30
Amateeka ku Bweyamo
1 Musa n’agamba abakulembeze b’ebika by’abaana ba Isirayiri nti, “Kino Mukama Katonda ky’alagidde:
2 Omusajja bw’aneeyamanga eri Mukama Katonda, oba bw’anaalayiranga okutuukiriza ekisuubizo kye, ekigambo kye ekyo taakimenyengawo, naye anaakolanga nga bw’anaabanga asuubizza.
3 “Omukazi omuvubuka anaabeeranga akyasula mu maka ga kitaawe, bw’aneeyamanga eri Mukama Katonda, oba bw’anaalayiranga okutuukiriza ekisuubizo kye, kale, obweyamo bwe bwonna n’ebyo by’anaabanga asuubizza binaasigalanga nga bwe biri.
4 Naye kitaawe bw’anaakiteegerangako, n’amuziyiza, kale, tewaabengawo n’ekimu ku ebyo by’anaabanga asuubizza ebinaasigalanga nga bwe biri.
5 Naye kitaawe bw’anaamugaananga ku lunaku lw’anaakiwulira, tewaabengawo ku bweyamo bwe newaakubadde bye yalayira bye yasuubiza ebinaatuukirizibwanga, Mukama Katonda anaabimusonyiwanga, kubanga kitaawe abimuziyizza.
6 “Bw’anaafumbirwanga ng’amaze okweyama ng’awaddeyo n’ebisuubizo nga tamaze kwerowooza,
7 bba n’abiwulirako, naye n’atabaako ky’ayogera; kale, obweyamo bw’omukazi oyo n’ebisuubizo bye, bye yalagira okubituukiriza, binaasigalanga nga bwe biri.
8 Naye singa bba bw’amala okubiwulirako n’amuziyiza, olwo obweyamo bw’omukazi oyo n’ebyo byonna bye yasuubiza nga teyeerowozezza, biba bifudde, era Mukama Katonda anaasonyiwanga omukazi oyo.
9 “Obweyamo n’ebisuubizo bwe binaakolebwanga nnamwandu oba omukazi eyayawukanira ddala ne bba mu bufumbo, binaasigalanga nga bwe biri.
10 “Omukazi ali mu bufumbo ng’abeera wamu ne bba mu maka gaabwe, bw’aneeyamanga oba n’asuubiriza ku kirayiro ng’alibaako by’atuukiriza,
11 bba n’abiwulirako, naye n’atabaako ky’agamba mukazi we, n’atamuziyiza; kale, obweyamo bw’omukazi oyo bwonna bunaasigalangawo, ne buli kimu kyonna kye yasuubiza ne yeerayirira, binaasigalangawo.
12 Naye bba bw’anaabanga abiwuliddeko, kyokka n’abidibya n’abisazaamu, olwo tewaabengawo bweyamo oba ebisuubizo ebyava mu kamwa k’omukazi, ebinaasigalangawo, era Mukama Katonda anaabimusonyiwanga.
13 Bba anaayinzanga okukakasa oba okudibya obweyamo bwonna mukazi we bw’anaabanga akoze n’ebisuubizo byonna by’anaabanga yeerayiridde ebirimu n’okwerumya n’okwefiiriza.
14 Naye bba bw’ataabengako ne kyabyogerako nga ky’ajje abiwulire, olwo omukazi anaabanga akakasizza obweyamo bwe bwonna n’ebisuubizo bye yeerayirira. Bba anaabikakasanga bw’ataabengako ky’ategeeza mukazi we bw’anaabanga yaakamala okubiwulirako.
15 Naye bwe wanaayitangawo ennaku ng’amaze okubiwulirako, oluvannyuma n’alyoka abidibya, y’anaavunaanyizibwanga ku bitatuukiridde mu bweyamo bw’omukazi oyo.”
16 Ago ge mateeka Mukama Katonda ge yalagira Musa aganaakwatanga ku musajja ne mukazi we, era ne kitaawe w’omuwala ne muwala we anaabanga akyali omuvubuka ng’akyasula mu nju ya kitaawe.