16
Okusaba Yesu Akabonero
1 Awo Abafalisaayo n’Abasaddukaayo ne bajja eri Yesu okumugezesa nga bamusaba akabonero akava mu ggulu.
2 Naye Yesu n’abaddamu nti, “Obudde bwe buwungeera mugamba nti, obudde bujja kuba bulungi kubanga eggulu limyuse nnyo.
3 Ate eggulu bwe limyuka ku nkya mumanya nti olunaku lwonna obudde bujja kwefuukuula. Mumanyi bulungi endabika y’eggulu n’okwawula ebiseera, naye lwaki temusobola kutegeera bubonero bwa biro?
4 Mmwe ab’omulembe omwonoonefu era omwenzi musaba akabonero naye temuliweebwa kabonero okuggyako aka Yona.” Yesu n’abaviira n’agenda.
Ekizimbulukusa ky’Abafalisaayo n’Abasaddukaayo
5 Abayigirizwa bwe baasomoka okuva emitala w’eri ne beerabira okuleeta emigaati.
6 Naye Yesu n’abagamba nti, “Mwekuume ekizimbulukusa ky’Abafalisaayo n’Abasaddukaayo.”
7 Naye Abayigirizwa ne boogeraganya bokka ne bokka nti, “Ayogedde bw’atyo kubanga tetwaleese migaati.”
8 Yesu bwe yamanya ebirowoozo byabwe n’abagamba nti, “Mmwe abalina okukkiriza okutono lwaki mweraliikirira nga mugamba nti, ‘temulina mmere?’
9 Era temunnategeera wadde okujjukira emigaati etaano abantu enkumi ettaano gye baalya, n’ebisero bye mwakuŋŋaanya ebyafikkawo?
10 Era n’emigaati omusanvu abantu enkumi ennya gye baalya n’ebisero bye mwakuŋŋaanya ebyafikkawo?
11 Kale lwaki temutegeera nti mbadde ssoogera ku migaati? Naye mwekuume ekizimbulukusa eky’Abafalisaayo n’Abasaddukaayo.”
12 Ne balyoka bategeera nti yali tayogera ku kizimbulukusa kya migaati naye yali ayogera ku njigiriza y’Abafalisaayo n’Abasaddukaayo.
Peetero Ayatula Kristo
13 Awo Yesu bwe yatuuka mu kitundu kya Kayisaliya ekya Firipo n’abuuza abayigirizwa be nti, “Abantu Omwana w’Omuntu bagamba nti ye ani?”
14 Ne bamuddamu nti, “Yokaana Omubatiza, abalala nti Eriya, n’abalala nti Yeremiya oba omu ku bannabbi.”
15 Awo Yesu n’ababuuza nti, “Mmwe mundowooza kuba ani?”
16 Simooni Peetero n’addamu nti, “Ggwe Kristo, Omwana wa Katonda omulamu.”
17 Yesu n’amugamba nti, “Olina omukisa Simooni, omwana wa Yona, kubanga ekyo Kitange ali mu ggulu y’akikubikkulidde, so tokiggye mu bantu.
18 Era nkutegeeza nti, Ggwe Peetero, olwazi, era ku lwazi okwo kwe ndizimba Ekkanisa yange, n’amaanyi gonna aga Setaani tegaligiwangula.
19 Era ndikuwa ebisumuluzo by’obwakabaka obw’omu ggulu; era kyonna ky’onoosibanga ku nsi, ne mu ggulu kinaasibwanga, na buli ky’onoosumululanga ku nsi, ne mu ggulu kinaasumululwanga.”
20 Awo n’akuutira abayigirizwa be baleme kubuulirako muntu n’omu nti Ye Kristo.
21 Okuva mu kiseera ekyo Yesu n’atandika okunnyonnyola abayigirizwa be nga bwe kimugwanidde okugenda e Yerusaalemi, abakulembeze b’Abayudaaya ne bakabona abakulu, n’abannyonnyozi b’amateeka bamubonyeebonye, era bamutte; naye ku lunaku olwokusatu azuukire.
22 Peetero n’amuzza ebbali n’atandika okumunenya ng’amugamba nti, “Katonda akulage ekisa Mukama waffe. Bino tebirikutuukako.”
23 Naye Yesu n’akyukira Peetero n’amugamba nti, “Dda ennyuma wange Setaani. Oli kyesittaza gye ndi, kubanga tolowoozeza bintu bya Katonda wabula olowooza bintu bya bantu.”
24 Awo Yesu n’agamba abayigirizwa be nti, “Omuntu bw’ayagala okungoberera asaana yeefiirize yekka, yeetikke omusaalaba gwe alyoke angoberere.
25 Kubanga buli agezaako okuwonya obulamu bwe alibufiirwa, oyo alifiirwa obulamu bwe ku lwange alibuwonya.
26 Kigasa ki omuntu okufuna ensi yonna naye n’afiirwa obulamu bwe? Oba kiki omuntu kyayinza okuwaayo olw’obulamu bwe?
27 Kubanga Omwana w’Omuntu anaatera okujja mu kitiibwa kya Kitange ne bamalayika be alyoke asasule buli muntu ng’ebikolwa bye bwe byali.
28 “Ddala ddala mbagamba nti ku mmwe abali wano kuliko abatalirega ku kufa okutuusa lwe baliraba Omwana w’Omuntu ng’ajja n’obwakabaka bwe.”