4
Olukwe olw’Okulemesa Okuzimba
Awo Sanubalaati olwawulira nga tuddaabiriza bbugwe, n’anyiiga nnyo era n’ajjula obuswandi. N’aduulira Abayudaaya mu maaso ga mikwano gye ne mu maaso g’eggye ly’e Samaliya n’ayogera nti, “Bano Abayudaaya abanafu bali ku ki? Balizzaawo bbugwe waabwe? Baliwaayo ssaddaaka? Balimalira mu lunaku lumu? Bayinza okulamusa amayinja okuva mu ntuumu z’ebisaaniiko, ate ebyayokebwa?”
Tobiya Omwamoni yali amuyimiridde kumpi, n’ayogera nti, “Ebyo bye bazimba, singa ekibe kinaalinnyako kinaasuula bbugwe waabwe ow’amayinja!”
Ne nsaba Katonda nti, “Otuwulire Ayi Katonda waffe kubanga tunyoomebwa. Ebivumo byabwe bizze ku mitwe gyabwe bo, era baweeyo eri okunyagibwa mu nsi eribafuula abasibe. Oleme okubikka ku musango gwabwe newaakubadde ekibi kyabwe okukisangula mu maaso go kubanga bakusunguwazizza mu maaso g’abazimbi.”
 
Awo ne tweyongerayo n’okuzimba bbugwe okutuuka wakati w’obugulumivu bwayo, kubanga abantu baakolanga n’obumalirivu.
Naye Sanubalaati, ne Tobiya, n’Abawalabu, n’Abamoni, n’Abasudodi bwe baawulira ng’omulimu gw’okuddaabiriza bbugwe wa Yerusaalemi gugenda mu maaso, nga tutandise n’okuziba ebituli, ne banyiiga nnyo. Bonna ne beegatta wamu ne basala olukwe okulwanyisa Yerusaalemi n’okugitabulatabula. Ne tusaba eri Katonda waffe, ne tuteekawo n’abakuumi abaakuumanga emisana n’ekiro.
10 Mu kiseera kyekimu abantu b’e Yuda ne boogera nti, “Abakozi bagenda baggwaamu amaanyi, ate nga wakyaliwo ebifunfugu bingi nnyo, tetuyinza kuddaabiriza bbugwe.”
11 N’abalabe baffe ne boogera nti, “Baliba tebanamanya newaakubadde okukiraba, tulibagwako kiyiifuyiifu, era tulibatta ne tukomya omulimu.”
12 Awo Abayudaaya abaali babeera okumpi nabo ne bajja ne batulabula emirundi kkumi, nga boogera nti, “Balitulumba enjuuyi zonna.”
13 Kyennava nteeka abamu ku bantu mu njuyi eza wansi eza bbugwe awali amabanga, nga balina ebitala, n’amafumu n’emitego n’obusaale. 14 Bwe namala okulaba embeera bwe yali, ne ngolokoka ne ŋŋamba abakungu, n’abakulu, n’abantu abalala nti, “Temubatya. Mujjukire Mukama, omukulu era ow’entiisa, mulwanirire baganda bammwe, ne batabani bammwe, ne bawala bammwe, ne bakyala bammwe n’amaka gammwe.”
15 Awo abalabe baffe bwe baawulira nga tutegedde olukwe lwabwe, nga Katonda alemesezza enteekateeka yaabwe, ffenna ne tuddayo ku bbugwe, buli muntu ku mulimu gwe.
16 Okuva ku lunaku olwo, ekitundu ku basajja bange bazimbanga n’ekitundu ekirala nga bakutte amafumu, n’engabo, n’obusaale n’ebyokulwanyisa ebirala. Abakulembeze bonna ne bawagira abantu bonna aba Yuda abaali bazimba bbugwe. 17 Abeetikkanga, baasitulanga n’omukono gumu eby’okuzimbisa n’omulala ne gukwata ekyokulwanyisa, 18 na buli muzimbi yalina ekitala mu kiwato kye ng’akola. Naye omusajja eyafuwanga ekkondeere yambeeranga kumpi.
19 Ne ŋŋamba abakungu n’abakulu n’abantu abalala nti, “Omulimu munene ate mugazi, ate twesudde amabanga ku bbugwe, buli muntu ali wala ne munne. 20 Buli kifo gye munaawuliriranga eddoboozi ly’ekkondeere nga mujja okutudduukirira. Katonda waffe alitulwanirira.”
21 Ne tweyongerayo n’omulimu, ekitundu ekimu ne kikwatanga amafumu obudde we bwakereranga okutuusa emmunyeenye lwe zaalabikanga. 22 Mu biro ebyo, ne nnyongera okutegeeza abantu nti, “Buli muntu n’oyo amubeera, basigalenga mu Yerusaalemi ekiro, bakuumenga ekiro, naye emisana babe nga bakola.” 23 Tewaali n’omu ku ffe newaakubadde nze newaakubadde baganda bange newaakubadde abasajja bange wadde abakuumi, eyayambulangamu engoye; buli omu yalina ekyokulwanyisa kye, ne bwe yagendanga ku luzzi.