Ekitabo Ekiyitibwa
Obadiya
1
Kuno kwe kwolesebwa kwa Obadiya.
 
 
Mukama Ayinzabyonna kwe yamuwa ku bikwata ku nsi ya Edomu.
Tuwulidde obubaka obuva eri Katonda,
Katonda yaweereza omubaka eri amawanga n’obubaka buno nti,
“Mugolokoke tulumbe Edomu tumulwanyise.”
 
“Laba, ndibafuula aba wansi ennyo mu mawanga,
era olinyoomererwa ddala.
Mwelimbye n’amalala agali mu mitima gyammwe,
mmwe abasula mu mpuku ez’omu njazi,
era ne muzimba amaka gammwe waggulu ku njazi.
Mmwe aboogera nti,
‘Ani alituwanulayo n’atussa wansi?’
Wadde nga mwewanika waggulu ng’empungu
era ne muzimba ebisu byammwe wakati w’emmunyeenye,
ndibawanulayo ne mbasuula wansi,”
bw’ayogera Mukama.
“Singa ababbi babajjira,
n’abanyazi ne babalumba ekiro,
akabi nga kaba kabatuuseeko.
Tebandibabbyeko byonna bye baagala?
Oba singa abanozi b’emizabbibu bakujjiridde,
tebandireseeko obuzabbibu butono nnyo?
Esawu alinyagulurwa,
eby’obugagga bye ebikusike birinyagibwa.
Abaalagaana naawe balikusindiikiriza ku nsalo,
Mikwano gyo balikulimbalimba ne bakuwangula;
abo abalya emmere yo balikutega omutego,
balikutega omutego kyokka toliguvumbula.
 
“Ku lunaku olwo,
sirizikiriza bagezi b’e Edomu,
abantu ab’amagezi ababeera mu nsozi za Esawu?” bw’ayogera Mukama.
“Abalwanyi bo abazira ggwe, Temani, balitya,
era na buli muntu mu nsozi za Esawu
alittibwa.
10 Olw’ebikolwa eby’obukambwe ebyo bye wakola muganda wo Yakobo,
oliswazibwa.
Olizikirizibwa n’otaddayo kuwulirwa.
11 Ku lunaku lwe wayimirira ku bbali n’otofaayo,
nga banyaga obugagga bwa Isirayiri,
ne bannaggwanga ne bayingira mu miryango gye,
ne bakuba obululu okulaba atwala Yerusaalemi,
wali omu ku bo.
12 Tosaanye kusekerera muganda wo
mu biseera bye eby’okulaba ennaku,
wadde okusanyuka ku lunaku
olw’okuzikirira kw’abantu ba Yuda,
newaakubadde okwewaana ennyo
ku lunaku lwe baatawaanyizibwa ennyo.
13 Temukumba nga muyita mu miryango gy’abantu bange
ku lunaku kwe baalabira obuyinike,
wadde okubasekerera
ku lunaku kwe baabonaabonera,
newaakubadde okutwala obugagga bwabwe
ku lunaku lwe baatuukibwako akabi.
14 Temulindira mu masaŋŋanzira
okutta abo abadduka,
wadde okuwaayo abawonyeewo
mu biro eby’okulabiramu ennaku.
 
15 “Olunaku luli kumpi kwe ndisalira
amawanga gonna omusango.
Nga bwe mwakola abalala, nammwe bwe mulikolebwa.
Ebikolwa byammwe biribaddira.
16 Ng’abantu bange bwe baanywa ekikompe eky’ekibonerezo ku lusozi lwange olutukuvu
n’amawanga ageetooloddewo bwe galikinywa obutakoma;
balikinywa,
babe ng’abataganywangako.
17 Naye ku Lusozi Sayuuni baliwona,
kubanga lutukuvu,
n’ennyumba ya Yakobo
eritwala omugabo gwabwe.
18 Ennyumba ya Yakobo eriba omuliro,
n’ennyumba ya Yusufu olulimi olw’omuliro.
Ennyumba ya Esawu eriba bisusunku,
era baligyokya n’eggwaawo.
Tewaliba muntu wa nnyumba ya Esawu
n’omu alisigalawo,
kubanga Mukama akyogedde.
 
19 “Abantu b’e Negebu balitwala
olusozi Esawu,
n’abantu ab’omu biwonvu balitwala
ensi y’Abafirisuuti.
Balyetwalira n’ennimiro ez’omu Efulayimu ne Samaliya,
ne Benyamini ne yeetwalira Gireyaadi.
20 Ekibiina ky’Abayisirayiri abaali mu buwaŋŋanguse e Kanani,
balyetwalira ensi, okutuukira ddala ku Zalefaasi;
abawaŋŋanguse abaava mu Yerusaalemi abali mu Sefalaadi,
balyetwalira ebibuga mu Negebu.
21 Abanunuzi balyambuka ku Lusozi Sayuuni,
okufuga ensozi za Esawu.
Obwakabaka buliba bwa Mukama.”