bwenkulumu; noolwekyo si nnongoofu gye muli. Ebisolo ng’ebyo temulyanga nnyama yaabyo, wadde okukwatako ku mirambo gyabyo; kubanga si birongoofu gye muli.
“Ku biramu ebiri mu mazzi ag’omu nnyanja n’ag’omu migga mulyangako ebyo ebirina amatu awamu n’amagagamba ku mubiri gwabyo. 10 Ebiramu byonna ebyekuluumulira mu nnyanja ne mu migga naye nga tebiriiko matu oba magagamba binaabanga bya muzizo gye muli. 11 Nga bwe binaabanga eby’omuzizo gye muli, temuulyenga ku nnyama yaabyo, era n’emirambo gyabyo ginaabanga gya muzizo. 12 Buli kiramu kyonna ekibeera mu mazzi naye nga tekiriiko matu wadde amagagamba kinaabanga kya muzizo gye muli.
13 “Mu nnyonyi, zino ze z’omuzizo era temuuziryenga: empungu, ensega, makwanzi, 14 kamunye, eddiirawamu erya buli ngeri, 15 ne namuŋŋoona owa buli ngeri; 16 maaya, olubugabuga, olusobe, enkambo eza buli ngeri, 17 ekiwuugulu, enkobyokkobyo, ekkufufu, 18 ekiwuugulu eky’amatu, ne kimbala, ensega, 19 kasida, mpabaana owa buli ngeri, ekkookootezi, n’ekinyira.
20 “Ebiwuka byonna ebirina ebiwaawaatiro nga bitambuza amagulu ana binaabanga bya muzizo gye muli. 21 Naye mu biwuka ebyo ebirina ebiwaawaatiro era nga bitambuza amagulu ana munaalyangamu ebyo ebirina ennyingo ku magulu gaabyo ebigenda nga bibuuka amacco ku ttaka. 22 Mu ebyo bino bye munaalyanga: enzige eza buli ngeri, n’enseenene eza buli ngeri, n’obunyeenyenkule obwa buli ngeri, n’amayanzi aga buli ngeri. 23 Naye ebiwuka ebirala byonna eby’ebiwaawaatiro nga birina amagulu ana binaabanga bya muzizo gye muli.
Etteeka ku Bisolo Ebitali Birongoofu
24 “Bino nabyo binaabafuulanga abatali balongoofu; buli anaakwatanga ku mulambo gw’ensolo nga zino anaafuukanga atali mulongoofu okutuusa akawungeezi. 25 Era buli anaasitulanga ekitundu kyonna eky’omulambo gwazo anaateekwanga okwoza engoye ze, kyokka era anaabanga afuuse atali mulongoofu okutuusa akawungeezi.
26 “Buli nsolo yonna erina ekigere ekyaseemu naye nga tekyeyawulidde ddala, oba nga tezza bwenkulumu, eneebanga ya muzizo gye muli. Buli anaakwatanga ku mulambo gwazo anaabanga afuuse atali mulongoofu. 27 Mu nsolo zonna ezitambulira ku magulu ana, ezo ezitambulira ku bibatu byazo teziibenga nnongoofu gye muli, buli muntu anaakwatanga ku mulambo gwazo anaabanga afuuse atali mulongoofu okutuusa akawungeezi. 28 Era n’oyo anaasitulanga omulambo gwazo anaayozanga engoye ze; naye era anaabanga afuuse atali mulongoofu okutuusa akawungeezi. Teziibenga nnongoofu gye muli.
29 “Mu nsolo ezigenda zisoobera ku ttaka; zino teziibenga nnongoofu gye muli: eggunju, emmese, amakonkome amanene aga buli ngeri; 30 anaka, enswaswa, omunya, ekkonkome, ne nnawolovu. 31 Mu ezo zonna ezisoobera ku ttaka ezo teziibenga nnongoofu gye muli. Era buli anaazikwatangako nga zimaze okufa anaabanga afuuse atali mulongoofu okutuusa akawungeezi. 32 Era emu ku zo bw’eneefanga n’egwa ku kintu eky’engeri yonna ekikozesebwa, ekintu ekyo kinaafuukanga ekitali kirongoofu, obanga ekintu ekyo kyakolebwa mu muti, oba mu lugoye, oba mu ddiba oba mu kkutiya. Kiteekebwenga mu mazzi. Tekiibenga kirongoofu okutuusa akawungeezi; kyokka oluvannyuma kinaalongookanga. 33 Era emu ku zo bw’eneegwanga mu nsaka ey’ebbumba, byonna ebiri mu nsaka omwo binaafuukanga ebitali birongoofu, era ensaka eyo muteekwa buteekwa okugyasanga. 34 Emmere eneebanga egenda okuliibwa naye n’ebaako amazzi agavudde mu nsaka omwo, teebenga nnongoofu, n’amazzi agandinywereddwa okuva mu nsaka omwo tegaabenga malongoofu. 35 Era buli kintu kyonna omulambo gw’ensolo zino kwe gunaabanga gugudde ku masiga okufumbirwa oba mu ntamu, binaayasibwayasibwanga, kubanga si birongoofu; era tebiibenga birongoofu gye muli. 36 Naye bwe gunaagwanga mu luzzi oba mu ppipa y’amazzi, ebyo byo binaasigalanga birongoofu; naye oyo yenna anaakwatanga ku mulambo ogwo taabenga mulongoofu. 37 Singa omulambo gugwa ku nsigo ez’engeri yonna ezigenda okusimbibwa, zinaasigalanga nnongoofu. 38 Naye singa ensigo ziyiyibbwako amazzi, omulambo ne guzigwako, teziibenga nnongoofu gye muli.
39 “Singa ensolo yonna ku ezo ze mukkirizibwa okulya efa, oyo yenna anaakwatanga ku mulambo gwayo anaabanga atali mulongoofu okutuusa akawungeezi. 40 Oyo anaalyanga ku nnyama y’omulambo kinaamusaaniranga okwoza engoye ze, era taabenga mulongoofu okutuusa akawungeezi. Oyo yenna anaasitulanga omulambo, kinaamusaaniranga okwoza engoye ze, naye taabenga mulongoofu okutuusa akawungeezi.
41 “Buli kitonde kyonna ekitambulira ku ttaka kinaabanga kya muzizo, temuukiryenga. 42 Temuulyenga kitonde kyonna ekyekululira ku ttaka, obanga kyewalulira ku lubuto lwakyo, oba nga kitambuza amagulu, oba nga kikozesa ebigere bingi; kinaabanga kya muzizo. 43 Temuganyanga kwonoonebwa bitonde ebyo n’ekimu. Temubikozesanga temulwa kweyonoona, era temubikkirizanga kubafuula abatali balongoofu. 44 Kubanga Nze Mukama Katonda wammwe, kale mwetukuzanga ne mubeera batukuvu, kubanga Nze ndi mutukuvu. Temwesemberezanga ebitonde ebyo ebitambulira ku ttaka ne bibafuula abatali balongoofu. 45 Kubanga Nze Mukama eyabaggya mu nsi ey’e Misiri, okubeera Katonda wammwe; noolwekyo kibasaanira okubeeranga abatukuvu, kubanga Nze ndi mutukuvu.
46 “Ago ge mateeka agakwata ku nsolo, ne ku nnyonyi, ne ku buli kiramu kyonna eky’omu mazzi, ne ku buli kitonde kyonna ekyewalulira ku ttaka. 47 Kibasaaniranga mwawulemu, mu bitonde ebiramu ebirongoofu ebisaana okuliibwanga, ne mu bitonde ebiramu ebitali birongoofu ebitasaana kuliibwanga.”