23
Okulagula kwa Balamu Okusooka
1 Balamu n’agamba Balaki nti, “Nkolera wano ebyoto musanvu, era onfunire ne sseddume z’ente musanvu, n’endiga ennume musanvu.”
2 Balaki n’akola nga Balamu bwe yamugamba; bombi Balaki ne Balamu ne bawaayo ente emu n’endiga ennume emu ku buli kyoto.
3 Balamu n’agamba Balaki nti, “Beera wano awali ekiweebwayo kyo nze njire nga nzirako wabbali. Oboolyawo nga Mukama anajja n’ansisinkana. Buli kyonna ky’anambikkulira nnaakikutegeeza.” N’alaga waggulu ku lusozi awatali bimera.
4 Katonda n’asisinkana Balamu; Balamu n’amugamba nti, “Nteeseteese ebyoto musanvu, era ku buli kyoto mpeereddeko ente ya sseddume emu n’endiga ennume emu.”
5 Mukama Katonda n’assa ebigambo mu kamwa ka Balamu n’amugamba nti, “Ddayo eri Balaki omutuuseeko obubaka buno.”
6 N’addayo gye yali, n’amusanga ng’ayimiridde awali ekiweebwayo kye, n’abakungu bonna aba Mowaabu.
7 Balamu n’alagula nti,
“Balaki ye yanzigya mu Alamu,
kabaka wa Mowaabu yanzigya mu nsozi z’ebuvanjuba.
N’aŋŋamba nti, ‘Jjangu onkolimiririre Yakobo;
jjangu oboole Isirayiri.’
8 Nnyinza okukolimira
abo Katonda batakolimidde?
Nnyinza okuboola
abo Mukama Katonda baatabodde?
9 Mbalaba okuva ku ntikko ez’enjazi
mbalengera nga nsinziira ku nsozi.
Ndaba abantu abeeyawuddeko
abateerowooza kuba ng’erimu ku mawanga.
10 Ani ayinza okubala enfuufu ya Yakobo,
oba okubala ekitundu ekyokuna ekya Isirayiri?
Leka nfe okufa okw’omutuukirivu,
n’enkomerero yange ebeere ng’eyaabwe!”
11 Balaki n’agamba Balamu nti, “Onkoze ki kino? Nakuyita kujja kukolimira balabe bange, naye obw’edda bwonna obadde obasabira mukisa!”
12 N’addamu nti, “Tekiŋŋwanidde kwogera ekyo Mukama Katonda ky’atadde mu kamwa kange?”
Okulagula kwa Balamu Okwokubiri
13 Balaki n’amugamba nti, “Jjangu tugende mu kifo ekirala w’onoolabira abaana ba Isirayiri; ojja kulabako kitundu butundu so si bonna. Kale nno sinziira awo obankolimiririre.”
14 N’amutwala mu nnimiro ya Zofimu, ku ntikko ya Pisuga, n’azimbira eyo ebyoto musanvu n’awaayo sseddume w’ente emu n’endiga ennume emu ku buli kyoto.
15 Balamu n’agamba Balaki nti, “Beera wano awali ebiweebwayo byo, nze ŋŋende musisinkane wali.”
16 Mukama Katonda n’asisinkana Balamu, n’ateeka obubaka mu kamwa ke, ng’agamba nti, “Ddayo eri Balaki omuwe obubaka obwo.”
17 N’addayo gy’ali n’amusanga ng’ayimiridde awali ekiweebwayo, ng’ali n’abakungu ba Mowaabu. Balaki n’amubuuza nti, “Mukama Katonda agambye ki?”
18 Bw’atyo n’alagula nti,
“Golokoka, Balaki, owulirize;
mpulira, mutabani wa Zipoli.
19 Katonda si muntu, nti ayinza okulimba,
oba nti mwana wa bantu nti akyusakyusa ebigambo bye.
Ayogera n’atakola?
Asuubiza n’atatuukiriza?
20 Mpeereddwa ekiragiro okusaba omukisa;
agabye omukisa, era siyinza kukikyusa.
21 “Tewali kibi kirabiddwa mu Yakobo,
tewali kubonaabona kulabise mu Isirayiri.
Mukama Katonda waabwe ali nabo;
eddoboozi lya kabaka ery’omwanguka liri wakati mu bo.
22 Katonda ye yabaggya mu Misiri,
balina amaanyi ng’aga sseddume ey’omu nsiko.
23 Tewali bulogo ku Yakobo,
tewali bulaguzi ku Isirayiri.
Kiryogerwako ku Yakobo
ne ku Isirayiri nti, ‘Mulabe Katonda ky’akoze!’
24 Abantu basituka ng’empologoma enkazi,
beezuukusa ng’empologoma ensajja
etaweera okutuusa ng’eridde omuyiggo gwayo
n’enywa omusaayi gw’ebyo by’esse.”
25 Balaki n’agamba Balamu nti, “Tobakolimira wadde okubasabira omukisa n’akamu!”
26 Balamu n’addamu nti, “Saakutegeezezza nti kinsaanidde okukola ekyo kyonna Mukama Katonda ky’anaagamba?”
Okulagula kwa Balamu Okwokusatu
27 Balaki n’agamba Balamu nti, “Jjangu, nkutwale mu kifo ekirala, oboolyawo Katonda anakkiriza obankoliimiririre ng’osinziira awo.”
28 Balaki n’atwala Balamu ku ntikko y’olusozi Peoli, olwolekedde eddungu.
29 Balamu n’agamba Balaki nti, “Nzimbira wano ebyoto musanvu, era onfunireyo wano ente za sseddume musanvu n’endiga ennume musanvu.”
30 Balaki n’akola nga Balamu bwe yamusaba, n’awaayo sseddume y’ente emu n’endiga ennume emu ku buli kyoto.