20
Amazzi Okuva mu Lwazi
Mu mwezi ogw’olubereberye, ekibiina kyonna eky’abaana ba Isirayiri, ne batuuka mu ddungu lya Zini, ne batuula mu Kadesi. Miryamu n’afiira eyo, era gye yaziikibwa.
Awo ekibiina kyonna ne kitaba na mazzi. Abantu bonna ne beekuŋŋanyiza ku Musa ne Alooni. Ne bayombesa Musa nga bagamba nti, “Singa nno naffe twafa, baganda baffe bwe baafiira mu maaso ga Mukama Katonda! Lwaki waleeta ekibiina kya Mukama Katonda kino mu ddungu tulyoke tufiire wano n’ebisibo byaffe? Lwaki watuggya mu nsi y’e Misiri okutuleeta mu kifo kino ekibi bwe kiti? Tekiriimu mmere ya mpeke wadde ttiini, so si kifo kya mizabbibu, so si kya mikomamawanga. Tewali na mazzi ge tuyinza kunywako!”
Awo Musa ne Alooni ne bava mu maaso g’ekibiina ky’abantu ne balaga ku mulyango gwa Weema ey’Okukuŋŋaanirangamu, ne bavuunama wansi. Ekitiibwa kya Mukama Katonda ne kibalabikira. Mukama Katonda n’agamba Musa nti, “Twala omuggo, ggwe ne muganda wo Alooni mukuŋŋaanye ekibiina kyonna. Lagira olwazi nga n’ekibiina kyonna kiraba, lujja kufukumula amazzi. Bw’otyo obaggire amazzi mu lwazi, basobole okunywako, era banywese n’ebisibo byabwe.”
Musa n’aggya omuggo awali Mukama n’agutwala nga Mukama Katonda bwe yamulagira. 10 Musa ne Alooni ne bakuŋŋanyiza ekibiina ky’abantu bonna awali olwazi, Musa n’agamba abantu nti, “Mumpulirize, mmwe abajeemu; kitugwanidde ffe okubaggyira amazzi mu lwazi luno?” 11 Awo Musa n’ayimusa omukono gwe n’akuba olwazi n’omuggo gwe emirundi ebiri. Amazzi mangi ne gafukumuka okuva mu lwazi, abantu bonna mu kibiina ne banywa, n’ebisibo byabwe nabyo ne binywa.
12 Naye Mukama Katonda n’agamba Musa ne Alooni nti, “Olwokubanga temunneesize, ne mutampa kitiibwa, ne mutalaga kibiina kino eky’abaana ba Isirayiri nga bwe ndi omutukuvu, noolwekyo temugenda kutuusa kibiina ky’abantu bano mu nsi gye mbasuubizza okubawa.”
13 Ago ge mazzi ag’e Meriba, abaana ba Isirayiri gye baayombera ne Mukama, era ne Mukama Katonda gye yeeragira mu bo nga mutukuvu.
Edomu Obutawa Isirayiri Lukusa Kuyitawo
14 Musa yatumira Kabaka wa Edomu ababaka ng’asinziira e Kadesi ng’amugamba nti,
“Muganda wo Isirayiri agamba bw’ati nti: Ebizibu byonna ebyatutuukako obimanyi. 15 Omanyi nga bajjajjaffe bwe baaserengeta mu Misiri, ne tumalayo emyaka mingi. Abamisiri ne bayisa bubi bakadde baffe, era naffe; 16 naye bwe twakaabirira Mukama Katonda, yawulira okukaaba kwaffe, n’atutumira malayika n’atuggya mu nsi y’e Misiri. Kaakano tuli wano mu Kadesi, ekibuga ekiri ku nsalo n’ensi yo.
17 “Nkwegayirira otukkirize tuyite mu nsi yo. Tetuliyita mu birime wadde mu nnimiro z’emizabbibu, era tetugenda kunywa na ku mazzi agali mu nzizi. Tugenda kutambulira mu Luguudo lwa Kabaka Olunene, era tetugenda kuluvaamu kukyamako ku ludda olwa kkono oba olwa ddyo okutuusa nga tumaze okuva mu nsi yo.”
18 Naye Edomu n’addamu nti,
“Tojja kuyita wano, bw’onookikola tujja kwesowolayo tukulumbe n’ekitala.”
19 Abaana ba Isirayiri ne baddamu nti,
“Tujja kwambukira mu luguudo olunene mwokka, era ebisibo byaffe naffe bwe tunaanywa ku mazzi gammwe tujja kugasasulira. Twagala kuyitawo buyisi nga tutambuza bigere, tetwetaagayo kirala.”
20 Naye Edomu n’addamu nti,
“Temuyitawo.”
Edomu ne yeesowolayo n’eggye ddene nnyo era nga lya maanyi. 21 Bw’atyo Edomu n’agaana Isirayiri okuyitira mu matwale ge, Isirayiri n’amuviira.
Okufa kwa Alooni
22 Awo ekibiina kyonna eky’abaana ba Isirayiri ne basitula okuva e Kadesi, ne batuuka ku lusozi Koola. 23  Mukama Katonda n’agamba Musa ne Alooni, nga bali ku lusozi Koola okuliraana n’ensalo y’ensi ya Edomu, nti, 24 “Alooni ajja kugenda abantu be bonna gye baalaga, kubanga tagenda kuyingira mu nsi gye nzija okuwa abaana ba Isirayiri. Kubanga mwembi mwajeemera ekiragiro kyange ku mazzi ag’e Meriba. 25 Leeta Alooni ne mutabani we Eriyazaali, obaleete ku lusozi Koola; 26 Alooni omwambulemu ebyambalo bye, obyambaze Eriyazaali mutabani we, kubanga Alooni ajja kufa agende abantu be bonna gye baalaga.”
27 Musa n’akola nga Mukama bwe yamulagira; ne balinnya olusozi Koola ng’abantu bonna mu kibiina balaba. 28 Musa n’ayambulamu Alooni ebyambalo, n’abyambaza Eriyazaali mutabani wa Alooni. Alooni n’afiira awo ku ntikko y’olusozi. Musa ne Eriyazaali ne baserengeta ne bakka wansi w’olusozi. 29 Abantu bonna mu kibiina bwe bategeera nga Alooni afudde, ab’omu nnyumba ya Isirayiri bonna ne bakungubagira Alooni okumala ennaku amakumi asatu.