6
Okuwakanya Okuzimba Bbugwe Kweyongera
Awo Sanubalaati, ne Tobiya ne Gesemu Omuwalabu n’abalabe baffe abalala bwe baawulira nga nzimbye bbugwe era nga tewali mabanga gaasigalamu, newaakubadde nga twali tetunateekamu nzigi mu miryango, Sanubalaati ne Gesemu ne bampeereza obubaka nti, “Jjangu tusisinkane mu kyalo ekimu eky’omu lusenyi lwa Ono.”
Naye ekigendererwa kyabwe kyali kundeetako kabi. Kyennava mbatumira ababaka okubategeeza nti, “Nnina omulimu munene, siisobole kuserengeta gye muli. Lwaki ndeka omulimu ne nzija okubasisinkana?” Ne baweereza obubaka bwe bumu emirundi ena, buli mulundi ne mbaddangamu mu ngeri y’emu.
Awo Sanubalaati n’antumira omuddu we omulundi ogwokutaano n’ebbaluwa etaali nsibe mu mukono gwe, ng’erimu ebigambo bino nti,
“Tuwulidde mu mawanga, era ne Gesemu akirinako obukakafu, nga ggwe n’Abayudaaya, mweteeseteese okujeema era kyemuvudde muzimba bbugwe, era n’olugambo luyitayita nga ggwe olina enteekateeka ey’okufuuka kabaka waabwe. Kigambibwa nga walonda bannabbi mu Yerusaalemi okukulangiririra nti, ‘Mu Yuda mulimu kabaka.’ Noolwekyo obubaka obwo nga tebunatwalibwa eri kabaka, jjangu tukkiriziganye ku nsonga eyo.”
Ne muweereza obubaka nga ŋŋamba nti, “Tewabanga kigambo bwe kityo ku byoyogedde; ogunja bigunje okuva mu mutima gwo.”
Bonna baali bagezaako okututiisatiisa, nga balowooza nti, “Emikono gyabwe girinafuwa omulimu ne gulema okuggwa.” Naye ne nsaba nti, “Ayi Katonda, nyweza emikono gyaffe.”
10 Olunaku olumu ne ŋŋenda mu nnyumba ya Semaaya mutabani wa Deraaya, muzzukulu wa Meketaberi; yali yeesibidde mu nnyumba, n’aŋŋamba nti, “Tusisinkane mu nnyumba ya Katonda, mu yeekaalu munda, tuggalewo enzigi za yeekaalu, kubanga bajja okukutta, ekiro kino bajja kukutta.”
11 Naye ne nziramu nti, “Omusajja nga nze nnyinza okudduka? Kiki ekitwala omusajja afaanana nga nze* mu yeekaalu okuwonya obulamu bwange? Sijja kugenda yo.” 12 Ne nkizuula nga Katonda yali tamutumye, naye yali antegeeza ebigambo ebyo kubanga Tobiya ne Sanubalaati baamugulirira. 13 Bamugulirira okuntiisatiisa n’okunkozesa ekyo nnyonoone, balyoke boonoone erinnya lyange nga banjogerako ebigambo ebya swakaba.
 
14 Ayi Katonda wange ojjukire Tobiya ne Sanubalaati olw’ebikolwa ebyo, era ojjukire ne Nowadiya nnabbi omukazi ne bannabbi abalala abaagezaako okuntiisatiisa.
Bbugwe Amalirizibwa
15 Bbugwe n’aggwa okukola ku lunaku olw’amakumi abiri mu etaano mu mwezi ogwa Eruli, mu nnaku amakumi ataano mu bbiri. 16 Abalabe baffe bonna bwe baakiwulira, amawanga gonna agaali gatwetoolodde ne bamulaba, ne batya era ne baggwaamu omwoyo, kubanga baalaba ng’omulimu gwakolebwa olw’okubeerwa kwa Katonda waffe.
17 Ate era mu biro ebyo abakungu ba Yuda baaweerezanga ebbaluwa eri Tobiya. Tobiya n’aziddangamu. 18 Bangi ku bo mu Yuda abaamulayirira, kubanga yali mukoddomi wa Sekaniya mutabani wa Ala, ate nga ne mutabani we Yekokanani yali awasizza muwala wa Mesullamu mutabani wa Berekiya. 19 Baamuwaanawaananga mu maaso gange, n’oluvannyuma ne bamutegeeza bye nayogeranga. Tobiya n’aweerezanga ebbaluwa okuntiisatiisa.
* 6:11 Abantu abaabulijjo abataali bakabona baali tebakkirizibwa kuyingira mu Watukuvu w’Awatukuvu mu Yeekaalu.