Enjiri nga bwe Yawandiikibwa
Makko
1
Yokaana Omubatiza Alongoosa Ekkubo
Entandikwa y’Enjiri ya Yesu Kristo, Omwana wa Katonda.
Kyawandiikibwa mu kitabo kya nnabbi Isaaya nti,
“Laba ntuma omubaka wange akukulembere,
ateeketeeke ekkubo lyo;
eddoboozi ly’oyo ayogelera waggulu mu ddungu nti,
‘Muteeketeeke ekkubo lya Mukama,
mutereeze amakubo ge.’ ”
Yokaana yajja ng’abatiriza mu ddungu, ng’abuulira okubatiza okw’okwenenya olw’okusonyiyibwa ebibi. Ensi yonna ey’e Buyudaaya n’abantu bonna ab’omu Yerusaalemi, ne bagendanga gy’ali, n’ababatiza mu mugga Yoludaani nga baatula ebibi byabwe. Yokaana yayambalanga ekyambalo eky’obwoya bw’eŋŋamira, ne yeesibanga olukoba olw’eddiba mu kiwato kye, era yalyanga nzige na mubisi gwa njuki. Yabuuliranga ng’agamba nti, “Waliwo omuntu omukulu era ansinga amaanyi ajja okujja, gwe sisaanira na kusumulula bukoba bwa ngatto ze. Nze mbabatiza na mazzi, naye ye alibabatiza na Mwoyo Mutukuvu.”
Okubatizibwa kwa Yesu n’Okukemebwa kwe
Awo olwatuuka mu nnaku ezo Yesu n’ava e Nazaaleesi mu Ggaliraaya n’ajja, Yokaana n’amubatiza mu mugga Yoludaani. 10 Awo Yesu bwe yali yaakava mu mazzi, n’alaba eggulu nga libikkuse, ne Mwoyo ng’ali ng’ejjiba ng’amukkako. 11 Eddoboozi ne liva mu ggulu nga ligamba nti, “Ggwe Mwana wange omwagalwa, ggwe, gwe nsanyukira ennyo.” 12 Amangwago Mwoyo n’amutwala mu ddungu. 13 N’amalayo ennaku amakumi ana ng’ali n’ensolo ez’omu nsiko, ng’akemebwa Setaani, kyokka nga bamalayika bamuweereza.
Yesu Ayita Abayigirizwa Abaasooka
14 Oluvannyuma nga Yokaana Omubatiza amaze okusibwa mu kkomera, Yesu n’ajja mu Ggaliraaya okubuulira Enjiri ya Katonda, 15 ng’agamba nti, “Ekiseera kituukiridde, n’obwakabaka bwa Katonda busembedde! Mwenenye mukkirize Enjiri.” 16 Awo Yesu yali ng’ayita ku lubalama lw’ennyanja y’e Ggaliraaya, n’alaba Simooni ne muganda we Andereya nga basuula obutimba bwabwe mu nnyanja; kubanga baali bavubi. 17 Yesu n’abagamba nti, “Mujje mungoberere nange ndibafuula abavubi b’abantu!” 18 Amangwago ne baleka obutimba bwabwe ne bamugoberera. 19 Bwe yeeyongerayo katono, n’alaba Yakobo ne Yokaana batabani ba Zebbedaayo, nga bali mu lyato baddaabiriza obutimba bwabwe. 20 Amangwago n’abayita ne baleka kitaabwe Zebbedaayo mu lyato n’abapakasi, ne bagoberera Yesu.
Yesu Awonya Omusajja Eyaliko Dayimooni
21 Awo ne bayingira mu Kaperunawumu. Amangwago n’ayingira mu kuŋŋaaniro ku Ssabbiiti, n’abayigiriza. 22 Ne beewuunya okuyigiriza kwe, kubanga yabayigiriza nga nannyini buyinza, so si ng’abannyonnyozi b’amateeka bwe baakolanga. 23 Amangwago ne walabika omusajja eyaliko omwoyo omubi mu ssinzizo, n’awowoggana, 24 ng’agamba nti, “Otwagaza ki Yesu Omunnazaaleesi? Ozze okutuzikiriza? Nkumanyi gwe Mutukuvu wa Katonda.” 25 Awo Yesu n’aguboggolera ng’agamba nti, “Sirika era muveeko.” 26 Awo omwoyo omubi ne gumusikambula nnyo, ne gumuvaako. 27 Buli omu ne yeewuunya, ne beebuuzaganya nti, “Kuyigiriza kwa ngeri ki kuno okuggya okujjudde obuyinza? So n’emyoyo emibi agiragira ne gimugondera.” 28 Amangwago amawulire agamukwatako ne gasaasaana wonna mu byalo ebyetoolodde Ggaliraaya.
Yesu Awonya Nnyina wa Muka Simooni
29 Amangwago ne bava mu kkuŋŋaaniro ne bagenda mu nnyumba ya Simooni ne Andereya nga bali ne Yakobo ne Yokaana. 30 Ne basanga nga nnyina muka Simooni agalamidde mulwadde omusujja. Amangwago ne bakitegeeza Yesu. 31 Bwe yamusemberera, n’amukwata ku mukono n’amuyimusa, omusujja ne gumuwonako, n’abaweereza!
Yesu Awonya Abalwadde Abangi
32 Awo obudde bwe bwali buwungeera, ng’enjuba egwa, ne bamuleetera abalwadde bonna, n’abaaliko dayimooni. 33 Ekibuga kyonna ne kikuŋŋaanira ku luggi. 34 Era Yesu n’awonya abalwadde bangi abaalina endwadde ez’enjawulo era n’abaaliko baddayimooni bangi n’ababagobako, ne baddayimooni teyabaganya kwogera, kubanga baali bamumanyi.
Yesu Asaba Yekka mu Kifo Eteri Bantu
35 Enkeera ng’obudde tebunnalaba yesu n’azuukuka n’agenda yekka mu kifo ekyekusifu, okusaba. 36 Awo Simooni ne be yali nabo ne bamunoonya, 37 bwe baamulaba ne bamugamba nti, “Buli muntu akunoonya.” 38 Naye Yesu n’abagamba nti, “Tugende awalala mu byalo ebituliraanye, n’abeeyo mbabuulire, kubanga ekyo kye najjirira.” 39 Awo n’abuulira mu makuŋŋaaniro ag’omu kitundu kyonna eky’e Ggaliraaya, era n’agoba ne baddayimooni.
Yesu Awonya Omugenge
40 Awo omugenge* n’ajja eri Yesu ne yeegayirira ng’afukamidde mu maaso ge, n’amugamba nti, “Bwe kuba nga kwe kusiima kwo, oyinza okunnongoosa.” 41 Yesu n’amusaasira, n’agolola omukono gwe, n’amukwatako, n’amugamba nti, “Nsiimye, longooka!” 42 Amangwago ebigenge ne bimuwonako, n’aba mulongoofu. 43 Awo Yesu n’amukuutira nnyo n’amusiibula, 44 ng’agamba nti, “Kino tokibuulirako muntu n’omu, wabula genda weeyanjule eri kabona, oweeyo n’ekirabo Musa kye yalagira okuweebwangayo, okuba obujulirwa gye bali.” 45 Naye omusajja n’atandika okwogera ku ebyo ebyamubaako, n’okubibunyisa. Yesu n’atasobola kuyingira mu kibuga mu lwatu, naye n’abeeranga mu bifo ebyekusifu. Abantu ne bajjanga gy’ali okuva mu njuyi zonna.
* 1:40 ekigambo ekyakozesebwa mu Luyonaani kitegeeza endwadde zonna ez’olususu, si bigenge byokka