Ekitabo Ekiyitibwa
Nakkumu
1
Kuno kwe kwolesebwa Katonda kwe yalaga Nakkumu, Omwerukoosi okukwata ku bibambulira ebyali bijjira Nineeve.
Obusungu bwa Mukama ku Nineeve
Katonda wa buggya era Mukama awalana eggwanga.
Mukama awalana eggwanga era ajudde ekiruyi.
Mukama yeesasuza ku balabe be
era aterekera abamuwakanya obusungu bwe.
Mukama tatera kusunguwala, ate nga wa maanyi mangi
era tayinza n’akatono butabonereza oyo gwe gusinze.
Ekkubo lye liri mu mpewo ey’akazimu ne mu kibuyaga,
n’ebire ye nfuufu y’ebigere bye.
Akangavvula ennyanja n’agikaza
era akaza emigga gyonna,
ennimiro ez’omu Basani zikala, olusozi Kalumeeri lwonna lukayuse,
n’ebimuli bya Lebanooni biwotose.
Ensozi zikankanira mu maaso ga Katonda,
obusozi ne busaanuuka,
ettaka ne lyatikayatika mu maaso ge,
ensi n’ekankana n’abantu bonna abagirimu.
Ani ayinza okuyimirira mu maaso ge ng’asunguwadde?
Ani ayinza okugumira obusungu bwe obw’amaanyi?
Ekiruyi kye kibuubuuka ng’omuliro,
n’enjazi n’eziyatikayatika.
 
Mukama mulungi,
kiddukiro mu kiseera eky’okulabiramu ennaku,
era alabirira abo bonna abamwesiga.
Naye alisaanyaawo abalabe be mu mataba amazibu,
ekizikiza kiribawondera.
 
Buli kye mwekobaana okukola Mukama,
alikikomya.
Akabi tekalijja mulundi gwakubiri.
10 Kubanga baliba ng’amaggwa agakwataganye,
era nga batamidde,
balyoke bookebwe omuliro ng’ekisambu ekikalu.
11 Mu ggwe Nineeve muvuddemu omuntu
alowooza akabi
era ateesa ebibi ku Mukama.
12 Bw’ati bw’ayogera Mukama nti,
“Newaakubadde nga balina be bakolagana nabo bangi, ate nga bangi,
balizikirizibwa ne baggwaawo.
Newaakubadde nga mbabonereza mmwe abantu bange,
siriddayo kukikola nate.
13 Kaakano nzija kumenya ekikoligo kyabwe nkibaggyeko
era n’ebibasibye nnaabikutulakutula.”
 
14 Kino Mukama ky’alagidde ekikwata ku Nineeve:
“Erinnya lyo terikyayala nate.
Ndizikiriza ekifaananyi ekyole n’ekifaananyi ekisaanuuse
ebiri mu masabo g’abakatonda bo;
ndisima entaana yo
kubanga oyinze obugwagwa.”
 
15 Yimusa amaaso, tunula ku nsozi, laba,
ebigere ebirungi eby’oyo aleese amawulire amalungi,
alangirira emirembe.
Ggwe Yuda kwata embaga zo entukuvu,
era otuukirize obweyamo bwo;
omubi kaakano takyakulumba,
azikiririzibbwa ddala, tolimulaba nate.