22
Olugero olw’Embaga ey’Obugole
Yesu n’addamu n’ayogera nabo mu ngero ng’agamba nti, “Obwakabaka obw’omu ggulu bufaanana nga, kabaka eyategekera omwana we embaga ey’obugole. N’atuma abaddu be okuyita abaayitibwa ku mbaga, ne batayagala kujja.
“Kabaka n’abatumira abaddu abalala babategeeze nti, ‘Mutegeeze abayite nti nteeseteese, ekijjulo, zisseddume zange n’ente ensavuwazze zittiddwa, era buli kimu kitegekeddwa. Mujje ku mbaga.’
“Naye ne batassaayo mwoyo, omu n’alaga mu nnimiro ye, omulala n’alaga mu bya busuubuzi bye. Abalala ne babakwata ne bababonyaabonya ne babatta. Awo Kabaka n’asunguwala, n’ayungula ekibinja ky’abaserikale n’azikiriza abatemu abo, n’ayokya ekibuga kyabwe.
“Awo kabaka n’agamba abaddu be nti, ‘Ekijjulo ky’embaga kiteekeddwateekeddwa, naye abaayitibwa ne batasaanira. Noolwekyo mugende mu nguudo z’omu kibuga muyite abantu bonna be munaasangayo bajje ku mbaga.’ 10  Abaddu bwe baagenda mu nguudo, ne bakuŋŋaanya buli gwe baasanga, ababi n’abalungi, ekisenge ky’embaga ne kijjula abagenyi.
11  “Kabaka bwe yayingira okulaba abaali batudde ku mmeeza, n’alaba omusajja eyali tayambadde kyambalo kya mbaga. 12  Kabaka n’amubuuza nti, ‘Munnange, oyingidde otya wano nga toyambadde kyambalo kya mbaga?’ Omusajja nga talina ky’addamu.
13  “Awo kabaka n’alagira basajja be nti, ‘Mumusibe emikono n’amagulu mumukasuke ebweru mu kizikiza ekikutte be zigizigi, eri okukaaba n’okuluma obujiji.’
14  “Abayitibwa bangi, naye abalondemu batono.”
Okuwa Kayisaali Omusolo
15 Awo Abafalisaayo ne bagenda ne bateesa engeri gye banaategamu Yesu bamukwase mu bigambo. 16 Ne bamutumira abayigirizwa baabwe awamu n’Abakerodiyaani nga bagamba nti, “Omuyigiriza, tumanyi ng’oli mulungi, era oyigiriza mazima awatali kutya muntu yenna, kubanga tososola mu bantu. 17 Kale tutegeeze, olowooza ekituufu kye kiri wa? Kituufu okuwa Kayisaali omusolo oba si kituufu?”*
18 Naye Yesu bwe yamanya obutali butuukirivu bwabwe, n’abagamba nti, “Bannanfuusi mmwe, Lwaki mungezesa? 19  Kale, mundeetere wano ku nsimbi ze muweesa omusolo ndabe.” Ne bamuleetera eddinaali. 20 N’ababuuza nti, “Kino ekifaananyi n’obuwandiike ebiriko by’ani?”
21 Ne bamuddamu nti, “Bya Kayisaali.” N’abagamba nti, “Kale ebya Kayisaali mubiwenga Kayisaali, n’ebya Katonda mubiwenga Katonda.”
22 Bwe baawulira ebigambo ebyo ne beewuunya ne bamuleka ne bagenda.
Obufumbo mu Kuzuukira
23 Ku lunaku olwo lwe lumu, Abasaddukaayo, abagamba nti, “Tewali kuzuukira,” ne bajja eri Yesu, ne bamubuuza nti, 24 “Omuyigiriza Musa yagamba nti, ‘Singa omusajja afa nga tazadde mwana, muganda w’omufu awase nnamwandu oyo azaalire muganda we abaana.’ 25 Twalina abooluganda musanvu. Owooluganda ow’olubereberye n’awasa, kyokka n’afa nga tazadde mwana, bw’atyo mukazi we n’afumbirwa muganda we. 26 Ekintu kye kimu ne kituuka ku wookubiri ne ku wookusatu, okutuusa ku w’omusanvu. 27 Oluvannyuma n’omukazi oyo naye n’afa. 28 Kale okuzuukira nga kutuuse omukazi oyo aliba muka ani ku abo omusanvu? Kubanga bonna abooluganda omusanvu yabafumbirwako.”
29 Naye Yesu n’abagamba nti, “Olw’obutamanya byawandiikibwa n’obutategeera maanyi ga Katonda kyemuvudde mukyama. 30  Kubanga mu kuzuukira teriiyo kuwasa wadde okufumbirwa, naye abantu bonna baba nga bamalayika mu ggulu. 31  Naye ebikwata ku kuzuukira kw’abafu, temusomanga ku kigambo ekyayogerwa Katonda ng’agamba nti, 32  ‘Nze, ndi Katonda wa Ibulayimu era ndi Katonda wa Isaaka era ndi Katonda wa Yakobo?’ Noolwekyo Katonda si Katonda wa bafu wabula Katonda wa balamu.”
33 Ebibiina ne biwuniikirira bwe baawulira okuyigiriza kwe.
Etteeka Erisinga Obukulu mu Mateeka
34 Abafalisaayo bwe baawulira nga Yesu Abasaddukaayo abamazeeko eby’okwogera, ne bakuŋŋaana. 35 Omu ku bo eyali munnamateeka n’amubuuza ekibuuzo ng’amugezesa nti, 36 “Omuyigiriza, tteeka ki erisinga obukulu mu mateeka.”
37 Yesu n’addamu nti, “ ‘Yagalanga Mukama Katonda wo n’omutima gwo gwonna, n’obulamu bwo bwonna, n’amagezi go gonna.’ 38  Eryo ly’etteeka ery’olubereberye era lye Iisingira ddala obukulu. 39  N’eryokubiri eririfaananako lye lino nti, ‘Yagalanga muliraanwa wo nga gwe bwe weeyagala wekka.’ 40  Amateeka amalala gonna gasinziira mu mateeka ago gombi ne bya bannabbi.”
41 Awo mu kiseera ekyo Abafalisaayo nga bakuŋŋaanye, Yesu n’ababuuza nti, 42  “Kristo mumulowoozako mutya? Mwana waani?” Ne baddamu nti, “Mwana wa Dawudi.”
43 Yesu kyeyava ababuuza nti, “Dawudi ng’ajjudde Omwoyo bw’ayogera ku Kristo, lwaki ate amuyita ‘Mukama we’, ng’agamba nti,
44  “ ‘Mukama yagamba Mukama wange nti:
“Tuulira wano ku mukono gwange ogwa ddyo,
okutuusa lwe ndifufuggaza abalabe bo
ne mbassa wansi w’ebigere byo?” ’
45  Noolwekyo obanga Dawudi amuyita ‘Mukama we,’ kale, ate abeera atya omwana we?” 46 Ne wataba n’omu amuddamu, era okuva olwo ne watabaawo ayaŋŋanga kwongera kumubuuza bibuuzo birala.
* 22:17 Abafalisaayo baayagalanga nnyo ensi yaabwe, era baalwanyisa nnyo obufuzi bw’Abaruumi, ate nga bakyawa n’abagoberezi ba Keerodi, abawagiranga Abaruumi. Kyokka mu nsonga eri mu nnyiriri ezo waggulu Abafalisaayo beegatta wamu n’Abakeerodi okutega Yesu n’ebibuuzo. Bwe baagezaako mu bigambo ne balemwa, kwe ku mubuuza obanga kyali kituufu okuwa Kayisaali omusolo oba tekyali kituufu (lunny 17). Singa yaddamu nti tekyali kituufu, Abakeerodi baali beetegese okumuwawaabira eri gavana Omuruumi, era n’oluvannyuma yandisaliddwa omusango gwa kufa. Singa yaddamu nti kituufu, Abafalisaayo baali beetegese okumwogerako nga bw’atabulatabula ensi era nga bw’atayagala nsi ye.