26
Okubala Abantu Okwokubiri
Awo oluvannyuma lwa kawumpuli, Mukama Katonda n’agamba Musa ne Eriyazaali, mutabani wa Alooni, kabona, nti, “Bala omuwendo gw’abantu bonna abali mu kibiina ky’abaana ba Isirayiri, ng’obabala mu bika byabwe ne mu mayumba ga bakadde baabwe. Bala abasajja bonna abawezezza emyaka amakumi abiri n’okusingawo abakyasobola okutabaala mu ggye lya Isirayiri.” Bwe batyo, nga bali mu nsenyi za Mowaabu, ku ludda lw’omugga Yoludaani okwolekera Yeriko, Musa ne Eriyazaali kabona, ne boogera ne bagamba abantu nti, “Mubale abasajja bonna abawezezza emyaka amakumi abiri n’okusingawo, nga Mukama Katonda bwe yalagira Musa.”
 
Bano be baana ba Isirayiri abaava mu nsi y’e Misiri:
 
Ab’omu kika kya Lewubeeni, mutabani wa Isirayiri omubereberye, be bano:
abaava mu Kanoki, lwe lunyiriri lw’Abakanoki;
abaava mu Palu, lwe lunyiriri lw’Abapalu;
abaava mu Kezulooni, lwe lunyiriri lw’Abakezulooni;
abaava mu Kalumi, lwe lunyiriri lw’Abakalumi.
Ezo ze nnyiriri z’ekika kya Lewubeeni. Abo abaabalibwa baawera emitwalo ena mu enkumi ssatu mu lusanvu mu amakumi asatu (43,730).
Mutabani wa Palu yali Eriyaabu, ne batabani ba Eriyaabu baali, Nemweri ne Dasani ne Abiraamu. Dasani ne Abiraamu be bo abaali abakulembeze mu kibiina abaajeemera Musa ne Alooni era baali mu kabondo k’abagoberezi ba Koola abaajeemera Mukama Katonda. 10 Ensi yayasamya akamwa kaayo n’ebamira, ne bafiira wamu ne Koola; n’abagoberezi ba Koola ebikumi bibiri mu ataano nabo baazikirizibwa mu muliro ogwabasaanyaawo. Ne babeera kabonero ka kulabirako akanaalabulanga abantu. 11 Kyokka olunyiriri lwa Koola terwazikiririra ddala lwonna.
 
12 Ab’omu kika kya Simyoni ng’ennyiriri zaabwe bwe zaali be bano:
abaava mu Nemweri, lwe lunyiriri lw’Abanemweri;
abaava mu Yamini, lwe lunyiriri lw’Abayamini;
abaava mu Yakini, lwe lunyiriri lw’Abayakini;
13 abaava mu Zeera, lwe lunyiriri lw’Abazeera;
abaava mu Sawuli, lwe lunyiriri lw’Abasawuli.
14 Ezo ze nnyiriri z’ekika kya Simyoni. Abaabalibwa baawera abasajja emitwalo ebiri mu enkumi bbiri mu ebikumi bibiri (22,200).
 
15 Ab’omu kika kya Gaadi ng’ennyiriri zaabwe bwe zaali, be bano:
abaava mu Zefoni, lwe lunyiriri lw’Abazefoni;
abaava mu Kagi, lwe lunyiriri lw’Abakagi;
abaava mu Suni, lwe lunyiriri lw’Abasuni;
16 abaava mu Ozeni, lwe lunyiriri lw’Abaozeni;
abaava mu Eri, lwe lunyiriri lw’Abaeri;
17 abaava mu Alodi, lwe lunyiriri lw’Abaalodi;
abaava mu Aleri, lwe lunyiriri lw’Abaaleri.
18 Ezo ze nnyiriri z’ekika kya Gaadi. Abaabalibwa baawera abasajja emitwalo ena mu ebikumi bitaano (40,500).
 
19 Eri ne Onani baali batabani ba Yuda, naye ne bafiira mu nsi ya Kanani.
20 Ab’omu kika kya Yuda ng’ennyiriri zaabwe bwe zaali, be bano:
abaava mu Seera, lwe lunyiriri lw’Abaseera;
abaava mu Pereezi, lwe lunyiriri lw’Abapereezi;
abaava mu Zeera, lwe lunyiriri lw’Abazeera.
21 Bazzukulu ba Pereezi be bano:
abaava mu Kezulooni, lwe lunyiriri lw’Abakezulooni
abaava mu Kamuli, lwe lunyiriri lw’Abakamuli.
22 Ezo ze nnyiriri z’ekika kya Yuda. Abaabalibwa baawera abasajja emitwalo musanvu mu kakaaga mu ebikumi bitaano (76,500).
 
23 Ab’omu kika kya Isakaali ng’ennyiriri zaabwe bwe zaali, be bano:
abaava mu Tola, lwe lunyiriri lw’Abatola;
abaava mu Puva, lwe lunyiriri lw’Abapuva;
24 abaava mu Yasubu, lwe lunyiriri lw’Abayasubu;
abaava mu Simuloni, lwe lunyiriri lw’Abasimuloni
25 Ezo ze nnyiriri z’ekika kya Isakaali. Abaabalibwa baawera abasajja emitwalo mukaaga mu enkumi nnya mu ebikumi bisatu (64,300).
 
26 Ab’omu kika kya Zebbulooni ng’ennyiriri zaabwe bwe zaali be bano:
abaava mu Seredi, lwe lunyiriri lw’Abaseredi;
abaava mu Eroni, lwe lunyiriri lw’Abaeroni;
abaava mu Yaleeri, lwe lunyiriri lw’Abayaleeri.
27 Ezo ze nnyiriri z’ekika kya Zebbulooni. Abaabalibwa baawera abasajja emitwalo mukaaga mu ebikumi bitaano (60,500).
 
28 Ab’omu kika kya Yusufu nga bayita mu bika bya batabani be Manase ne Efulayimu.
29 Ab’omu kika kya Manase ng’ennyiriri zaabwe bwe zaali be bano:
abaava mu Makiri, lwe lunyiriri lw’Abamakiri, Makiri ye yali kitaawe wa Gireyaadi.
Abaava mu Gireyaadi, lwe lunyiriri lw’Abagireyaadi.
30 Ab’omu kika kya Gireyaadi ng’ennyiriri zaabwe bwe zaali be bano:
abaava mu Yezeeri, lwe lunyiriri lw’Abayezeeri,
abaava mu Kereki, lwe lunyiriri lw’Abakereki;
31 abaava mu Asuliyeri, lwe lunyiriri lw’Abasuliyeri,
abaava mu Sekemu, lwe lunyiriri lw’Abasekemu:
32 abaava mu Semida, lwe lunyiriri lw’Abasemida;
abaava mu Keferi, lwe lunyiriri lw’Abakeferi.
33 Zerofekadi teyazaala baana balenzi, yalina bawala bokka, amannya gaabwe ge gano: Maala, ne Noowa ne Kogula ne Mirika ne Tiruza.
34 Ezo ze nnyiriri z’ekika kya Manase; abaabalibwa baawera abasajja emitwalo etaano mu enkumi bbiri mu lusanvu (52,700).
 
35 Ab’omu kika kya Efulayimu ng’ennyiriri zaabwe bwe zaali, be bano:
abaava mu Susera, lwe lunyiriri lw’Abasusera;
abaava mu Bekeri, lwe lunyiriri lw’Ababekeri;
abaava mu Takani, lwe lunyiriri lw’Abatakani.
36 Bano be bazzukulu ba Susera:
abaava mu Erani, lwe lunyiriri lw’Abaerani.
37 Ezo ze nnyiriri z’ekika kya Efulayimu; n’abaabalibwa baawera abasajja emitwalo esatu mu enkumi bbiri mu ebikumi bitaano (32,500).
 
Abo bonna baava mu Yusufu ng’ebika byabwe bwe byali n’ennyiriri zaabwe bwe zaali.
 
38 Ab’omu kika kya Benyamini ng’ennyiriri zaabwe bwe zaali, be bano:
abaava mu Bera, lwe lunyiriri lw’Ababera;
abaava mu Asuberi, lwe lunyiriri lw’Abasuberi
abaava mu Akiramu, lwe lunyiriri lw’Abakiramu
39 abaava mu Sufamu, lwe lunyiriri lw’Abasufamu;
abaava mu Kufamu, lwe lunyiriri lw’Abakufamu.
40 Abazzukulu ba Bera nga bava mu Aluda ne Naamani ng’ennyiriri zaabwe bwe zaali be bano:
abaava mu Aluda, lwe lunyiriri lw’Abaluda;
abaava mu Naamani, lwe lunyiriri lw’Abanaamani.
41 Ezo ze nnyiriri z’ekika kya Benyamini; n’abaabalibwa baawera abasajja emitwalo ena mu enkumi ttaano mu lukaaga (45,600).
 
42 Ab’omu kika kya Ddaani ng’ennyiriri zaabwe bwe zaali be bano:
abaava mu Sukamu, lwe lunyiriri lw’Abasukamu.
Abo be baava mu Ddaani. 43 Zonna zaali nnyiriri za Basukamu. Abaabalibwa baawera abasajja emitwalo mukaaga mu enkumi nnya mu ebikumi bina (64,400).
 
44 Ab’omu kika kya Aseri ng’ennyiriri zaabwe bwe zaali be bano:
abaava mu Imuna, lwe lunyiriri lw’Abayimuna;
abaava mu Isuvi, lwe lunyiriri lw’Abayisuvi;
abaava mu Beriya, lwe lunyiriri lw’Ababeriya.
45 Ate okuva mu bazzukulu ba Beriya, ze zino:
abaava mu Keberi, lwe lunyiriri lw’Abakeberi;
abaava mu Malukiyeeri, lwe lunyiriri lw’Abamalukiyeeri.
46 Aseri yalina omwana omuwala erinnya lye nga ye Seera.
47 Ezo ze nnyiriri z’ekika kya Aseri; n’abaabalibwa baawera abasajja emitwalo etaano mu enkumi ssatu mu ebikumi bina (53,400).
 
48 Ab’omu kika kya Nafutaali ng’ennyiriri zaabwe bwe zaali be bano:
abaava mu Yazeeri, lwe lunyiriri lw’Abayazeeri,
abaava mu Guni, lwe lunyiriri lw’Abaguni
49 abaava mu Yezeri, lwe lunyiriri lw’Abayezeeri;
abaava mu Siremu, lwe lunyiriri lw’Abasiremu.
50 Ezo ze nnyiriri z’ekika kya Nafutaali. Abaabalibwa baawera abasajja emitwalo ena mu enkumi ttaano mu ebikumi bina (45,400).
 
51 Okugatta awamu omuwendo gwonna ogw’abaana ba Isirayiri abasajja abaabalibwa baawera emitwalo nkaaga mu lukumi mu lusanvu mu amakumi asatu (601,730).
Okugabanya Ensi
52 Awo Mukama Katonda n’agamba Musa nti, 53 “Ensi ejja kubagabanyizibwamu okubeera obutaka bwabwe ng’obungi bw’amannya gaabwe bwe buli. 54 Ekibiina ekinene kinaafuna wanene, n’ekibiina ekitono kinaafuna watono. Buli kibiina kinaafuna obunene nga obungi bw’amannya agali ku lukalala bwe genkana obungi. 55 Weegendereze okukakasa ng’ensi egabanyizibbwa mu bwenkanya. Ekika, ekitundu kye kinaafuna kineesigama ku bungi bw’amannya ga bajjajja b’ekika ekyo. 56 Ebitundu ebinene binaagabanyizibwa ku kalulu, era n’ebitundu ebitono nabyo bwe bityo.”
Okubala Abaleevi
57 Bano be Baleevi abaabalibwa ng’enyiriri zaabwe bwe zaali:
abaava mu Gerusoni, lwe lunyiriri lw’Abagerusoni;
abaava mu Kokasi, lwe lunyiriri lw’Abakokasi;
abaava mu Merali, lwe lunyiriri lw’Abamerali.
58 Ne zino nazo nnyiriri za Baleevi:
olunyiriri lw’Ababalibuni,
olunyiriri lw’Abakebbulooni,
olunyiriri lw’Abamakuli,
olunyiriri lw’Abamusi,
n’olunyiriri lw’Abakoola.
Kokasi yazaala Amulaamu. 59 Erinnya lya muka Amulaamu ye yali Yokebedi muwala wa Leevi, Leevi gwe yazaalira mu Misiri. N’azaalira Amulaamu bano: Alooni, ne Musa ne mwannyinaabwe Miryamu. 60 Alooni ye yali kitaawe wa bano: Nadabu, ne Abiku, ne Eriyazaali ne Isamaali. 61 Kyokka Nadabu ne Abiku ne bafa bwe baakuma omuliro ogutali mutukuvu mu maaso ga Mukama.
 
62 Abasajja bonna okuva ku mwezi ogumu ogw’obukulu n’okusingawo, abaabalibwa, baali emitwalo ebiri mu enkumi ssatu (23,000). Tebaabalirwa wamu na baana ba Isirayiri nga babalibwa, kubanga Abaleevi bo tebaaweebwa mugabo gwa butaka ng’abaana ba Isirayiri bagabana.
 
63 Abo be baabalibwa Musa ne Eriyazaali kabona lwe baabala abaana ba Isirayiri mu nsenyi za Mowaabu ku mugga Yoludaani okwolekera Yeriko. 64 Naye mu bano abaabalibwa temwalimu musajja n’omu ku abo abaali babaliddwa Musa ne Alooni kabona bwe baabala abaana ba Isirayiri mu Ddungu lya Sinaayi. 65 Kubanga Mukama Katonda yali agambye abaana ba Isirayiri abo nti awatali kubuusabuusa bonna bagenda kufiira mu ddungu. Era tewali n’omu eyasigalawo nga mulamu okuggyako Kalebu mutabani wa Yefune, ne Yoswa mutabani wa Nuuni.