5
Omufuzi Ava mu Besirekemu 
 
1 Kuŋŋaanya amaggye go, ggwe ekibuga ekirina amaggye,  
kubanga tulumbiddwa.  
Omukulembeze wa Isirayiri  
balimukuba omuggo ku luba.   
   
 
2 “Naye ggwe Besirekemu Efulasa,  
newaakubadde ng’oli mutono mu bika bya Yuda,  
mu ggwe mwe muliva alibeera  
omufuzi wange mu Isirayiri.  
Oyo yaliwo okuva edda n’edda,  
ng’ensi tennabaawo.”   
   
 
3 Mukama kyaliva awaayo Isirayiri eri abalabe baayo  
okutuusa omukyala alumwa okuzaala lwalizaala omwana,  
era baganda be abaasigalawo ne balyoka bakomawo  
eri bannaabwe mu Isirayiri.   
   
 
4 Aliyimirira n’anyweera n’aliisa ekisibo kye  
mu maanyi ga Mukama,  
mu kitiibwa ky’erinnya lya Mukama Katonda we.  
Era abantu be tebalibaako abateganya, kubanga aliba mukulu  
okutuusa ku nkomerero y’ensi.   
5 Omukulu oyo aliba mirembe gyabwe.  
Omwasuli bw’alirumba ensi yaffe  
n’abuna ebigo byaffe,  
tulimuyimbulira abasumba musanvu,  
n’abakulembeze munaana.   
6 Abo be balifuga ensi ya Asuli n’ekitala  
era ensi ya Nimuloodi nayo bagyonoone.  
Naye alitulokola eri Omwasuli  
bw’alitulumba mu nsi yaffe  
era bw’aliyingira mu nsalo zaffe.   
   
 
7 Abantu ba Isirayiri abalisigalawo balibeera  
wakati mu mawanga agabeetoolodde,  
babe ng’omusulo oguva eri Mukama,  
ng’obukubakuba obutonnyeredde ku muddo  
obutalindirira muntu  
oba abaana b’abantu.   
8 Ng’empologoma bw’ebeera n’ensolo endala ez’omu nsiko,  
abantu abaasigalawo aba Yakobo balibeera mu mawanga mangi agabeetoolodde;  
ate era ng’empologoma ento mu bisibo by’endiga,  
bw’egenda n’eyitamu n’etaagulataagula  
ne wataba n’omu aziwonya.   
9 Omukono gwo guliwangula abalabe bo,  
ne bonna abakuyigganya balizikirizibwa.   
10 “Ku lunaku olwo,” bw’ayogera Mukama,  
“Ndizikiriza embalaasi zo  
ne nsanyaawo n’amagaali go.   
11 Ndizikiriza ebibuga eby’omu nsi yo  
era mmenyemenye n’ebigo byo byonna.   
12 Obulogo bwo ndibumalawo  
era toliddayo kukolima nate.   
13 N’ebibumbe bye musinza ndibizikiriza.  
Ne nziggyawo n’amayinja ge mwawonga;  
temuliddayo nate kuvuunamira bakatonda  
be mwekoledde n’emikono gyammwe.   
14 Era ndisigula Baasera okuva mu mmwe,  
ebibuga byammwe n’embizikiriza.   
15 Era ndyesasuza ku mawanga agataŋŋondedde  
n’obusungu n’ekiruyi.”