2
Zibasanze mmwe abateesa okukola ebitali bya butuukirivu
era abateesa okukola ebibi nga bali ku buliri bwabwe;
Obudde bwe bukya ne batuukiriza entegeka zaabwe,
kubanga kiri mu nteekateeka yaabwe.
Beegomba ebyalo ne babitwala,
ne beegomba ennyumba nazo ne bazitwala.
Banyigiriza omuntu ne batwala amaka ge olw’amaanyi,
ne bamubbako ebyobusika bwe.
Mukama kyava agamba nti,
“Laba, ndireeta akabi ku bantu abo,
ke mutagenda kweggyamu.
Temuliddayo kubeera n’amalala nate
kubanga kiriba kiseera kya mitawaana.
Olwo abantu balikusekerera;
Balikuyeeyereza nga bayimba oluyimba luno olw’okukungubaga nti:
‘Tugwereddewo ddala;
ebintu by’abantu bange bigabanyizibbwamu.
Mukama anziggirako ddala ettaka lyange,
n’aliwa abo abatulyamu enkwe.’ ”
 
Noolwekyo tewalisigalawo muntu n’omu mu kuŋŋaaniro lya Mukama,
aligabanyaamu ettaka ku bululu.
Bannabbi baabwe boogera nti, “Temuwa bunnabbi,
Temuwa bunnabbi ku bintu ebyo;
tewali kabi kagenda kututuukako.”
Ekyo kye ky’okuddamu ggwe ennyumba ya Yakobo?
Olowooza Omwoyo wa Mukama asunguwalira bwereere, si lwa bulungi bwo?
Ebigambo bye tebiba birungi eri abo abakola obulungi?
Ennaku zino abantu bange bannyimukiddeko
ng’omulabe.
Basika ne bambula eminagiro emirungi
ne baggigya ku migongo gy’abayise ababa beetambulira mu mirembe,
ng’abasajja abakomawo okuva mu lutabaalo.
Bakazi b’abantu bange mubagoba
mu mayumba gaabwe amalungi,
abaana baabwe ne mubaggyirako ddala buli mukisa
oguva eri Katonda.
10 Muyimuke mugende,
kubanga kino tekikyali kiwummulo kyammwe;
olw’ebikolwa ebibi bye mukijjuzza,
kyonoonese obutaddayo kuddaabirizika.
11 Omuntu bw’ajja n’omwoyo ogw’obulimba, n’agamba nti,
“Ka mbabuulire ku ssanyu ly’omwenge gwe baagala era gwe banoonya,”
oyo y’aba nnabbi w’abantu abo.
 
12 “Ddala ddala ndibakuŋŋaanya mwenna, ggwe Yakobo;
ndikuŋŋaanya abo abaasigalawo ku Isirayiri.
Ndibakuŋŋaanya ng’akuŋŋaanya endiga ez’omu ddundiro,
ng’ekisibo mu ddundiro lyakyo,
ekifo kirijjula abantu.
13 Oyo aggulawo ekkubo alibakulembera okubaggya mu buwaŋŋanguse,
abayise mu mulyango abafulumye.
Era kabaka waabwe alibakulembera,
Mukama alibakulembera.”