12
Miryamu ne Alooni Bawakanya Musa
1 Awo Miryamu ne Alooni ne boogera nga bawakanya Musa olw’omukazi Omukuusi gwe yali awasizza, kubanga yali awasizza Mukuusi.
2 Ne bagamba nti, “Naye ddala Mukama bwe yayogeranga yayitanga mu Musa yekka? Mu ffe namwo teyayogereramu?” Mukama Katonda n’abiwulira.
3 Naye nno, Musa yali musajja muwombeefu nnyo, nga muteefu okusinga abantu bonna abaali ku nsi.
4 Amangwago Mukama n’ayogera ne Musa, ne Alooni ne Miryamu n’abagamba nti, “Mujje, mwensatule, mu Weema ey’Okukuŋŋaanirangamu.” Bonsatule ne bagenda.
5 Mukama Katonda n’akkira mu mpagi ey’ekire, n’ayimirira ku mulyango gwa Weema n’ayita Alooni ne Miryamu. Bombi bwe baasembera
6 n’abagamba nti, “Muwulirize ebigambo byange:
“Mu mmwe bwe mubaamu nnabbi wa Mukama Katonda,
nneeraga gy’ali mu kulabikirwa, oba
njogera naye mu birooto.
7 Naye ekyo si bwe kiri ku muddu wange Musa;
mu nju yange yonna, muntu mwesigwa.
8 Bwe mba njogera naye tutunulagana maaso na maaso,
njogera butereevu so si mu ngero;
alaba ekifaananyi kya Mukama Katonda.
Kale, lwaki temwatidde
okuwakanya omuddu wange Musa?”
Miryamu Agengewala
9 Obusungu bwa Mukama Katonda ne bubabuubuukira, n’abaviira.
10 Ekire bwe kyasituka okuva ku Weema, era laba, Miryamu n’agengewala, n’atukula ng’omuzira. Alooni n’amukyukira n’alaba ng’agengewadde;
11 n’agamba Musa nti, “Nkwegayirira, mukama wange, oleme kututeekako kibi kino kye tukoze mu busirusiru bwaffe.
12 Tomuleka omubiri gwe okufaanana ng’ogw’omwana omuwere azaalibwa ng’ali ng’afudde, ng’omubiri gwe guweddemu ensa.”
13 Musa n’akaabirira Mukama ng’agamba nti, “Ayi Katonda, nkwegayirira omuwonye.”
14 Mukama Katonda n’addamu Musa nti, “Singa kitaawe amuwandidde amalusu mu maaso, teyandibadde muswavu okumala ennaku musanvu? Kale mumusibire ebweru w’olusiisira okumala ennaku musanvu; bwe zinaggwaako ayinza okukomezebwawo.”
15 Bw’atyo Miryamu n’asibirwa ebweru w’olusiisira okumala ennaku musanvu; abantu ne batasitula kutambula okutuusa Miryamu lwe yakomezebwawo.
16 Ebyo bwe byaggwa abantu ne basitula okuva e Kazerosi ne batambula okutuusa lwe baasiisira mu ddungu lya Palani.