13
Obubonero obw’Enkomerero
Awo Yesu bwe yali ng’ava mu Yeekaalu omu ku bayigirizwa be n’amugamba nti, “Omuyigiriza, laba, amayinja ago, n’ebizimbe ebyo.”
Yesu n’amuddamu nti, “Ebizembe ebyo eby’ekitalo obiraba? Ne bwe kiriba ki tewaliba jjinja na limu wano eririsigala ku linnaalyo.”
Awo Yesu bwe yali ng’atudde awo ku lusozi olwa Zeyituuni, okwolekera yeekaalu, Peetero ne Yakobo ne Yokaana ne Andereya ne bamubuuza mu kyama, ne bamubuuza nti, “Tutegeeze, ebintu byonna we birituukirira, era n’akabonero akalibaawo ng’ebyo byonna bigenda okutuukirira.”
Yesu n’abagamba nti, “Mwekuume omuntu yenna tababuzaabuzanga. Bangi abalijja mu linnya lyange nga bagamba nti, ‘Nze nzuuyo,’ era balibuzaabuza bangi. Naye bwe muliwulira entalo, n’eŋŋambo ez’entalo, temutyanga. Kyetaaga ebyo byonna okubaawo naye enkomerero eriba tennatuuka. Kubanga amawanga galirwanagana, n’obwakabaka bulirwana n’obwakabaka, era musisi aliyita mu bifo bingi, n’enjala nnyingi erigwa. Okulumwa ng’okw’okuzaala kuliba kutandika butandisi.”
“Mwekuume mmwe. Balibawaayo mu mbuga z’amateeka ne mu makuŋŋaaniro, mulikubibwa, muliyimirira mu maaso ga bakabaka ne bagavana. Muliyimirira ku lwange, okubeera abajulirwa gye bali. 10 Era Enjiri kigigwanira okumala okubuulirwa amawanga gonna. 11 Bwe balibakwata ne babawaayo, temweraliikiriranga kya kuwoza. Kye munaaweebwanga okwogera mu kiseera ekyo kye munaayogeranga kubanga si mmwe muliba mwogera wabula Mwoyo Mutukuvu y’aliba ayogerera mu mmwe.”
12 “Owooluganda aliwaayo muganda we okuttibwa, ne kitaawe w’omwana aliwaayo omwana we. Abaana balijeemera bazadde baabwe ne babatta. 13 Mulikyayibwa abantu bonna, olw’erinnya lyange, naye oyo aligumiikiriza okutuusa ku nkomerero y’alirokolebwa.”
14 “Bwe mulabanga ekintu eky’omuzizo ekizikiriza, nga kiyimiridde mu kifo we kitasaanira (asoma bino, weetegereze) abali mu Buyudaaya baddukiranga ku nsozi. 15 N’oyo alibeera waggulu ku nnyumba takkanga wadde okuyingira okubaako ky’atwala okuva mu nnyumba ye. 16 N’oyo alibeera mu nnimiro, taddanga kutwala bintu bye, wadde okukima yo olugoye lwe. 17 Naye ziribasanga abaliba embuto n’abaliba bayonsa mu nnaku ezo. 18 Naye musabe ekiseera ekyo kireme kuba kya butiti. 19 Kubanga ekiseera ekyo kiriba kya kubonyaabonyezebwa okutabeerangawo kasookedde Katonda atonda eggulu n’ensi, n’okutuusa kaakano n’emirembe egigenda okujja.
20 “Era singa Mukama teyakendeeza ku nnaku ezo, tewandiwonyeewo muntu yenna, naye olw’abalonde be, ennaku ezo yazikendeezaako. 21 Era omuntu yenna singa abagamba nti, ‘Mulabe, Kristo wuuli,’ temumukkirizanga. 22 Kubanga bakristo ab’obulimba balijja, ne bannabbi ab’obulimba nabo balijja ne bakola eby’amagero n’ebyewuunyo, nga bagenderera okulimba n’abalonde ba Katonda. 23 Naye mwekuume! Kubanga mbalabudde ng’ebintu bino byonna tebinnabaawo.
24 “Ennaku ez’entiisa eyo nga ziweddeko,
“ ‘enjuba eriggyako ekizikiza,
era n’omwezi teguliyaka,
25 era, emmunyeenye zirikunkumuka,
n’aboobuyinza ab’omu bbanga balikankana.’ ”
26 “Olwo muliraba Omwana w’Omuntu ng’ajjira ku bire n’amaanyi mangi n’ekitiibwa kinene, 27 Era alituma bamalayika okukuŋŋaanya abalonde be okuva eri empewo ennya, n’okuva ensalo z’ensi gye zikoma okutuuka ensalo z’eggulu gye zikoma.”
Omutiini kye Guyigiriza
28 “Muyigire ku lugero lw’omutiini. Amatabi gaagwo bwe gatandika okutojjera, nga mumanya nti ebiseera eby’ebbugumu binaatera okutuuka. 29 Noolwekyo nammwe bwe muliraba ebintu ebyo nga bibaawo, nga mumanya nti ekiseera kiri kumpi, era kisemberedde ddala ku luggi. 30 Ddala ddala mbagamba nti omulembe guno tegugenda kuggwaako okutuusa ng’ebintu byonna bimaze okubaawo. 31 Eggulu n’ensi biriggwaawo, naye ebigambo byange biribeerera emirembe n’emirembe.”
Tewali Amanyi Lunaku wadde Ekiseera
32 “Naye eby’olunaku olwo oba essaawa tewali n’omu abimanyi, newaakubadde bamalayika mu ggulu wadde Omwana, okuggyako Kitaffe. 33 Mwekuume, mutunule*kubanga temumanyi kiseera we kirituukira. 34 Ng’omusajja eyatambula olugendo n’ategekera abaddu be, buli omu n’amuwa obuyinza ng’omulimu gwe bwe guli, n’alagira omuggazi w’oluggi atunule alindirire.”
35 “Noolwekyo mubeere beetegefu kubanga temumanyi ssemaka wakomerawo oba kawungeezi, oba mu ttumbi, oba ng’enkoko zikookolima, oba ng’obudde bukya, 36 si kulwa ng’akomawo nga temumanyiridde, n’abasanga nga mwebase. 37 Kye mbagamba mmwe, kye ŋŋamba buli muntu, mwekuume.”
* 13:33 Ebiwandiiko ebirala bigamba mutunule era musabe